Yeremiya 43:1-13

  • Abantu bajeema ne bagenda e Misiri (1-7)

  • Yakuwa ayogera ne Yeremiya ng’ali e Misiri (8-13)

43  Yeremiya bwe yamala okutegeeza abantu bonna ebigambo bino byonna ebyava eri Yakuwa Katonda waabwe, buli kigambo Yakuwa Katonda waabwe kye yali amutumye okubategeeza,  Azaliya mutabani wa Kosaaya, Yokanani+ mutabani wa Kaleya, n’abasajja bonna ab’amalala ne bagamba Yeremiya nti: “By’oyogera bya bulimba! Yakuwa Katonda waffe takutumye kutugamba nti, ‘Temugenda Misiri kubeera eyo.’  Baluki+ mutabani wa Neriya y’akutuwendulidde otuweeyo eri Abakaludaaya, batutte oba batutwale mu buwaŋŋanguse e Babulooni.”+  Bwe batyo Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna n’abantu bonna ne batagondera ddoboozi lya Yakuwa okusigala mu nsi ya Yuda.  Mu kifo ky’ekyo, Yokanani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi b’eggye bonna ne bagenda n’abantu b’omu Yuda abaali basigaddewo abaakomawo okubeera mu Yuda nga bava mu mawanga gonna gye baali baasaasaanyizibwa.+  Baatwala abasajja, abakazi, abaana, bawala ba kabaka, na buli muntu Nebuzaladaani+ eyali akulira abakuumi gwe yali alekedde Gedaliya+ mutabani wa Akikamu+ mutabani wa Safani,+ awamu ne nnabbi Yeremiya ne Baluki mutabani wa Neriya.  Baagenda mu nsi ya Misiri, kubanga tebaagondera ddoboozi lya Yakuwa, era baatuuka n’e Tapanesi.+  Awo Yakuwa n’ayogera ne Yeremiya ng’ali mu Tapanesi n’amugamba nti:  “Ddira amayinja abiri amanene ogakweke mu matoffaali g’olubalaza awayingirirwa mu nnyumba ya Falaawo mu Tapanesi, ng’abasajja Abayudaaya balaba. 10  Ojja kubagamba nti, ‘Bw’ati Yakuwa ow’eggye Katonda wa Isirayiri bw’agamba: “Laba ntumya Nebukadduneeza* kabaka wa Babulooni omuweereza wange,+ era nja kuteeka entebe ye ey’obwakabaka ku mayinja gano ge nkwese, era ajja kusimba weema ye ey’obwakabaka ebikke ku mayinja gano.+ 11  Ajja kugenda alumbe ensi ya Misiri.+ Ow’okufa endwadde ez’amaanyi ajja kufa endwadde ez’amaanyi, ow’okuwambibwa ajja kuwambibwa, ow’okufa ekitala ajja kufa kitala.+ 12  Nja kukuma omuliro ku nnyumba* za bakatonda b’e Misiri,+ era ajja kuzookya abatwale mu buwambe. Ajja kwambala ensi ya Misiri ng’omusumba bw’ayambala ekyambalo kye, era ajja kuvaayo mirembe.* 13  Ajja kumenyaamenya empagi z’e Besu-semesi* mu nsi ya Misiri, era ajja kwokya ennyumba* za bakatonda b’e Misiri omuliro.”’”

Obugambo Obuli Wansi

Laba obugambo obuli wansi ku Yer 21:2.
Oba, “yeekaalu.”
Oba, “nga tatuukiddwako kabi.”
Oba, “Ennyumba (Yeekaalu) y’Enjuba,” kwe kugamba, Keriyopolisi.
Oba, “yeekaalu.”