Ekyabalamuzi 16:1-31

  • Samusooni ng’ali e Gaaza (1-3)

  • Samusooni ne Derira (4-22)

  • Samusooni yeesasuza era afa (23-31)

16  Lumu Samusooni yagenda e Gaaza n’alabayo omukazi malaaya n’agenda mu nnyumba ye.  Ne babuulira ab’omu Gaaza nti: “Samusooni azze eno.” Ne beetooloola ekifo, ne bamuteega ekiro kyonna ku mulyango gw’ekibuga. Ne basirika ekiro kyonna nga bagamba nti: “Obudde bwe bunaatangaala nga tumutta.”  Kyokka Samusooni ne yeebaka okutuusa mu ttumbi. Awo n’agolokoka mu ttumbi n’akwata enzigi z’omulyango gw’ekibuga n’ebikondo byakwo ebibiri n’abisimbulayo n’ekisiba kyakwo, n’abiteeka ku bibegaabega bye n’abitwala ku ntikko y’olusozi oluli mu maaso ga Kebbulooni.  Oluvannyuma lw’ebyo n’aganza omukazi ow’omu Kiwonvu ky’e Soleki, eyali ayitibwa Derira.+  Abafuzi b’Abafirisuuti ne bajja eri omukazi oyo ne bamugamba nti: “Mukemekkereze*+ otegeere wa gy’aggya amaanyi amangi bwe gatyo, ne kye tuyinza okukola okumusinza amaanyi ne tumusiba n’aba nga takyalina ky’asobola kukola; buli omu ku ffe ajja kukuwa ebitundu bya ffeeza 1,100.”  Oluvannyuma Derira n’agamba Samusooni nti: “Nkwegayiridde, mbuulira ensibuko y’amaanyi go amangi, na ki ekiyinza okukozesebwa okukusiba n’oba nga tokyalina ky’osobola kukola.”  Samusooni n’amugamba nti: “Bwe bansibisa emiguwa emibisi musanvu egy’omutego, egitakaziddwa, amaanyi ganzigwaamu ne mba ng’omuntu omulala yenna.”  Awo abafuzi b’Abafirisuuti ne baleetera omukazi emiguwa emibisi musanvu egy’omutego, egitakaziddwa, n’agimusibisa.  Ne bateeka abasajja mu kisenge okumuteega, omukazi n’amugamba nti: “Samusooni, Abafirisuuti baabano!” Awo n’akutula emiguwa gy’omutego ng’akagoogwa bwe kakutukamu nga kakoonye ku muliro.+ Ensibuko y’amaanyi ge n’etamanyibwa. 10  Era Derira n’agamba Samusooni nti: “Laba! Ombuzaabuza bubuzaabuza* era onnimba. Kaakano nkwegayiridde mbuulira kye bayinza okukusibisa.” 11  N’amugamba nti: “Bwe bansibisa emiguwa emipya egitakozesebwangako mulimu gwonna, amaanyi ganzigwaamu ne mba ng’omuntu omulala yenna.” 12  Derira n’addira emiguwa emipya n’agimusiba n’amugamba nti: “Samusooni, Abafirisuuti baabo!” (Ekiseera ekyo kyonna waaliwo abasajja abaali bamuteeze mu kisenge.) Awo n’agikutulamu ng’akutula wuzi+ ne giva ku mikono gye. 13  Derira n’agamba Samusooni nti: “N’okutuusa kaakano ombuzaabuza bubuzaabuza era onnimba.+ Mbuulira kye bayinza okukusibisa.” N’amugamba nti: “Bw’osiba emiguwa omusanvu egy’enviiri zange ng’okozesa wuzi ez’oku muti okulukirwa.” 14  Awo n’agisiba n’aginyweza ng’akozesa olubambo, oluvannyuma n’amugamba nti: “Samusooni, Abafirisuuti baabo!” N’azuukuka n’asikamu olubambo ne wuzi ez’oku muti okulukirwa. 15  Derira n’amugamba nti: “Lwaki ogamba nti onjagala+ naye ng’omutima gwo tegundiiko? Emirundi gino esatu obadde ombuzaabuza bubuzaabuza era tombuulidde nsibuko y’amaanyi go amangi.”+ 16  Olw’okuba yamubeebanga buli lunaku, Samusooni yeetamwa n’ajula okufa.+ 17  Ddaaki yamubuulira byonna ebyali ku mutima gwe n’amugamba nti: “Akamweso tekayitangako ku mutwe gwange, kubanga ndi Munaziri wa Katonda okuva lwe nnazaalibwa.*+ Bwe nsalibwako enviiri, amaanyi ganzigwaamu ne nnafuwa ne mba ng’abantu abalala bonna.” 18  Derira bwe yakitegeera nti Samusooni yali amubuulidde byonna ebyali ku mutima gwe, amangu ago n’atumya bayite abafuzi b’Abafirisuuti+ ng’agamba nti: “Ku luno mujje, kubanga ambuulidde byonna ebiri ku mutima gwe.” Abafuzi b’Abafirisuuti ne bajja ne bamuleetera ssente. 19  Awo n’amwebasa ku maviivi ge; n’ayita omusajja n’amusalako emiguwa omusanvu egy’enviiri ze. Awo Derira n’atandika okuba n’obuyinza ku Samusooni, kubanga amaanyi gaagenda gamuggwaamu. 20  Derira n’agamba nti: “Samusooni, Abafirisuuti baabo!” Awo n’azuukuka mu tulo n’agamba nti: “Nja kufuluma nneetakkuluze nga bwe mbaddenga nkola ku mirundi emirala.”+ Naye teyamanya nti Yakuwa yali takyali naye. 21  Abafirisuuti ne bamukwata ne bamuggyamu amaaso ne bamutwala e Gaaza ne bamusiba empingu bbiri ez’ekikomo; n’akolanga ogw’okusa emmere ey’empeke mu kkomera. 22  Naye enviiri z’oku mutwe gwe zaddamu okumera oluvannyuma lw’okuzimusalako.+ 23  Abaami b’Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka nnyingi eri Dagoni+ katonda waabwe, n’okujaguza, era ne bagamba nti: “Katonda waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe!” 24  Abantu bwe baamulaba ne batandika okutendereza katonda waabwe nga bagamba nti: “Katonda waffe agabudde mu mukono gwaffe omulabe waffe eyayonoona ensi yaffe+ era eyatuttira abantu baffe abangi.”+ 25  Olw’okuba emitima gyabwe gyali gisanyuse, baagamba nti: “Muyite Samusooni atusanyuseemu.” Ne bayita Samusooni okuva mu kkomera abasanyuseemu; ne bamuyimiriza wakati w’empagi. 26  Samusooni n’agamba omulenzi eyali amukutte ku mukono nti: “Leka nkwate ku mpagi eziwaniridde ekizimbe, nzeesigameko.” 27  (Ennyumba yali ejjudde abasajja n’abakazi, era n’abafuzi b’Abafirisuuti bonna baaliwo; waggulu ku nnyumba waaliyo abasajja n’abakazi nga 3,000 abaali batunuulira Samusooni ng’abasanyusaamu.) 28  Samusooni+ n’akoowoola Yakuwa n’agamba nti: “Yakuwa Mukama Afuga Byonna, nkwegayiridde, nzijukira ompe amaanyi+ omulundi guno gwokka, Ai Katonda, mpoolere eggwanga ku Bafirisuuti olw’erimu ku maaso gange.”+ 29  Awo Samusooni ne yeesigama empagi ebbiri eza wakati ezaali ziwaniridde ennyumba, n’azikwatako, emu n’omukono gwe ogwa ddyo ate endala n’omukono gwe ogwa kkono. 30  Samusooni n’agamba nti: “Ka nfiire wamu n’Abafirisuuti!” Awo n’asindika empagi n’amaanyi ge gonna, ennyumba n’egwa ku baami ne ku bantu bonna abaagirimu,+ bw’atyo n’atta abantu bangi mu kufa kwe okusinga abo be yatta nga mulamu.+ 31  Oluvannyuma baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe bonna ne bajja okumunona. Ne bamutwala ne bamuziika wakati wa Zola+ ne Esutawoli gye baaziika kitaawe Manowa.+ Yali alamulidde Isirayiri emyaka 20.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Musendesende.”
Oba, “Onzannyisa buzannyisa.”
Obut., “okuva mu lubuto lwa mmange.”