Abavubuka—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?
Abavubuka—Munaakozesa Mutya Obulamu Bwammwe?
“NJAGALA okufuna ekisingayo obulungi mu bulamu,” bw’atyo omuwala omu omuto bw’agamba. Awatali kubuusabuusa ekyo naawe ky’oyagala. Naye osobola otya okufuna “ekisingayo obulungi” mu bulamu? Emikutu gy’empuliziganya, mikwano gyo, oba n’abasomesa bo bayinza okukugamba nti singa ofuna ssente nnyingi oba omulimu omulungi, olwo ojja kuba ofunye ekisingayo obulungi mu bulamu.
Kyokka, Baibuli erabula abavubuka nti okunoonya eby’obugagga kiringa ‘okugoba empewo.’ (Omubuulizi 4:4) Ensonga emu lwaki kiri kityo eri nti abavubuka batono nnyo abafuna obugagga n’ettutumu. Abo ababifuna, emirundi mingi beesanga nga si bamativu n’akamu. Omuvubuka omu Omungereza eyasomerera omulimu omulungi yagamba: “[Eby’obugagga] biringa ekibokisi ekikalu, omutali kantu ng’okitunuddemu.” Kyo kituufu, oluusi omulimu guyinza okusobozesa omuntu okufuna obugagga n’ettutumu, naye teguyinza kukola ku ‘byetaago eby’eby’omwoyo.’ (Matayo 5:3, NW) Ng’oggyeko ekyo, 1 Yokaana 2:17 lutulabula nti “ensi eggwaawo.” Ne bw’ofuna obugagga n’ettutumu mu nsi eno, biba bya kaseera buseera.
Omubuulizi 12:1 kye wava wakubiriza abavubuka: “Ojju[kira]nga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo.” Yee, engeri esingayo obulungi ey’okukozesaamu obulamu bwo kwe kuweereza Yakuwa Katonda. Naye, okusooka oteekwa okutuukiriza ebisaanyizo ebikusobozesa okuweereza Katonda. Ebisaanyizo ebyo obituukiriza otya, era obulamu obw’okuweereza Katonda buzingiramu ki?
Okutuukiriza Ebisaanyizo Osobole Okuba Omujulirwa wa Yakuwa
Ekisookera ddala, olina okuba ng’oyagala okuweereza Katonda. Kyokka, okwagala kuno tekujja kwokka, ka kibe nga bazadde bo Bakristaayo. Olina okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa eyiyo ku bubwo. “Okusaba kuyamba okufuna enkolagana ennungi eyiyo ku bubwo ne Yakuwa,” bw’atyo omuwala omuto bwe yagamba.—Zabbuli 62:8; Yakobo 4:8.
Abaruumi 12:2 (New World Translation) walaga ekintu ekirala ky’olina okukola. Wagamba: “Mukakasenga Katonda by’ayagala, ebirungi, ebisanyusa, era ebituufu.” Wali weesanzeeko ng’obuusabuusa ebimu ku bintu by’oyigiriziddwa? N’olwekyo, goberera okubuulirira kwa Baibuli ‘okakase’ obanga ebintu ebyo bituufu! Noonyereza. Soma Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako. Kyokka, okuyiga ebikwata ku Katonda si kufuna bufunyi magezi ag’omu mutwe. Waayo obudde okufumiitiriza ku by’osoma bisobole okukka mu mutima gwo. Kino kijja kukusobozesa okweyongera okwagala Katonda.—Zabbuli 1:2, 3.
Oluvannyuma, gezaako okutegeeza abalala by’oyiga, gamba abo b’osoma nabo ku ssomero. Ekiddirira ekyo, weenyigire mu kubuulira nnyumba ku nnyumba. Oluusi n’oluusi ng’obuulira, oyinza okusanga abo b’osoma nabo ku ssomero, era kino kiyinza okukuleetera okutya. Naye Baibuli etukubiriza ‘obutakwatibwa nsonyi mawulire malungi.’ (Abaruumi 1:16) Lwaki wandikwatiddwa ensonyi ng’ate obubaka bw’otwala bwa bulamu era nga buwa essuubi?
Bazadde bo bwe baba nga Bakristaayo, oyinza okuba weenyigira wamu nabo mu kubuulira. Naye okoma ku kuyimirira buyimirizi ku mulyango ng’osirise oba ku kugaba bugabi magazini ne tulakiti nga bazadde bo bokka be boogera? Oyinza okwogera wekka n’omuntu gw’osanze awaka nga weeyambisa Baibuli okumuyigiriza? Bw’oba ng’ekyo tosobola kukikola, funa obuyambi okuva eri bazadde bo oba omuntu omulala akuze mu by’omwoyo mu kibiina. Kifuule kiruubirirwa kyo okufuuka omubuulizi w’amawulire amalungi atali mubatize!
Oluvannyuma lw’ekiseera, omutima gwo gujja kukukubiriza okwewaayo eri Katonda okumuweereza. (Abaruumi 12:1) Kyokka, okwewaayo kwo kulina n’okumanyibwa abalala. Katonda yeetaaza abantu bonna ‘okulangirira mu lujjudde obulokozi.’ (Abaruumi 10:10, NW) Ku kiseera eky’okubatizibwa, osooka kulangirira mu lwatu okukkiriza kwo. Olwo nno okubatizibwa mu mazzi ne kulyoka kugoberera. (Matayo 28:19, 20) Kyo kituufu, okubatizibwa ddaala kkulu nnyo mu bulamu. Naye kino tekyandikulobedde kubatizibwa ng’otya nti oyinza okulemererwa okutuukiriza obuvunaanyizibwa obuzingirwamu. Bwe weesiga Katonda, ajja kukuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo” aganaakusobozesa okuba omunywevu.—2 Abakkolinso 4:7, NW; 1 Peetero 5:10.
Bw’obatizibwa ofuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. (Isaaya 43:10) Kino kyandibaddeko kye kikola ku ngeri gy’okozesaamu obulamu bwo. Okwewaayo kizingiramu ‘okwefiiriza.’ (Matayo 16:24) Oyinza okwerekereza ebiruubirirwa byo kikusobozese ‘okusooka okunoonya obwakabaka bwa Katonda.’ (Matayo 6:33) N’olwekyo, okwewaayo n’okubatizibwa kikusobozesa okutuuka ku ngeri nnyingi ez’okukolamu ekyo. Ka twetegereze ezimu ku zo.
Engeri z’Okuweerezaamu Katonda Ekiseera Kyonna
● Okuweereza nga payoniya y’emu ku ngeri zino. Payoniya ye mubuulizi Omukristaayo akoze enteekateeka ey’okubuulira amawulire amalungi essaawa ezitakka wansi wa 70 buli mwezi. Okumala ekiseera ekiwanvu mu nnimiro kijja kukuyamba okukulaakulanya obusobozi bwo obw’okubuulira n’okuyigiriza. Bapayoniya bangi bafunye essanyu eriva mu kuyamba abantu be bayigiriza Baibuli okufuuka Abajulirwa ababatize. Mulimu ki omulala oguyinza okuleeta essanyu eryenkana awo?
Okusobola okweyimirizaawo, bapayoniya bangi balina obulimu obutonotono bwe bakola. Bangi beetegekera obuvunaanyizibwa buno nga bayiga emirimu gy’emikono ku ssomero oba okuva ku bazadde baabwe. Bwe kiba nga ggwe ne bazadde bo mulaba nti kijja kuba kya muganyulo ofuneyo okutendekebwa okulala oluvannyuma lw’emisomo gya ssekendule, ekiruubirirwa kyo ka kireme kuba okwefunira ssente nnyingi, wabula ka kibe okweyimirizaawo mu buweereza, era oboolyawo mu buweereza obw’ekiseera kyonna.
Kyokka, payoniya ky’asinga okussaako essira si gwe mulimu gwe mw’ajja eky’okulya, wabula obuweereza bwe; kwe kugamba, okuyamba abalala okufuna obulamu! Lwaki tossaawo ekiruubirirwa eky’okuweereza nga payoniya? Okuweereza nga payoniya kitera okutuusa ku nkizo endala nnyingi. Ng’ekyokulabirako, bapayoniya abamu bagenda mu bitundu awali obwetaavu obusingawo obw’ababuulizi b’Obwakabaka. Ate abalala bayiga olulimi olugwira ne baweereza mu kibiina ekyogera olulimi olugwira mu nsi yaabwe oba mu nsi endala. Yee, obwapayoniya mulimu oguganyula mu bulamu!
● Essomero ly’Ababuulizi b’Obwakabaka limala emyezi ebiri era litendeka bapayoniya ababa abeetegefu okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako. Bwe beewaayo okukola ekyo baba ng’abagamba nti, ‘Nzuuno! Ntuma!’ era baba bakoppa Yesu Kristo, Omubuulizi w’Amawulire Amalungi asinga bonna abaali babaddewo ku nsi. (Isaaya 6:8; Yokaana 7:29) Omuntu okuva w’abeera n’agenda okubuulira mu bitundu eby’ewala kiyinza okumwetaagisa okubaako enkyukakyuka z’akola. Empisa z’omu kitundu, embeera y’obudde, n’emmere oluusi biba bya njawulo nnyo ku ebyo by’aba amanyidde. Kiyinza n’okumwetaagisa okuyiga olulimi olulala. Essomero lino liyamba baganda baffe ne bannyinnaffe abafumbo n’abatali bafumbo, abali wakati w’emyaka 23 ne 65, okweyongera okukula mu by’omwoyo. Libabangula mu ngeri gye bayinza okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe, bwe batyo ne beeyongera okuba ab’omugaso eri Yakuwa n’eri ekibiina kye.
● Obuweereza bwa Beseri kuba kukola nga nnakyewa ku limu ku matabi ga ofiisi z’Abajulirwa ba Yakuwa. Abamu ku abo abakola ku Beseri bakola emirimu egikwatagana obutereevu n’okufulumya ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli. Abalala bakola emirimu emirala, gamba ng’okuddaabiriza ebizimbe n’ebintu ebikozesebwa oba egyo egikwatagana n’okulabirira abo abakola ku Beseri. Emirimu gyonna egikolebwa ku Beseri buweereza butukuvu eri Yakuwa. Okugatta ku ekyo, abo abali ku Beseri balina essanyu eriva mu kumanya nti buli kimu kye bakola, kiganyula baganda baabwe bangi nnyo mu nsi yonna.
Obw’olumu, ab’oluganda abalina obumanyirivu obw’enjawulo bayitibwa okuweereza ku Beseri. Kyokka, abasinga obungi batendekebwa nga bamaze kutuuka. Abo abali ku Beseri tebakolerera kufuna bugagga naye bamativu kubanga bafuna eky’okulya, aw’okusula ne ssente entonotono ezibayamba okukola ku byetaago byabwe. Omuvubuka omu aweereza ku Beseri ayogera bw’ati ku buweereza bwe: “Walungi nnyo ddala! Emirimu gyayo si myangu naye nfunye essanyu olw’okuweerezaayo.”
● Okuzimba Ebizimbe nabwo buweereza butukuvu. Baganda baffe ne bannyinaffe abakola omulimu ogwo bazimba ofiisi z’amatabi n’Ebizimbe by’Obwakabaka. Omulimu guno gufaananako n’omulimu gw’abo abaazimba yeekaalu ya Sulemaani. (1 Bassekabaka 8:13-18) Enteekateeka y’okulabirira abo abakola omulimu ogwo efaananako n’ey’omu maka ga Beseri. Nga baganda baffe ne bannyinaffe abaweereza mu kiti kino balina enkizo ya kitalo nnyo okuleetera Yakuwa ettendo!
Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna
Okuweereza Yakuwa ye ngeri esingirayo ddala obulungi gy’oyinza okukozesaamu obulamu bwo. Lwaki toteekawo ekiruubirirwa eky’okuweereza Katonda ekiseera kyonna? Kubaganya ebirowoozo ku buweereza obw’ekiseera kyonna ne bazadde bo, abakadde b’omu kibiina kyo, oba omulabirizi w’ekitundu kyo. Bw’oba oyagala okugenda ku Beseri, Giriyadi, oba mu Ssomero Eritendeka mu Mirimu gy’Ekibiina, baawo mu nkuŋŋaana z’abo abandyagadde obuweereza obwo ezibaawo ku nkuŋŋaana ennene ez’ennaku ebbiri oba essatu.
Kituufu, si bonna nti bayinza okuba n’ebisaanyizo oba okusobola okuweereza ekiseera kyonna. Oluusi obulwadde, embeera y’eby’enfuna, oba obuvunaanyizibwa bw’amaka biremesa omuntu okukola ekyo kye yandyagadde okukola. Wadde kiri kityo, buli Mukristaayo eyeewaayo ateekwa okugondera ekiragiro kino ekya Baibuli: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” (Matayo 22:37) Yakuwa akwetaagisa okole ng’embeera zo bwe ziba zikusobozesezza. N’olwekyo, k’obeere mu mbeera ki, fuula okuweereza Yakuwa ekiruubirirwa kyo mu bulamu. Teekawo ebiruubirirwa eby’okuweereza Katonda ebisobola okutuukibwako. Yee, ‘jjukiranga Omutonzi wo mu biro eby’obuvubuka bwo,’ era ojja kuweebwa emikisa emirembe gyonna olw’okukola ekyo!
Okuggyako nga kiragiddwa obulala, Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu katabo kano bivudde mu Baibuli ey’Oluganda eya 1968.