2 Bassekabaka 10:1-36

  • Yeeku atta ab’ennyumba ya Akabu (1-17)

    • Yekonadaabu yeegatta ku Yeeku (15-17)

  • Yeeku atta abasinza ba Bbaali (18-27)

  • Obufuzi bwa Yeeku (28-36)

10  Akabu+ yalina abaana 70 mu Samaliya. Awo Yeeku n’awandiika ebbaluwa n’aziweereza e Samaliya eri abaami b’e Yezuleeri,+ n’abakadde, n’abakuza b’abaana ba Akabu* ng’agamba nti:  “Ebbaluwa eno bw’eneebatuukako, abaana ba mukama wammwe bajja kuba nammwe, awamu n’amagaali ag’entalo, n’embalaasi, n’ekibuga ekiriko bbugwe, n’eby’okulwanyisa.  Mulonde ku baana ba mukama wammwe asingayo obulungi era asaanira,* mumutuuze ku ntebe ya kitaawe, era mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.”  Naye baatya nnyo, ne bagamba nti: “Bakabaka ababiri we bataasobolera kumwaŋŋanga,+ ffe tunaasobola tutya okumwaŋŋanga?”  Awo eyali akulira olubiri,* ne gavana w’ekibuga, n’abakadde, n’abakuza, ne baweereza Yeeku obubaka obugamba nti: “Tuli baweereza bo era tujja kukola kyonna ky’otugamba. Tetujja kufuula muntu yenna kabaka. Kola ky’olaba nga kye kirungi mu maaso go.”  Awo n’abawandiikira ebbaluwa ey’okubiri ng’agamba nti: “Bwe muba muli ku ludda lwange, era nga muli beetegefu okuŋŋondera, mundeetere emitwe gy’abaana ba mukama wammwe e Yezuleeri enkya mu budde nga buno.” Abaana ba kabaka 70 baali n’abasajja ab’ebitiibwa ab’omu kibuga abaali babakuzizza.  Ebbaluwa olwabatuukako, ne batwala abaana ba kabaka 70+ ne babatta, oluvannyuma ne bateeka emitwe gyabwe mu bisero ne bagimuweereza e Yezuleeri.  Awo omubaka n’agenda n’agamba Yeeku nti: “Baleese emitwe gy’abaana ba kabaka.” N’addamu nti: “Mugituume entuumu bbiri ku mulyango gw’ekibuga gibeere awo okutuusa ku makya.”  Bwe yafuluma ku makya, n’ayimirira mu maaso g’abantu bonna n’abagamba nti: “Mmwe temuliiko musango.* Nze nneekobaana ne nzita mukama wange,+ naye ani yasse bano bonna? 10  Kale mumanye nti tewali kigambo kya Yakuwa kyonna Yakuwa kye yayogera ku nnyumba ya Akabu ekitaatuukirire,*+ era Yakuwa akoze ekyo kye yayogera okuyitira mu muweereza we Eriya.”+ 11  Ate era Yeeku yagenda n’atta bonna abaali basigaddewo ku b’ennyumba ya Akabu abaali e Yezuleeri, n’abasajja be bonna ab’ebitiibwa, mikwano gye, ne bakabona be,+ n’atalekaawo n’omu.+ 12  Awo Yeeku n’akwata ekkubo okugenda e Samaliya. Ekkubo eryo lyaliko ennyumba abasumba mwe baasaliranga ebyoya by’endiga. 13  Yeeku n’asangayo baganda ba Akaziya+ kabaka wa Yuda n’ababuuza nti, “Mmwe baani?” Ne bamuddamu nti: “Tuli baganda ba Akaziya era tugenda kulaba oba ng’abaana ba kabaka n’abaana ba nnamasole bali bulungi.” 14  Amangu ago Yeeku n’agamba nti: “Mubakwate!” Awo ne bakwata abasajja 42, ne babattira ku kinnya omwaterekebwanga amazzi eky’ennyumba esalirwamu ebyoya by’endiga. Teyalekawo n’omu.+ 15  Bwe yali ava eyo, n’asanga Yekonadaabu+ mutabani wa Lekabu+ eyali ajja okumusisinkana. Bwe yali amulamusa, yamugamba nti: “Omutima gwo guli wamu nange mu bujjuvu, ng’ogwange bwe guli awamu naawe?” Awo Yekonadaabu n’amuddamu nti: “Ddala bwe kiri.” Yeeku n’amugamba nti, “Bwe kiba bwe kityo, mpa omukono gwo.” Awo n’amuwa omukono gwe n’amusika n’amulinnyisa mu ggaali lye. 16  N’amugamba nti: “Tugende ffembi olabe bwe siyinza kugumiikiriza abo abawakanya* Yakuwa.”+ Awo Yeeku n’agenda naye mu ggaali lye ery’olutalo. 17  Bwe yatuuka e Samaliya, n’atta ab’ennyumba ya Akabu bonna abaali bakyasigaddewo mu Samaliya, okutuusa lwe yabasaanyizaawo ddala,+ nga Yakuwa bwe yayogera okuyitira mu Eriya.+ 18  Ate era Yeeku yakuŋŋaanya abantu bonna n’abagamba nti: “Akabu yasinza Bbaali ku kigero kitono,+ naye Yeeku ajja kusinza Bbaali n’okusingawo. 19  Kale mumpitire bannabbi ba Bbaali+ bonna, n’abo bonna abamusinza, ne bakabona be bonna,+ waleme kubulawo n’omu kubanga nnina ssaddaaka ey’amaanyi gye ŋŋenda okuwaayo eri Bbaali. Omuntu yenna anaabulawo, ajja kuttibwa.” Naye Yeeku yali akola lukwe azikirize abo bonna abaali basinza Bbaali. 20  Yeeku era n’agamba nti: “Mulangirire nti wagenda kubaawo olukuŋŋaana lwa Bbaali.”* Ne balangirira. 21  Yeeku n’aweereza obubaka mu Isirayiri yonna, bonna abaali basinza Bbaali ne bajja. Tewali n’omu eyasigalayo. Baayingira mu nnyumba* ya Bbaali,+ ennyumba ya Bbaali yonna n’ejjula. 22  Yeeku n’agamba oyo eyali akulira etterekero ly’ebyambalo nti: “Bonna abasinza Bbaali baggireyo ebyambalo.” N’abibaggirayo. 23  Yeeku ne Yekonadaabu+ mutabani wa Lekabu ne bayingira mu nnyumba ya Bbaali. Yeeku n’agamba abo abaali basinza Bbaali nti: “Mwetegereze mulabe nga mu mmwe temuliimu basinza Yakuwa, wabula abo bokka abasinza Bbaali.” 24  Awo ne bayingira okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa. Yeeku yali ateese abasajja 80 ebweru era ng’abagambye nti: “Singa omu ku mmwe aleka omuntu yenna n’atoloka, ye y’anattibwa mu kifo kye.” 25  Yeeku olwamala bw’ati okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, n’agamba abakuumi era n’abasirikale nti: “Muyingire mubatte! Temukkiriza muntu n’omu kutoloka.”+ Awo abakuumi n’abasirikale ne bayingira ne babatta n’ekitala, emirambo gyabwe ne bagisuula ebweru, era ne bayingira ne batuukira ddala mu kisenge* eky’omunda eky’ennyumba ya Bbaali. 26  Awo ne bafulumya empagi ezisinzibwa+ ezaali mu nnyumba ya Bbaali ne bazookya zonna.+ 27  Ate era baamenyaamenya empagi ya Bbaali esinzibwa,+ n’ennyumba ya Bbaali+ ne bagifuula kaabuyonjo, nga bwe kiri n’okutuusa leero. 28  Bw’atyo Yeeku n’amalirawo ddala okusinza Bbaali mu Isirayiri. 29  Naye Yeeku teyalekayo kukola bibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Isirayiri okukola. Teyaggyawo nnyana eza zzaabu ezaali mu Beseri ne mu Ddaani.+ 30  Awo Yakuwa n’agamba Yeeku nti: “Olw’okuba okoze bulungi era okoze ekituufu mu maaso gange n’otuukiriza byonna ebyali mu mutima gwange bye nnayagala bikolebwe ku b’ennyumba ya Akabu,+ batabani bo bajja kutuula ku ntebe y’obwakabaka bwa Isirayiri okutuukira ddala ku mulembe ogw’okuna.”+ 31  Naye Yeeku teyatambulira mu Mateeka ga Yakuwa Katonda wa Isirayiri+ n’omutima gwe gwonna. Teyalekayo kukola bibi Yerobowaamu bye yaleetera Isirayiri okukola.+ 32  Mu biseera ebyo Yakuwa yatandika okukendeeza ku nsi ya Isirayiri; Kazayeeri yabalumbanga mu bitundu bya Isirayiri byonna,+ 33  okuva ku Yoludaani okudda ebuvanjuba, ekitundu kyonna ekya Gireyaadi omubeera ekika kya Gaadi, ekya Lewubeeni, n’ekya Manase.+ Kyali kitwaliramu n’ekitundu okuva e Aloweri, ekiri okumpi n’Ekiwonvu* Alunoni, okutuuka e Gireyaadi n’e Basani.”+ 34  Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Yeeku, ebyo byonna bye yakola n’ebikolwa bye byonna eby’obuzira, biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Isirayiri. 35  Awo Yeeku n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe, era ne bamuziika mu Samaliya, Yekoyakazi+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka. 36  Ebbanga* Yeeku lye yafugira Isirayiri mu Samaliya lyali emyaka 28.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “n’abakuza ba Akabu.”
Oba, “omugolokofu.”
Obut., “ennyumba.”
Oba, “muli batuukirivu.”
Obut., “ekijja okugwa ku nsi.”
Oba, “olabe obunyiikivu bwange olwa.”
Obut., “Mutukuze olukuŋŋaana lwa Bbaali.”
Oba, “yeekaalu.”
Obut., “kibuga.” Oboolyawo kyali ng’ekigo.
Laba Awanny.
Obut., “Ennaku.”