2 Bassekabaka 20:1-21

  • Keezeekiya alwala ate n’assuuka (1-11)

  • Ababaka okuva e Babulooni (12-19)

  • Keezeekiya afa (20, 21)

20  Mu kiseera ekyo, Keezeekiya yalwala nnyo n’abulako katono okufa.+ Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’agenda gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Wa ab’omu nnyumba yo ebiragiro, kubanga ogenda kufa; tojja kuwona.’”+  Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunula ku kisenge, n’asaba Yakuwa ng’agamba nti:  “Ai Yakuwa, nkwegayiridde, jjukira bwe ntambulidde mu maaso go n’obwesigwa era n’omutima gwange gwonna, era nkoze ebirungi mu maaso go.”+ Awo Keezeekiya n’akaaba nnyo.  Isaaya yali nga tannatuuka mu luggya lw’olubiri olwa wakati, Yakuwa n’amugamba nti: +  “Ddayo ogambe Keezeekiya omukulembeze w’abantu bange nti, ‘Bw’ati Yakuwa Katonda wa Dawudi jjajjaawo bw’agamba: “Mpulidde essaala yo era ndabye amaziga go.+ Ŋŋenda kukuwonya.+ Ku lunaku olw’okusatu ojja kugenda mu nnyumba ya Yakuwa.+  Obulamu bwo* nja kubwongerako emyaka emirala 15, era nja kukununula ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka wa Bwasuli,+ era nja kulwanirira ekibuga kino ku lw’erinnya lyange ne ku lwa Dawudi omuweereza wange.”’”+  Awo Isaaya n’agamba nti: “Muleete ekitole ky’etiini ekkalu.” Ne bakitwala ne bakiteeka ku jjute lya Keezeekiya, n’agenda ng’assuuka mpolampola.+  Keezeekiya yali abuuzizza Isaaya nti: “Kabonero ki+ akalaga nti Yakuwa anamponya, era nti ku lunaku olw’okusatu nja kugenda mu nnyumba ya Yakuwa?”  Awo Isaaya n’amuddamu nti: “Kano ke kabonero okuva eri Yakuwa okukulaga nti Yakuwa ajja kukola ekyo ky’agambye: Oyagala ekisiikirize eky’oku madaala* kigende mu maaso amadaala kkumi, oba kidde emabega amadaala kkumi?”+ 10  Keezeekiya n’amuddamu nti: “Kiba kyangu ekisiikirize okugenda mu maaso amadaala kkumi, naye si kyangu kudda mabega madaala kkumi.” 11  Awo nnabbi Isaaya n’akoowoola Yakuwa, ekisiikirize eky’oku madaala ga Akazi ekyali kisse n’akizzaayo emabega amadaala kkumi.+ 12  Mu kiseera ekyo kabaka wa Babulooni, Berodaaki-baladani, mutabani wa Baladani, yaweereza Keezeekiya amabaluwa n’ekirabo, olw’okuba yali awulidde nti Keezeekiya emabegako yali mulwadde.+ 13  Keezeekiya yayaniriza* ababaka n’abalaga ennyumba ye yonna omwali eby’obugagga+—ffeeza, zzaabu, amafuta ga basamu, amafuta amalala ag’omuwendo, eby’okulwanyisa bye, n’ebintu byonna ebyali mu mawanika ge. Tewali kintu na kimu mu nnyumba ye* ne mu bwakabaka bwe bwonna Keezeekiya ky’ataabalaga. 14  Oluvannyuma nnabbi Isaaya n’agenda eri Kabaka Keezeekiya n’amubuuza nti: “Abasajja abo bagambye ki, era bavudde wa?” Keezeekiya n’amuddamu nti: “Bavudde mu nsi ey’ewala, e Babulooni.”+ 15  Isaaya era n’amubuuza nti: “Kiki kye balabye mu nnyumba yo?”* Keezeekiya n’amuddamu nti: “Buli kintu ekiri mu nnyumba yange* bakirabye. Tewali na kimu kye sibalaze mu mawanika gange.” 16  Awo Isaaya n’agamba Keezeekiya nti: “Wulira Yakuwa ky’agambye,+ 17  ‘Laba! Ekiseera kijja, byonna ebiri mu nnyumba yo* n’ebyo bajjajjaabo bye baatereka okutuusa leero, lwe biritwalibwa e Babulooni.+ Tewaliba na kimu ekirisigala,’ Yakuwa bw’agamba. 18  ‘Era n’abamu ku baana bo ggwe kennyini b’olizaala, balitwalibwa+ ne bafuuka abakungu b’omu lubiri lwa kabaka wa Babulooni.’”+ 19  Awo Keezeekiya n’agamba Isaaya nti: “Ekigambo kya Yakuwa ky’oyogedde kirungi.”+ Era n’agattako nti: “Kirungi bwe kiba nti wajja kubaawo emirembe n’obutebenkevu* mu kiseera ky’obulamu bwange.”*+ 20  Ebyafaayo ebirala ebikwata ku Keezeekiya, ebikolwa bye eby’obuzira era ne bwe yasima ekidiba+ n’omukutu n’aleeta amazzi mu kibuga,+ biwandiikiddwa mu kitabo ky’ebyafaayo by’ekiseera kya bakabaka ba Yuda. 21  Awo Keezeekiya n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe,+ Manase+ mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Ennaku zo.”
Kirabika amadaala gano gaakozesebwanga okubala essaawa.
Oba, “lubiri lwe.”
Oba, “yawuliriza.”
Oba, “lubiri lwo.”
Oba, “lubiri lwange.”
Oba, “lubiri lwo.”
Obut., “mu nnaku zange.”
Oba, “n’amazima”