Yeremiya 47:1-7

  • Obunnabbi obukwata ku Bafirisuuti (1-7)

47  Bino bye bigambo ebikwata ku Bafirisuuti+ Yakuwa bye yagamba nnabbi Yeremiya, nga Falaawo Neeko tannalumba Gaaza.  Bw’ati Yakuwa bw’agamba: “Laba! Amazzi gajja nga gava ebukiikakkono. Gajja kufuuka omugga ogwanjaala. Gajja kubuutikira ensi ne byonna ebigirimu,Ekibuga n’abo abakibeeramu. Abantu bajja kukaaba,Era buli abeera mu nsi ajja kukuba ebiwoobe.   Omusinde gw’ebinuulo by’embalaasi ze bwe guwulirwa,Amagaali ge ag’olutalo bwe gawulirwa nga gawulungutaNe nnamuziga ze bwe ziwulirwa nga zikubagana,Bataata tebatunula na mabega kuyamba baana baabwe,Kubanga emikono gyabwe giggwaamu amaanyi,   Olw’okuba olunaku olujja lugenda kuzikiriza Abafirisuuti bonna;+Lujja kuggya ku Ttuulo+ ne Sidoni+ abayambi bonna abasigaddewo. Kubanga Yakuwa ajja kuzikiriza Abafirisuuti,Abasigaddewo ab’oku kizinga Kafutoli.*+   Gaaza kijja kufuna ekiwalaata.* Asukulooni kisirisiddwa.+ Mmwe abasigaddewo ab’omu kiwonvu kyabwe,Mulituusa wa okwesala emisale?+   Ggwe ekitala kya Yakuwa!+ Olituusa wa obutasirika? Ddayo mu kiraato kyo. Wummula osirike.   Kiyinza kitya okusirikaNga Yakuwa akiragidde? AkitumyeOkulwanyisa Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja.”+

Obugambo Obuli Wansi

Kwe kugamba, Kuleete.
Kitegeeza nti bajja kumwako enviiri zaabwe olw’okukungubaga n’okuswala.