Yeremiya 24:1-10

  • Ebibala by’ettiini ebirungi n’ebibi (1-10)

24  Awo Yakuwa n’andaga ebisero bibiri ebyalimu ettiini nga biteereddwa mu maaso ga yeekaalu ya Yakuwa. Ekyo kyaliwo nga Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni amaze okuggya mu Yerusaalemi Yekoniya*+ kabaka wa Yuda, mutabani wa Yekoyakimu,+ n’amutwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni awamu n’abaami ba Yuda, n’abakugu mu kukola eby’emikono, era n’abaweesi.*+  Ekisero ekimu kyalimu ebibala by’ettiini ebirungi ennyo, nga biringa ebibala by’ettiini ebisooka okwengera, naye ekisero eky’okubiri kyalimu ebibala by’ettiini ebibi ennyo, nga tebiriika olw’obubi bwabyo.  Yakuwa n’ambuuza nti: “Kiki ky’olaba Yeremiya?” Ne mmuddamu nti: “Ndaba ebibala by’ettiini; ebibala by’ettiini ebirungi, birungi nnyo, naye ebibala by’ettiini ebibi, bibi nnyo era tebiriika.”+  Awo Yakuwa n’aŋŋamba nti:  “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Okufaananako ebibala by’ettiini ebyo ebirungi, abantu ba Yuda abaawaŋŋangusibwa, be nnagoba mu kifo kino ne bagenda mu nsi y’Abakaludaaya, nja kubakolera ebirungi.  Nja kubassaako eriiso lyange ku lw’obulungi bwabwe, era nja kubakomyawo mu nsi eno.+ Nja kubazimba era sijja kubamenya; nja kubasimba era sijja kubasimbula.+  Nja kubawa omutima okumanya nti nze Yakuwa.+ Bajja kuba bantu bange, era nange nja kuba Katonda waabwe,+ kubanga bajja kudda gye ndi n’omutima gwabwe gwonna.+  “‘Naye ng’ayogera ku bibala by’ettiini ebibi ennyo ebitasobola kuliibwa,+ Yakuwa agamba bw’ati: “Kabaka Zeddeekiya+ owa Yuda, abaami be, n’abantu b’omu Yerusaalemi abaawonawo, abo abakyali mu nsi eno n’abo abali mu nsi ya Misiri,+ nja kubatwala ng’ebibala by’ettiini ebyo.  Nja kubaleetako akabi bafuuke ekintu eky’entiisa eri obwakabaka bwonna mu nsi,+ era bafuuke ekivume, olugero, ekintu ekisekererwa, era ekikolimo+ mu bifo byonna gye nnaabasaasaanyiza.+ 10  Nja kubasindikira ekitala,+ enjala, n’endwadde,+ okutuusa lwe banaasaanawo mu nsi gye nnabawa bo ne bajjajjaabwe.”’”

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Obubaka obuzito.”
Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.
Era ayitibwa Yekoyakini oba Koniya.