Tito 2:1-15

  • Obulagirizi eri abato n’abakulu (1-15)

    • Weewale obutatya Katonda (12)

    • Okunyiikirira ebikolwa ebirungi (14)

2  Naye ggwe, weeyongere okwogera ebintu ebikwatagana n’okuyigiriza okw’omuganyulo.+  Abasajja abakadde babeerenga n’empisa ezisaana, babeerenga ba buvunaanyizibwa, abalina endowooza ennuŋŋamu, abanywevu mu kukkiriza,* mu kwagala, ne mu kugumiikiriza.  Mu ngeri y’emu, abakazi abakulu beeyisenga nga bwe kigwanira abatukuvu, nga tebawaayiriza oba okufugibwa omwenge omungi, naye nga bayigiriza ebirungi;  basobole okukubiriza* abakazi abato okwagalanga abaami baabwe, okwagalanga abaana baabwe,  okubeera n’endowooza ennuŋŋamu, okubeera abalongoofu, okukolanga emirimu gy’awaka,* okubeeranga abantu abalungi, n’okugonderanga abaami baabwe,+ ekigambo kya Katonda kireme okwogerwako obubi.  N’abavubuka bakubirizenga okuba n’endowooza ennuŋŋamu,+  ng’ossaawo ekyokulabirako ekirungi mu kukola ebikolwa ebirungi mu buli kintu. Yigirizanga ebintu ebirongoofu ng’oli mumalirivu,+  ng’okozesa ebigambo ebisaana* ebitayinza kuvumirirwa,+ kiviireko abo abatuwakanya okuswala, olw’obutaba na kibi kya kutwogerako.+  Abaddu bagonderenga bakama baabwe mu bintu byonna,+ era babasanyusenga, nga tebabaanukula bubi, 10  nga tebababba,+ naye nga baba beesigwa mu byonna, balyoke balungiyenga okuyigiriza kw’Omulokozi waffe Katonda mu bintu byonna.+ 11  Kubanga ekisa kya Katonda eky’ensusso ekireetera abantu aba buli ngeri obulokozi kyoleseddwa.+ 12  Kituyigiriza okwewala obutatya Katonda n’okwegomba okw’omu nsi,+ era n’okubeeranga n’endowooza ennuŋŋamu, n’obutuukirivu, n’okwemalira ku Katonda mu nteekateeka y’ebintu eno,*+ 13  nga tulindirira essuubi ery’ekitalo,+ n’okulabisibwa okw’ekitiibwa okwa Katonda omukulu, n’okw’Omulokozi waffe Yesu Kristo, 14  eyeewaayo ku lwaffe+ asobole okutununula+ mu bujeemu obwa buli ngeri n’okutulongoosa tubeere abantu be, ekintu kye ekiganzi, abanyiikirira ebikolwa ebirungi.+ 15  Weeyongere okwogeranga ebintu bino, kubirizanga, era nenyanga n’obuyinza bwonna.+ Omuntu yenna takunyoomanga.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “abalamu obulungi mu kukkiriza.”
Oba, “okujjukiza; okutendeka.”
Oba, “okufaayo ku maka gaabwe.”
Oba, “ebiganyula.”
Laba Awanny.