Yeremiya 14:1-22

  • Ekyeya, enjala, n’ekitala (1-12)

  • Bannabbi ab’obulimba basalirwa omusango (13-18)

  • Yeremiya akkiriza nti abantu boonoonye (19-22)

14  Bino bye bigambo Yakuwa bye yagamba Yeremiya ku nsonga ey’ebyeya:+   Yuda ekungubaga,+ era enzigi zaayo zimenyesemenyese. Zigudde ku ttaka nga zinakuwadde,Era okukaaba kuwuliddwa mu Yerusaalemi.   Bakama baabwe batuma abaweereza baabwe amazzi. Bagenda ku bidiba* naye tebagasangayo. Bakomawo ng’ensumbi zaabwe nkalu. Baswala era banakuwala,Era beebikka ku mitwe.   Ettaka lyatiseyatise,Olw’okuba enkuba tetonnya mu nsi,+Abalimi basobeddwa ne beebikka ku mitwe.   N’empeewo ey’oku ttale erekawo omwana gwayo gwe yaakazaalaOlw’okuba tewali muddo.   Endogoyi ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obutaliiko bimera. Ziwejjawejja ng’ebibe;Amaaso gaazo tegakyalaba bulungi olw’okuba tewali muddo.+   Wadde ng’ensobi zaffe zitulumiriza,Ai Yakuwa, baako ky’okolawo ku lw’erinnya lyo.+ Kubanga ebikolwa byaffe eby’obutali bwesigwa bingi,+Era twonoonye mu maaso go.   Ai ggwe essuubi lya Isirayiri, Omulokozi we+ mu biseera eby’okulaba ennaku,Lwaki obeera ng’omugenyi mu nsi? Lwaki oba ng’omuntu ali ku lugendo akyama awantu n’asulawo olumu?   Lwaki oba ng’omuntu asobeddwa? Lwaki obeera ng’omusajja ow’amaanyi atasobola kulokola? Ai Yakuwa, oli mu ffe,+Era tuyitiddwa erinnya lyo.+ Totwabulira. 10  Bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku bantu bano: “Baagala okubungeeta;+ tebaziyizza bigere byabwe.+ Yakuwa kyava tabasanyukira.+ Kaakano agenda kujjukira ensobi zaabwe era ababonereze olw’ebibi byabwe.”+ 11  Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Abantu bano tobasabira birungi.+ 12  Bwe basiiba, siwuliriza kwegayirira kwabwe,+ era bwe bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, sibisanyukira,+ era nja kubatta n’ekitala, n’enjala, n’endwadde.”+ 13  Awo ne ŋŋamba nti: “Ai Yakuwa Mukama Afuga Byonna! Laba, bannabbi babagamba nti, ‘Temujja kuba na lutalo, wadde enjala, naye Katonda ajja kubawa emirembe egya nnamaddala mu kifo kino.’”+ 14  Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti: “Bannabbi balagula bya bulimba mu linnya lyange.+ Sibatumye wadde okubalagira wadde okwogera nabo.+ Okwolesebwa okw’obulimba n’eby’obulaguzi ebitagasa, era n’obulimba obuli mu mitima gyabwe bye bababuulira.+ 15  Kale bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku bannabbi abalagula mu linnya lyange wadde nga saabatuma, era abagamba nti tewajja kubaawo lutalo na njala mu nsi eno. ‘Bannabbi abo bajja kufa ekitala n’enjala.+ 16  Era abantu abo abawuliriza bye balagula bajja kufa ekitala n’enjala, emirambo gyabwe gisuulibwe mu nguudo za Yerusaalemi, era tewajja kubaawo abaziika,+ bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, ne bawala baabwe, kubanga nja kubatuusaako akabi akabagwanira.’+ 17  “Bategeeze ebigambo bino: ‘Amaaso gange ka gakulukuse amaziga emisana n’ekiro; ka galeme kulekera awo,+Kubanga omuwala embeerera ow’abantu bange akubiddwa nnyo,+Era alina ekiwundu kinene. 18  Bwe ŋŋenda ku ttale ne ntunula,Ndaba abo abattiddwa ekitala!+ Bwe nnyingira mu kibuga,Ndaba endwadde ezireeteddwa enjala!+ Bannabbi ne bakabona babundirabundira mu nsi gye batamanyi.’”+ 19  Ai Katonda, weesambidde ddala Yuda, era okyaye Sayuuni?+ Lwaki otukubye, ne tuba nga tetusobola kuwona?+ Waaliwo essuubi ery’okufuna emirembe, naye tewali kirungi ekyajja,N’essuubi ery’okuwonyezebwa, naye entiisa y’eriwo!+ 20  Tukkirizza nti tuli bantu babi nnyo, Ai Yakuwa,Era tukkirizza n’ensobi za bajjajjaffe,Kubanga twonoonye mu maaso go.+ 21  Totwesamba ku lw’erinnya lyo;+Tonyooma ntebe yo ey’ekitiibwa. Jjukira endagaano gye wakola naffe, era togimenya.+ 22  Ebifaananyi by’ab’amawanga ebitalina mugaso bisobola okutonnyesa enkuba? Oba eggulu lisobola okutonnyesa enkuba ku bwalyo? Ggwe wekka asobola okukikola, Ai Yakuwa Katonda waffe.+ Essuubi lyaffe liri mu ggwe,Kubanga ggwe wekka akoze ebintu ebyo byonna.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “binnya; nzizi.”