Yeremiya 39:1-18

  • Okugwa kwa Yerusaalemi (1-10)

    • Zeddeekiya adduka era akwatibwa (4-7)

  • Yeremiya si wa kutuukibwako kabi (11-14)

  • Ebedumereki wa kuwonawo (15-18)

39  Mu mwaka ogw’omwenda ogw’obufuzi bwa Kabaka Zeddeekiya owa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni n’eggye lye lyonna ne bajja e Yerusaalemi, ne bakizingiza.+  Mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi bwa Zeddeekiya, mu mwezi ogw’okuna, ku lunaku olw’omwenda, baabomola bbugwe w’ekibuga.+  Abaami bonna aba kabaka wa Babulooni, omwali Samugalu Nerugalu-salezeeri, Labusalisi* Nebo-Salusekimu, Labumagi* Nerugalu-salezeeri, n’abaami abalala aba kabaka wa Babulooni, ne bayingira ne batuula mu Mulyango Ogwa Wakati.+  Kabaka Zeddeekiya owa Yuda n’abasirikale be bonna bwe baabalaba ne badduka.+ Baava mu kibuga ekiro nga bayitira mu mulyango ogwali wakati w’ebisenge ebibiri okumpi n’ennimiro ya kabaka, ne bakwata ekkubo erigenda mu Alaba.+  Naye eggye ly’Abakaludaaya ne libawondera, ne lisanga Zeddeekiya mu ddungu lya Yeriko,+ ne bamukwata ne bamutwala eri Kabaka Nebukadduneeza* owa Babulooni e Libula+ mu kitundu ky’e Kamasi,+ n’amusalira omusango.  Kabaka wa Babulooni yattira abaana ba Zeddeekiya e Libula nga Zeddeekiya alaba, era n’atta n’abakungu b’omu Yuda.+  Yaggyamu Zeddeekiya amaaso, oluvannyuma n’amusiba empingu ez’ekikomo ne bamutwala e Babulooni.+  Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya* kabaka n’amayumba g’abantu,+ era ne bamenya bbugwe wa Yerusaalemi.+  Nebuzaladaani+ omukulu w’abakuumi n’atwala mu buwaŋŋanguse e Babulooni abantu abalala abaali basigadde mu kibuga, n’abaali bakyuse ne bamwegattako, na buli eyali asigaddewo. 10  Naye Nebuzaladaani omukulu w’abakuumi yaleka mu nsi ya Yuda abamu ku bantu abaali basingayo okuba abaavu, abaali batalina kintu kyonna. Ku lunaku olwo yabawa n’ennimiro z’emizabbibu n’ebibanja okulimamu.*+ 11  Ku bikwata ku Yeremiya, Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni yalagira Nebuzaladaani eyali akulira abakuumi nti: 12  “Mutwale omulabirire; tomukolako kabi konna, era muwe buli ky’akusaba.”+ 13  Awo Nebuzaladaani eyali akulira abakuumi, Labusalisi* Nebusazubaani, Labumagi* Nerugalu-salezeeri, n’abakungu bonna aba kabaka wa Babulooni ne batuma abantu 14  ne baggya Yeremiya mu Luggya lw’Abakuumi+ ne bamuwaayo eri Gedaliya+ mutabani wa Akikamu+ mutabani wa Safani+ bamutwale mu nnyumba ya Gedaliya. Awo n’abeera mu bantu be. 15  Yeremiya bwe yali ng’asibiddwa mu Luggya lw’Abakuumi,+ Yakuwa n’amugamba nti: 16  “Genda ogambe Ebedumereki+ Omwesiyopiya nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba: “Laba ŋŋenda kutuukiriza bye nnayogera ku kibuga kino okukireetako akabi, so si ebirungi, era ku lunaku olwo ojja kukiraba nga kituukirira.”’ 17  “‘Naye nja kukununula ku lunaku olwo, Yakuwa bw’agamba, ‘era tojja kuweebwayo eri abantu b’otya.’ 18  “‘Nja kukuwonya, era tojja kufa kitala. Obulamu bwo bujja kuba munyago gwo*+ olw’okuba onneesize,’+ Yakuwa bw’agamba.”

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “abantu b’emirembe gyo.”
Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.
Oba okusinziira ku nsengeka endala ey’ebigambo mu kiwandiiko ky’Olwebbulaniya, “Nerugalu-salezeeri, Samugalu-nebo, Salusekimu Labusalisi.”
Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.
Oba, “lubiri lwa.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “n’emirimu egy’obuwaze.”
Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.
Oba, “omukungu w’omu lubiri omukulu.”
Oba, “omufumu omukulu
Oba, “Ojja kuwonawo.”