Yeremiya 1:1-19

  • Yeremiya alondebwa okuba nnabbi (1-10)

  • Okwolesebwa okukwata ku muloozi (11, 12)

  • Okwolesebwa okukwata ku ntamu (13-16)

  • Yeremiya azzibwamu amaanyi (17-19)

1  Bino bye bigambo bya Yeremiya* mutabani wa Kirukiya, omu ku bakabona abaali mu Anasosi+ mu kitundu kya Benyamini.  Yakuwa yayogera naye mu kiseera kya Yosiya+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Amoni,+ mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ogw’obufuzi bwe.  Ate era yayogera naye mu kiseera kya Yekoyakimu+ mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, okutuusiza ddala ku nkomerero y’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddeekiya+ mutabani wa Yosiya, kabaka wa Yuda, okutuusa Yerusaalemi bwe yatwalibwa mu buwaŋŋanguse mu mwezi ogw’okutaano.+  Yakuwa yaŋŋamba nti:   “Nnakumanya* nga sinnakutonda mu lubuto lwa nnyoko,+Era nga tonnazaalibwa* nnakutukuza.*+ Nnakufuula nnabbi eri amawanga.”   Naye ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Simanyi kwogera,+ kubanga ndi mwana muto.”+   Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Togamba nti, ‘Ndi mwana muto.’ Naye genda eri abo bonna gye nkutuma,Era oyogere byonna bye nkulagira.+   Totya olw’endabika yaabwe,+Kubanga ‘Ndi wamu naawe okukulokola,’+ Yakuwa bw’agamba.”  Awo Yakuwa n’agolola omukono gwe n’akwata ku mumwa gwange.+ Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko.+ 10  Laba, olwa leero nkuwadde obuyinza ku mawanga ne ku bwakabaka, okusiguukulula n’okumenya, okuzikiriza n’okusuula, okuzimba n’okusimba.”+ 11  Awo Yakuwa n’ambuuza nti: “Kiki ky’olaba Yeremiya?” Ne mmuddamu nti: “Ndaba ettabi ly’omuti gw’omuloozi.”* 12  Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti; “Olabye bulungi, kubanga nsigadde ntunula okusobola okutuukiriza ekigambo kyange.” 13  Yakuwa n’ayogera nange omulundi ogw’okubiri n’aŋŋamba nti: “Kiki ky’olaba?” Ne mmuddamu nti: “Ndaba entamu* eyeesera,* ng’omumwa gwayo gwewunzikidde bukiikaddyo, ng’ate entobo yaayo etunudde ebukiikakkono.” 14  Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Akabi kaliva ebukiikakkonoNe katuuka ku bantu bonna ab’omu nsi eno.+ 15  ‘Nkoowoola ebika byonna eby’obwakabaka obw’ebukiikakkono,’ Yakuwa bw’agamba,+‘Era birijja; bakabaka baliteeka entebe zaabwe ez’obwakabakaKu miryango gya Yerusaalemi,+Ne ku bbugwe waakyo okukyetooloolaNe ku bibuga byonna ebya Yuda.+ 16  Era nja kulangirira emisango gye mbasalidde olw’ebintu ebibi byonna bye bakola,Kubanga banvuddeko,+Era banyookereza omukka gwa ssaddaaka eri bakatonda abalala+Era bavunnamira ebyo bye baakola n’emikono gyabwe.’+ 17  Naye weeteeketeeke,*Era yimuka obagambe byonna bye nkulagira. Tobatya,+Nneme kukuleetera ntiisa mu maaso gaabwe. 18  Kubanga leero nkufudde ekibuga ekiriko bbugwe,Empagi ey’ekyuma, era bbugwe ow’ekikomo, osobole okwaŋŋanga ensi ya Yuda yonna,+Bakabaka baayo n’abaami baayo,Bakabona baayo n’abantu baamu.+ 19  Bajja kukulwanyisa,Naye tebajja kukuwangula,Kubanga ‘Ndi wamu naawe okukulokola,’+ Yakuwa bw’agamba.”

Obugambo Obuli Wansi

Liyinza okuba litegeeza, “Yakuwa agulumiza.”
Oba, “Nnakulonda.”
Oba, “nnakwawulawo.”
Obut., “nga tonnava mu lubuto.”
Obut., “ly’azuukuka.”
Oba, “entamu ey’omumwa omugazi.”
Obut., “efuuyibwako,” ekiraga nti wansi waayo waaliyo omuliro oguwujjibwa.
Obut., “siba ekiwato.”