Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

OMUKAZI omu eyafuna ebizibu eby’amaanyi mu buto yasobola atya okufuna essanyu mu bulamu? Kiki ekyaviirako omusajja omu eyeenyigira mu bikolwa eby’obukambwe olw’okuwakanya gavumenti, okufuuka omubuulizi w’amawulire amalungi? Okusobola okufuna eky’okuddamu, soma ebikwata ku bantu abo.

“Nnali njagala nnyo okwagalibwa n’okufiibwako.”​—INNA LEZHNINA

NNAZAALIBWA: 1981

ENSI: RUSSIA

EBYAFAAYO: NNAFUNA EBIZIBU EBY’AMAANYI MU BUTO

OBULAMU BWANGE BWE BWALI: Nnazaalibwa ndi kiggala, era ne bazadde bange bombi baali bakiggala. Mu kusooka obulamu bwali bulungi, naye bwe nnaweza emyaka mukaaga, bazadde bange baagattululwa. Wadde nga nnali nkyali muto, nnakitegeera nti bazadde bange baali tebagenda kuddamu kubeera wamu. Ekyo kyannuma nnyo. Oluvannyuma lw’okugattululwa, taata wange ne mwannyinaze omukulu baasigala mu Troitsk, ate nze ne maama wange ne tugenda e Chelya­binsk. Oluvannyuma, maama wange yaddamu n’afumbirwa. Omusajja gwe yafumbirwa yali munywi lujuuju, era emirundi mingi yakubanga maama era nange yankubanga.

Mu 1993, mwannyinaze omukulu yagwa mu mazzi n’afa. Ekyo kyatukuba wala nnyo. Okusobola okugumira embeera eyo, maama wange yatandika okunywa omwenge. Era okufaananako omusajja gwe yali yafumbirwa, naye yatandika okumpisa obubi. Nnatandika okunoonya engeri gye nnali nnyinza okufuna essanyu mu bulamu. Nnali njagala okulagibwa okwagala n’okufiibwako. Nnatandika okugenda mu makanisa ag’enjawulo nga nnoonya okubudaabudibwa, naye saabudaabudibwa.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Bwe nnali wa myaka 13, omwana omu gwe nnali nsoma naye eyali Omujulirwa wa Yakuwa, yambuuliranga ebimu ku bintu ebiri mu Bayibuli. Nnanyumirwa nnyo ebyo bye nnayiga ku bantu abamu aboogerwako mu Bayibuli gamba nga Nuuwa ne Yobu, abaaweereza Katonda wadde nga baayolekagana n’embeera enzibu ennyo. Nnatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa n’okugendanga mu nkuŋŋaana zaabwe.

Okuyiga Bayibuli kyansobozesa okumanya ebintu bingi. Nnakwatibwako nnyo bwe nnakitegeera nti Katonda alina erinnya. (Zabbuli 83:18) Nneewuunya nnyo bwe nnakitegeera nti Bayibuli yali yayogera dda ku ngeri abantu gye bandibadde beeyisaamu mu “nnaku ez’enkomerero” era nga ddala obunnabbi obwo butuukiridde. (2 Timoseewo 3:1-5) Nnasanyuka nnyo bwe nnakitegeera nti eriyo okuzuukira. Nnakitegeera nti nja kuddamu ndabe mwannyinaze eyafa.​—Yokaana 5:28, 29.

Kyokka, abamu tekyabasanyusa kuba nti nnali njiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Maama wange n’omwami we baali tebaagalira ddala Bajulirwa ba Yakuwa, era baagezaako okunnemesa okuyiga Bayibuli. Kyokka nze nnali njagala nnyo bye nnali njiga era nnali sisobola okulekera awo kuyiga.

Tekyambeerera kyangu kugumira kuyigganyizibwa maama wange n’omwami we. Twafuna ekikangabwa ekirala, mwannyinaze omuto eyamperekerangako mu nkuŋŋaana naye bwe yagwa mu mazzi n’afa. Naye Abajulirwa ba Yakuwa bambudaabudanga. Bandaga okwagala n’omukwano bye nnali nnoonya. Nnakiraba nti eno ye ddiini ey’amazima. Era mu 1996, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Kati wayise emyaka mukaaga bukya nfumbirwa omwami wange omulungi ennyo ayitibwa Dmitry. Ffembi tuweerereza ku ofiisi y’Abajulirwa ba Yakuwa ey’omu St. Petersburg. Oluvannyuma lw’ekiseera, endowooza bazadde bange gye baalina ku Bajulirwa ba Yakuwa yakyuka.

Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okunsobozesa okumumanya. Kati nnina essanyu mu bulamu olw’okuba mmuweereza.

“Nnalina ebibuuzo bingi ebyali bimbobbya omutwe.”​—RAUDEL RODRÍGUEZ RODRÍGUEZ

NNAZAALIBWA: 1959

ENSI: CUBA

EBYAFAAYO: NNALI NGEZAAKO OKUKYUSA GAVUMENTI

OBULAMU BWANGE BWE BWALI: Nnazaalibwa mu Havana, ekibuga ekikulu ekya Cuba. Ekitundu mwe nnakulira kyali kya bantu baavu era abantu baateranga okulwanira ku nguudo. Nnatandika okwagala ennyo emizannyo egy’okulwana.

Olw’okuba nnali nkola bulungi ku ssomero, bazadde bange bankubiriza okugenda ku yunivasite. Bwe nnali eyo ku yunivasite, endowooza gye nnalina ku by’obufuzi mu nsi yange yakyuka, ne ntandika okukiraba nti gavumenti yali yeetaaga okukyuka. Nnasalawo okujeemera gavumenti. Lumu, nze ne muyizi munnange omu twalumba omusirikale wa poliisi nga twagala okumuggyako emmundu ye. Mu kanyoolagano akaaliwo, omusirikale wa poliisi yafuna ebiwundu eby’amaanyi ku mutwe. Nze ne muyizi munnange twasibibwa mu kkomera era baatusalira ekibonerezo kya kukubibwa masasi. Nnalina emyaka 20 gyokka, kyokka nnali nnaatera okufa!

Bwe nnali nzekka mu kaduukulu, nneegezangamu engeri gye nnandibadde nneeyisaamu nga bankuba amasasi. Nnali saagala kukiraga nti nnali ntidde, kyokka mu kiseera kye kimu waliwo ebibuuzo bingi ebyali bimbobbya omutwe. Nneebuuzanga nti: ‘Lwaki ensi erimu obutali bwenkanya bungi? Kisoboka okuba n’obulamu obw’amakulu?’

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAU OBULAMU BWANGE: Ekibonerezo kye baali batuwadde eky’okuttibwa kyakyusibwa ne batuwa kya kusibibwa mu kkomera emyaka 30. Mu kkomero eyo nnasisinkanayo Abajulirwa ba Yakuwa abaali basibiddwa olw’ebyo bye bakkiririzaamu. Nnakwatibwako nnyo olw’obuvumu Abajulirwa ba Yakuwa bwe baayoleka, n’olw’okuba nti bantu ba mirembe. Wadde nga baali babasibidde bwereere, ekyo tekyabanyiiza.

Abajulirwa ba Yakuwa banjigiriza nti Katonda alina ebintu ebirungi by’ateekeddeteekedde abantu. Bandaga mu Bayibuli nti ajja kufuula ensi ekifo ekirabika obulungi era nti teribaamu bumenyi bw’amateeka na butali bwenkanya. Banjigiriza nti ensi ejja kubaamu bantu balungi bokka era nti bajja kubaawo emirembe gyonna nga bali mu bulamu obulungi.​—Zabbuli 37:29.

Nnayagala nnyo ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye banjigiriza, naye nnali sisuubira nti nsobola okubeera nga bo. Nnali ndowooza nti sisobola butabaako ludda lwe mpagira mu by’obufuzi era nti sisobola kuba muntu wa mirembe. Bwe kityo nnasalawo okusoma Bayibuli ku lwange. Bwe nnasoma Bayibuli, nnakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abeeyisa ng’Abakristaayo abaasooka.

Bwe nnali njiga Bayibuli, nnakiraba nti nnali nneetaaga okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwange. Ng’ekyokulabirako, nnalina okukyusa enjogera yange, kubanga nnalina omuze ogw’okumala gakubawo ebigambo. Era nnalina n’okulekera awo okunywa sigala. Ate era nnalina okulekera awo okubaako oludda lwe mpagira mu by’obufuzi. Tekyambeerera kyangu kukola nkyukakyuka ezo, naye mpolampola Yakuwa yannyamba ne nzikola.

Enkyukakyuka eyanzibuwalira ennyo okukola, kwe kufuga obusungu. Na kati nkyasaba Yakuwa annyambe okwefuga. Ebigambo ebiri mu Engero 16:32 binnyambye nnyo. Wagamba nti: “Omuntu alwawo okusunguwala asinga omusajja ow’amaanyi, n’oyo afuga obusungu bwe asinga awamba ekibuga.”

Mu 1991, nnabatizibwa ne nfuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Bambatiriza mu ppipa mu kkomera. Omwaka ogwaddako, abamu ku ffe twateebwa era ne tusindikibwa mu Sipeyini olw’okuba twalinayo ab’eŋŋanda zaffe. Bwe nnatuuka mu Sipeyini, nnatandikirawo okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa. Abajulirwa ba Yakuwa be nnasangayo bandaga okwagala kungi, nga nninga eyali amaze nabo emyaka mingi. Bannyamba okumanyiira obulamu mu Sipeyini.

ENGERI GYE ŊŊANYUDWAMU: Kati ndi musanyufu nnyo, era nze ne mukyala wange awamu ne bawala baffe ababiri, tuweerereza wamu Yakuwa. Kati ebiseera byange ebisinga obungi mbimala nnyamba abantu abalala okuyiga Bayibuli. Oluusi mbeera awo ne ndowooza ku kiseera lwe nnali nkyali omuvubuka era nga ŋŋenda kuttibwa. Ndi musanyufu nnyo olw’ekyo kye ndi leero. Ng’oggyeeko okuba nti nkyali mulamu, nnina n’essuubi. Nneesunga nnyo ekiseera ensi lw’elifuuka olusuku lwa Katonda, omutaliba butali bwenkanya ‘wadde okufa.’​—Okubikkulirwa 21:3, 4.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu]

“Nnakwatibwako nnyo bwe nnakimanya nti Katonda alina erinnya”

[Ekifaananyi]

Nze n’omwami wange tunyumirwa nnyo okuyigiriza bakiggala nga tukozesa vidiyo eziri mu lulimi lwa bakiggala