Nekkemiya 8:1-18

  • Amateeka gasomebwa era ne gannyonnyolwa (1-12)

  • Embaga y’Ensiisira ekwatibwa (13-18)

8  Awo abantu bonna ne bakuŋŋaana wamu mu kibangirizi ekyali mu maaso g’Omulyango ogw’Amazzi+ nga bali bumu. Ne bagamba Ezera+ omukoppolozi* aleete ekitabo ky’Amateeka ga Musa,+ Yakuwa ge yawa Isirayiri.+  Ku lunaku olusooka olw’omwezi ogw’omusanvu,+ Ezera kabona n’aleeta Amateeka mu maaso g’ekibiina+ ky’abasajja n’abakazi n’abo bonna abaali basobola okuwulira ne bategeera.  N’asoma ekitabo ekyo mu ddoboozi ery’omwanguka+ ng’ali mu kibangirizi ekiri mu maaso g’Omulyango gw’Amazzi, okuva ku makya okutuuka mu ttuntu. Yakisomera mu maaso g’abasajja n’abakazi n’abo bonna abaali basobola okutegeera, era abantu bonna baawuliriza bulungi+ ebiri mu kitabo ky’Amateeka.  Ezera omukoppolozi* yali ayimiridde ku kituuti eky’embaawo ekyali kikoleddwa olw’omukolo ogwo; era okumpi naye ku mukono gwe ogwa ddyo waali wayimiriddewo Mattisiya, Seema, Anaya, Uliya, Kirukiya, ne Maaseya; ate ku mukono gwe ogwa kkono waali wayimiriddewo Pedaya, Misayeri, Malukiya,+ Kasumu, Kasu-baddana, Zekkaliya, ne Mesulamu.  Awo Ezera n’abikkula ekitabo ng’abantu bonna balaba kubanga yali ayimiridde ku kituuti, era bwe yabikkula ekitabo abantu bonna ne bayimirira.  Ezera n’atendereza Yakuwa Katonda ow’amazima, Katonda Omukulu, era abantu bonna ne baddamu nti “Amiina!*+ Amiina!” era ne bawanika emikono gyabwe. Awo abantu ne bavunnamira Yakuwa obwenyi bwabwe ne butuukira ddala ku ttaka.  Era Yesuwa, Bani, Serebiya,+ Yamini, Akkubu, Sabbesayi, Kodiya, Maaseya, Kerita, Azaliya, Yozabadi,+ Kanani, ne Peraya, abaali Abaleevi, baali bannyonnyola abantu Amateeka+ ng’abantu bayimiridde.  Ne beeyongera okusoma ekitabo, kwe kugamba, Amateeka ga Katonda ow’amazima, mu ddoboozi ery’omwanguka, ne bagannyonnyola bulungi era ne baggyayo amakulu; bwe batyo ne bayamba abantu okutegeera ebyali bisomebwa.+  Nekkemiya, eyali gavana* mu kiseera ekyo, ne Ezera+ kabona era omukoppolozi,* n’Abaleevi abaali bayigiriza abantu ne bagamba abantu bonna nti: “Olunaku luno lutukuvu eri Yakuwa Katonda wammwe.+ Temunakuwala era temukaaba.” Kubanga abantu bonna baakaaba bwe baawulira ebigambo by’Amateeka. 10  Awo n’abagamba nti: “Mugende mulye ebya ssava, munywe ebiwoomerera, era mugabire+ n’oyo atalina ky’ateeseteese, kubanga olunaku luno lutukuvu eri Mukama waffe; temunakuwala kubanga essanyu lya Yakuwa kye kigo kyammwe.”* 11  Awo Abaleevi ne bakkakkanya abantu bonna nga babagamba nti: “Musirike! kubanga olunaku luno lutukuvu, era temunakuwala.” 12  Abantu bonna ne bagenda ne balya ne banywa ne baweereza n’abalala eby’okulya era ne basanyuka nnyo+ kubanga baali bategedde ebigambo ebyali bibabuuliddwa.+ 13  Ku lunaku olw’okubiri, abakulu b’ennyumba za bakitaabwe b’abantu bonna, ne bakabona, n’Abaleevi, ne bakuŋŋaanira awaali Ezera omukoppolozi* basobole okweyongera okutegeera ebigambo by’Amateeka. 14  Awo ne basanga nga kyawandiikibwa mu Mateeka nti Yakuwa yalagira ng’ayitira mu Musa nti Abayisirayiri balina okubeera mu nsiisira mu kiseera eky’embaga mu mwezi ogw’omusanvu,+ 15  era nti balina okulangirira+ mu bibuga byabwe byonna ne mu Yerusaalemi yonna nti: “Mugende mu nsozi muleete amatabi g’emizeyituuni, n’amatabi g’emiti gya payini, n’amatabi g’emikadasi, n’ag’enkindu, n’ag’emiti emirala, muzimbe ensiisira nga bwe kyawandiikibwa.” 16  Awo abantu ne bagenda ne bagaleeta okuzimba ensiisira, buli omu waggulu ku nnyumba ye, mu mpya zaabwe, mu mpya z’ennyumba ya Katonda ow’amazima,+ mu kibangirizi eky’oku Mulyango gw’Amazzi,+ ne mu kibangirizi eky’oku Mulyango gwa Efulayimu.+ 17  Bwe kityo ekibiina kyonna eky’abo abaava mu buwambe ne bazimba ensiisira ne bazibeeramu. Abayisirayiri baali tebakolangako bwe batyo okuva mu kiseera kya Yoswa+ mutabani wa Nuuni okutuuka ku lunaku olwo, era waaliwo okusanyuka kwa maanyi nnyo.+ 18  Ekitabo ky’Amateeka ga Katonda ow’amazima+ kyasomebwanga buli lunaku, okuva ku lunaku olwasooka okutuuka ku lunaku olwasembayo. Baakwata embaga okumala ennaku musanvu, ku lunaku olw’omunaana ne wabaawo olukuŋŋaana olw’enjawulo nga bwe kyalagirwa.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “omuwandiisi.”
Oba, “omuwandiisi.”
Oba, “Kibeere bwe kityo!”
Oba, “omuwandiisi.”
Laba obugambo obuli wansi ku Ezr 2:63.
Oba, “ge maanyi gammwe.”
Oba, “omuwandiisi.”