2 Bassekabaka 17:1-41

  • Koseya, kabaka wa Isirayiri (1-4)

  • Okugwa kwa Isirayiri (5, 6)

  • Abayisirayiri bawaŋŋangusibwa olw’okuva ku Katonda (7-23)

  • Abagwira basenzebwa mu bibuga by’omu Samaliya (24-26)

  • Okusinza kw’Abasamaliya (27-41)

17  Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogw’obufuzi bwa Akazi kabaka wa Yuda, Koseya+ mutabani wa Ela yafuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era yafugira emyaka mwenda.  Yeeyongera okukola ebibi mu maaso ga Yakuwa, naye teyenkana bakabaka ba Isirayiri abaamusooka.  Kabaka Salumaneseri owa Bwasuli yalwanyisa Koseya,+ Koseya n’afuuka omuweereza we n’atandika okumuwa omusolo.+  Kyokka, kabaka wa Bwasuli yamanya ku lukwe Koseya lwe yali akoze, kubanga yali atumye ababaka eri Kabaka So owa Misiri+ era yali takyawa kabaka wa Bwasuli musolo nga bwe yakolanga mu myaka egy’emabega. Awo kabaka wa Bwasuli n’amuteeka mu kkomera n’amusiba.  Awo kabaka wa Bwasuli n’alumba ensi yonna, era n’agenda e Samaliya n’akizingiza okumala emyaka esatu.  Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Koseya, kabaka wa Bwasuli yawamba Samaliya.+ Awo n’atwala Abayisirayiri mu buwaŋŋanguse+ e Bwasuli n’abateeka e Kala n’e Kaboli okumpi n’Omugga Gozani,+ ne mu bibuga by’Abameedi.+  Ekyo kyabaawo olw’okuba abantu ba Isirayiri baali boonoonye mu maaso ga Yakuwa Katonda waabwe eyabaggya mu nsi ya Misiri mu mukono gwa Falaawo kabaka wa Misiri.+ Baasinzanga* bakatonda abalala,+  baagoberera obulombolombo bw’amawanga Yakuwa ge yali agobye mu maaso g’Abayisirayiri, era ne bagoberera n’obulombolombo bakabaka ba Isirayiri bwe baali bataddewo.  Abayisirayiri baali bakola ebintu ebitali birungi mu maaso ga Yakuwa Katonda waabwe. Baazimbanga ebifo ebigulumivu mu bibuga byabwe byonna,+ okuva ku munaala gw’omukuumi okutuuka ku kibuga ekiriko bbugwe.* 10  Baateeka empagi ezisinzibwa n’ebikondo ebisinzibwa+ ku busozi bwonna obuwanvu ne wansi w’emiti gyonna egirina ebikoola ebingi;+ 11  era baanyookerezanga omukka gwa ssaddaaka ku bifo byonna ebigulumivu, ng’amawanga Yakuwa ge yali agobye mu maaso gaabwe+ ne gagenda mu buwaŋŋanguse bwe gaakolanga. Baakolanga ebintu ebibi okunyiiza Yakuwa. 12  Beeyongera okusinza ebifaananyi ebyenyinyaza,*+ Yakuwa bye yabagamba nti: “Temubisinzanga!”+ 13  Yakuwa yalabulanga Isirayiri ne Yuda ng’ayitira mu bannabbi be bonna ne mu abo bonna abaategeezanga abantu okwolesebwa okwavanga gy’ali,+ ng’agamba nti: “Muleke amakubo gammwe amabi!+ Mukwate amateeka gange n’ebiragiro byange byonna ebiwandiikiddwa mu mateeka ge nnawa bajjajjammwe era ge nnabawa nga mpitira mu baweereza bange bannabbi.” 14  Naye tebaawuliriza, era baasigala bakakanyavu nga* bajjajjaabwe abataalaga kukkiriza mu Yakuwa Katonda waabwe.+ 15  Beeyongera okugaana amateeka ge n’endagaano ye+ gye yakola ne bajjajjaabwe, era tebaafaayo ku kulabula kwe yabawa.+ Beeyongera okusinza ebifaananyi ebitagasa+ nabo ne bafuuka abatagasa,+ nga bakoppa amawanga agaali gabeetoolodde Yakuwa ge yabagaana okukoppa.+ 16  Baaleka ebiragiro byonna ebya Yakuwa Katonda waabwe era baakola ebifaananyi bibiri eby’ennyana ez’ekyuma*+ n’ekikondo ekisinzibwa,*+ ne bavunnamira eggye lyonna ery’oku ggulu,+ era ne baweereza Bbaali.+ 17  Ate era baayokyanga* batabani baabwe ne bawala baabwe mu muliro,+ baakolanga eby’obulaguzi+ era baanoonyanga obubonero okulagulwa, era baakolanga* ebibi mu maaso ga Yakuwa okumunyiiza. 18  Yakuwa kyeyava asunguwalira ennyo Abayisirayiri, n’abaggya mu maaso ge.+ Teyalekawo n’omu okuggyako ekika kya Yuda kyokka. 19  N’ab’ekika kya Yuda tebaakwata biragiro bya Yakuwa Katonda waabwe;+ baatambulira mu bulombolombo Isirayiri bwe yali egoberera.+ 20  Yakuwa yeesamba bazzukulu ba Isirayiri bonna, n’abafeebya n’abawangayo mu mukono gw’abanyazi, okutuusa lwe yabagoba mu maaso ge. 21  Yakutula Isirayiri ku nnyumba ya Dawudi, ne bafuula Yerobowaamu mutabani wa Nebati, kabaka.+ Naye Yerobowaamu yaleetera Isirayiri okulekera awo okugoberera Yakuwa, era yabaleetera okukola ekibi eky’amaanyi. 22  Abantu ba Isirayiri baatambulira mu bibi byonna Yerobowaamu bye yali akoze.+ Tebaalekayo kubikola, 23  okutuusa Yakuwa lwe yaggya Isirayiri mu maaso ge, nga bwe yayogera ng’ayitira mu baweereza be bonna bannabbi.+ Abayisirayiri baggibwa mu nsi yaabwe ne batwalibwa mu Bwasuli+ gye bali n’okutuusa leero. 24  Awo kabaka wa Bwasuli n’aggya abantu e Babulooni, n’e Kuusi, n’e Ava, n’e Kamasi, n’e Sefavayimu,+ n’abateeka mu bibuga bya Samaliya Abayisirayiri mwe baali babeera; beddiza Samaliya ne babeera mu bibuga byayo. 25  Abantu abo bwe baali baakatandika okubeera mu bibuga ebyo, tebaatya* Yakuwa. Yakuwa kyeyava asindika empologoma+ ne zitta abamu ku bo. 26  Awo kabaka wa Bwasuli n’ategeezebwa nti: “Abantu be watwala mu buwaŋŋanguse n’obateeka mu bibuga bya Samaliya tebamanyi ngeri ya kusinzaamu Katonda wa mu nsi eyo. N’olwekyo abasindikira empologoma ne zibatta kubanga tewali n’omu ku bo amanyi ngeri ya kusinzaamu Katonda w’omu nsi eyo.” 27  Awo kabaka wa Bwasuli n’alagira nti: “Muzzeeyo omu ku bakabona be mwawaŋŋangusa abeere eyo abayigirize engeri y’okusinzaamu Katonda w’omu nsi eyo.” 28  Awo omu ku bakabona abaali bawaŋŋangusiddwa okuva mu Samaliya n’addayo e Beseri,+ n’atandika okuyigiriza abantu engeri gye baali basaanidde okusinzaamu* Yakuwa.+ 29  Naye abantu aba buli ggwanga beekolera bakatonda baabwe* ne babateeka mu masinzizo ag’oku bifo ebigulumivu Abasamaliya ge baali bazimbye; buli ggwanga lyakola bwe lityo mu bibuga gye lyabeeranga. 30  Abantu abaava e Babulooni baakola Sukkosu-benosi, abaava e Kuusi baakola Nerugali, abaava e Kamasi+ baakola Asima, 31  Abantu abaava mu Avva baakola Nibukazi ne Talutaki. Abasefavayimu baayokyanga abaana baabwe mu muliro okubawaayo eri Adulammereki ne Anammereki, bakatonda b’e Sefavayimu.+ 32  Wadde baali batya Yakuwa, beerondera mu bantu bakabona ab’okuweereza ku bifo ebigulumivu, era abo be baabakulemberanga mu kusinza okwabanga mu nnyumba ez’okusinzizaamu ku bifo ebigulumivu.+ 33  Bwe batyo baatyanga Yakuwa, naye baasinzanga bakatonda baabwe nga bagoberera okusinza* okw’omu mawanga gye baali baggiddwa.+ 34  N’okutuusa leero bakyasinza nga bwe baasinzanga edda. Tewali n’omu asinza* Yakuwa wadde akwata Amateeka n’ebiragiro Yakuwa bye yawa abaana ba Yakobo, gwe yatuuma Isirayiri;+ 35  Yakuwa bwe yakola nabo endagaano,+ yabalagira nti: “Temusinzanga bakatonda balala, era temubavunnamiranga wadde okubaweereza, wadde okuwaayo ssaddaaka gye bali.+ 36  Naye Yakuwa eyabaggya mu nsi ya Misiri n’amaanyi amangi, n’omukono ogugoloddwa,+ gwe muba mutya,+ era gwe muba muvunnamira, era gwe muba muwa ssaddaaka. 37  Amateeka n’ebiragiro ne bye yasalawo bye yabawandiikira,+ mubikwatenga n’obwegendereza; era temusinzanga bakatonda balala. 38  Endagaano gye nkoze nammwe temugyerabiranga,+ era temusinzanga bakatonda balala. 39  Naye Yakuwa Katonda wammwe gwe muba mutya, kubanga y’ajja okubanunula mu mukono gw’abalabe bammwe bonna.” 40  Naye tebaawuliriza, wabula beeyongera okusinza nga bwe baasinzanga edda.*+ 41  Abantu b’amawanga ago baatyanga Yakuwa,+ naye era baasinzanga n’ebifaananyi byabwe ebyole. N’okutuusa leero, abaana baabwe ne bazzukulu baabwe bakyakola nga bajjajjaabwe bwe baakolanga.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Baatyanga.”
Kwe kugamba, mu buli kifo, ka kibe nga kirimu abantu batono oba bangi.
Laba obugambo obuli wansi ku Lev 26:30.
Obut., “baakakanyaza ensingo yaabwe ng’ensingo ya.”
Laba Awanny.
Oba, “ez’ekyuma ekisaanuuse.”
Obut., “baayisanga.”
Obut., “beetunda okukola.”
Oba, “tebaasinza.”
Obut., “okutyamu.”
Oba, “katonda waabwe.”
Oba, “obulombolombo bw’eddiini.”
Obut., “atya.”
Oba, “okugoberera obulombolombo bw’eddiini yaabwe.”