2 Bassekabaka 22:1-20

  • Yosiya, kabaka wa Yuda (1, 2)

  • Ebikwata ku kuddaabiriza yeekaalu (3-7)

  • Ekitabo ky’Amateeka kizuulibwa (8-13)

  • Obunnabbi bwa Kuluda (14-20)

22  Yosiya+ yalina emyaka munaana we yafuukira kabaka, era yafugira emyaka 31 mu Yerusaalemi.+ Nnyina yali ayitibwa Yedida, muwala wa Adaya ow’e Bozukasi.+  Yakola ebirungi mu maaso ga Yakuwa, era yatambulira mu makubo ga Dawudi jjajjaawe gonna;+ teyakyuka kudda ku ddyo oba ku kkono.  Mu mwaka ogw’ekkumi n’omunaana ogw’obufuzi bwa Kabaka Yosiya, kabaka yatuma Safani omuwandiisi, mutabani wa Azaliya mutabani wa Mesulamu, mu nnyumba ya Yakuwa,+ ng’agamba nti:  “Genda eri Kirukiya+ kabona asinga obukulu, omugambe akuŋŋaanye ssente zonna ezireeteddwa mu nnyumba ya Yakuwa,+ abakuumi b’oku miryango ze bakuŋŋaanyizza ku bantu.+  Bagambe bazikwase abo abaalondebwa okulabirira omulimu ogukolebwa mu nnyumba ya Yakuwa, era abo be bajja okusasula abakozi mu nnyumba ya Yakuwa abanaagiddaabiriza,*+  kwe kugamba, abakugu mu by’emikono, abazimbi, n’abazimbisa amayinja, era bajja kuzikozesa okugula embaawo n’amayinja amateme okuddaabiriza ennyumba.+  Naye temubasaba kunnyonnyola ngeri gye bakozesaamu ssente, kubanga beesigika.”+  Oluvannyuma Kirukiya kabona asinga obukulu yagamba Safani omuwandiisi+ nti: “Nzudde ekitabo ky’Amateeka+ mu nnyumba ya Yakuwa.” Awo Kirukiya n’awa Safani ekitabo ekyo, Safani n’atandika okukisoma.+  Safani omuwandiisi n’agenda eri kabaka n’amugamba nti: “Abaweereza bo baggyeeyo ssente ezibadde mu nnyumba ne bazikwasa abo abaalondebwa okulabirira omulimu gw’ennyumba ya Yakuwa.”+ 10  Ate era Safani omuwandiisi n’agamba kabaka nti: “Waliwo ekitabo+ Kirukiya kabona ky’ampadde.” Awo Safani n’atandika okukisomera mu maaso ga kabaka. 11  Kabaka olwawulira ebigambo ebiri mu kitabo ky’Amateeka, n’ayuza ebyambalo bye.+ 12  Awo kabaka n’alagira Kirukiya kabona, ne Akikamu+ mutabani wa Safani, ne Akubooli mutabani wa Mikaaya, ne Safani omuwandiisi, ne Asaya omuweereza wa kabaka nti: 13  “Mugende mwebuuze ku Yakuwa ku lwange, ne ku lw’abantu, ne ku lwa Yuda yonna, ebikwata ku bigambo ebiri mu kitabo ekizuuliddwa, kubanga obusungu bwa Yakuwa obutwolekedde bungi,+ olw’okuba bajjajjaffe tebaawuliriza bigambo bya mu kitabo kino, era tebaakola byonna ebyatuwandiikirwa.” 14  Awo Kirukiya kabona ne Akikamu ne Akubooli ne Safani ne Asaya, ne bagenda eri nnabbi Kuluda.+ Kuluda yali mukyala wa Salumu mutabani wa Tikuva mutabani wa Kalukasi, eyali alabirira etterekero ly’ebyambalo. Kuluda yali abeera mu Kitundu Ekipya eky’ekibuga Yerusaalemi; awo ne boogera naye nga bali eyo.+ 15  N’abagamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Mugambe omusajja abatumye gye ndi nti: 16  “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Nja kuleeta akabi ku kifo kino ne ku bantu abakibeeramu; nja kubaleetako ebigambo byonna ebiri mu kitabo kabaka wa Yuda ky’asomye.+ 17  Olw’okuba banvuddeko, ne banyookereza omukka gwa ssaddaaka eri bakatonda abalala+ okunnyiiza n’ebyo byonna bye bakola n’emikono gyabwe,+ obusungu bwange bujja kubuubuukira ekifo kino era tebujja kukoma.’”+ 18  Naye kabaka wa Yuda abatumye okwebuuza ku Yakuwa mumugambe nti, “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba: ‘Ku bikwata ku bigambo by’owulidde, 19  olw’okuba omutima gwo gubadde mugonvu ne weetoowaza+ mu maaso ga Yakuwa bw’owulidde ebigambo bye njogedde ku kifo kino ne ku bantu abakibeeramu—nti bajja kufuuka ekintu eky’entiisa era ekikolimo—n’oyuza ebyambalo byo+ era n’okaaba amaziga mu maaso gange, nange nkuwulidde, bw’ayogera Yakuwa. 20  Eyo ye nsonga lwaki ojja kugoberera* bajjajjaabo, era ojja kugalamizibwa mu ntaana yo mirembe; amaaso go tegajja kulaba kabi ke ŋŋenda okuleeta ku kifo kino.’”’” Awo ne bagenda ne babibuulira kabaka.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “abanaddaabiriza enjatika ezirimu.”
Obut., “nja kukukuŋŋaanyiza eri.”