Yeremiya 34:1-22

  • Endagaano ey’okuwa abaddu eddembe emenyebwa (8-22)

34  Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni n’eggye lye lyonna n’obwakabaka bwonna obw’ensi obwali mu ttwale lye n’amawanga gonna bwe baali nga balwanyisa Yerusaalemi n’ebibuga byakyo byonna,+ Yakuwa yayogera ne Yeremiya n’amugamba nti:  “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Genda ogambe Kabaka Zeddeekiya+ owa Yuda nti: “Bw’ati Yakuwa bw’agamba, ‘Ŋŋenda kuwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka wa Babulooni, era ajja kukyokya omuliro.+  Tojja kusimattuka mu mukono gwe, kubanga ojja kukwatibwa oweebweyo gy’ali.+ Ojja kulaba kabaka wa Babulooni maaso ku maaso, naye ajja kwogera naawe maaso ku maaso, era ojja kugenda e Babulooni.’+  Kyokka wulira ekigambo kya Yakuwa, ggwe Kabaka Zeddeekiya owa Yuda, ‘Bw’ati Yakuwa bw’ayogera ku ggwe: “Tojja kufa kitala.  Ojja kufiira mu mirembe,+ era bajja kukwoterereza obubaani nga bwe baayoterereza bakitaabo, bakabaka abaakusookawo, era bajja kukukungubagira nga bagamba nti, ‘Woowe mukama waffe!’ kubanga ‘nkyogedde,’ Yakuwa bw’agamba.”’”’”  Awo nnabbi Yeremiya n’ategeeza Kabaka Zeddeekiya owa Yuda ebigambo ebyo byonna mu Yerusaalemi,  eggye lya kabaka wa Babulooni bwe lyali nga lirwanyisa Yerusaalemi n’ebibuga bya Yuda ebyali bisigaddewo,+ nga bino bye bibuga Lakisi+ ne Azeka,+ kubanga ebyo bye bibuga byokka ebyaliko bbugwe ebyali bitannawambibwa mu Yuda.  Yakuwa yayogera ne Yeremiya oluvannyuma lwa Kabaka Zeddeekiya okukola endagaano n’abantu b’omu Yerusaalemi ey’okuta abaddu.+  Buli muntu yali wa kuta abaddu be Abebbulaniya abasajja n’abakazi, waleme kubaawo asigaza Muyudaaya munne ng’omuddu. 10  Awo abaami n’abantu bonna ne bakolera ku ebyo ebyali mu ndagaano. Baali bakoze endagaano nti abantu bonna bate abaddu baabwe abasajja n’abakazi, baleme kuddamu kubakozesa ng’abaddu. Baakolera ku ebyo ebyali mu ndagaano ne babaleka ne bagenda. 11  Kyokka oluvannyuma baakomyawo abaddu baabwe abasajja n’abakazi be baali batadde, ne baddamu okubakozesa ng’abaddu. 12  Awo ekigambo kya Yakuwa ne kijjira Yeremiya okuva eri Yakuwa nga kigamba nti: 13  “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Isirayiri bw’agamba, ‘Nnakola endagaano ne bajjajjammwe+ ku lunaku lwe nnabaggya mu nsi ya Misiri, mu nnyumba ey’obuddu,+ ne mbagamba nti: 14  “Mu mwaka ogw’omusanvu, buli omu ku mmwe alina okuta muganda we Omwebbulaniya gwe baamuguza era anaabanga amuweerezza emyaka mukaaga; ateekwa okumuta.”+ Naye bajjajjammwe tebampuliriza wadde okuŋŋondera. 15  Gye buvuddeko awo* mwakyusa ne mukola ekituufu mu maaso gange ne muta bannammwe abaali abaddu, era ne mukola endagaano mu maaso gange mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange. 16  Naye mwakyuka ne mukomyawo abaddu bammwe abasajja n’abakazi be mwali mutadde okuba ab’eddembe nga bwe baali baagala, ne muddamu okubakozesa ng’abaddu, bwe mutyo ne muvumisa erinnya lyange.’+ 17  “Kale bw’ati Yakuwa bw’agamba: ‘Temuŋŋondedde; buli omu tawadde muganda we na munne ddembe.+ N’olwekyo ŋŋenda kubawa eddembe nga muttibwa n’ekitala, n’endwadde, n’enjala,’+ Yakuwa bw’agamba, ‘era nja kubafuula ekintu eky’entiisa eri obwakabaka bwonna obw’omu nsi.+ 18  Era kino kye kijja okutuuka ku abo abamenye endagaano yange ne batakola ebyo ebiri mu ndagaano gye baakola mu maaso gange bwe baasalamu ennyana ebitundu bibiri ne bayita wakati waabyo,+ 19  ng’abo be baami b’omu Yuda, abaami b’omu Yerusaalemi, abakungu b’omu lubiri, bakabona, n’abantu bonna ab’omu nsi abaayita wakati w’ebitundu by’ennyana: 20  Nja kubawaayo mu mukono gw’abalabe baabwe ne mu mukono gw’abo abaagala okubatta, era emirambo gyabwe gijja kuba mmere ya binyonyi ebibuuka mu bbanga n’ensolo ez’oku nsi.+ 21  Ate era nja kuwaayo Kabaka Zeddeekiya owa Yuda n’abaami be mu mukono gw’abalabe baabwe ne mu mukono gw’abo abaagala okubatta ne mu mukono gw’eggye lya kabaka wa Babulooni+ erigumbulukuse ne libaviira.’+ 22  “‘Nja kuwa ekiragiro,’ Yakuwa bw’agamba, ‘era nja kubakomyawo mu kibuga kino, era bajja kukirwanyisa bakiwambe era bakyokye omuliro;+ ebibuga bya Yuda nja kubifuula matongo, omutajja kuba muntu n’omu.’”+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “ezzadde.”
Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.