Nyumirwa Obulamu Bw’amaka
Nyumirwa Obulamu Bw’amaka
Omanyiiyo amaka agali obumu era nga masanyufu ng’ago agali ku kapapula kano? Amaka buli wantu gagenda gaabuluzibwamu. Okugattululwa, okubulwa emirimu, ebizibu ebijjira omuzadde ali obwannamunigina, okulemesebwa—bino byonna byongera ku kizibu. Kakensa mu by’obulamu bw’amaka yakuba ekiwoobe n’agamba nti: “Kati, ebyogerwa ku kuzikirira kw’amaka bimanyiddwa buli muntu.”
Lwaki amaka goolekanye n’ebizibu eby’amaanyi ng’ebyo? Tuyinza tutya okunyumirwa obulamu bw’amaka?
Engeri Amaka Gye Gaatandikamu
Okuddamu ebibuuzo bino, twetaaga okumanya entandikwa y’obufumbo n’amaka. Kubanga singa bino byalina Eyabitandikawo—Omutonzi—ab’omu maka gwe bandibadde batunuulira okufuna obulagirizi, okuva bw’ali nti yandibadde amanyi engeri esingira ddala obulungi gye tuyinza okunyumirwamu obulamu bw’amaka mu bujjuvu.
Ekyewuunyisa, bangi bakkiriza nti enteekateeka y’amaka teyalina Yagitandikawo. Ekitabo Encylopedia Americana kigamba nti: “Abayivu abamu balina endowooza ey’okugezaako okulondoola entandikwa y’obufumbo nga bagikwataganya n’okuba nti ebisolo ebya wansi ku muntu bibeera ne binneewaabyo.” Songa, Yesu Kristo yayogera ku kutondebwa kw’omusajja n’omukazi. Nga eky’okwesigamako yajuliza ekyawandiikibwa edda mu Baibuli n’agamba nti: “Katonda kye yagatta awamu omuntu takyawulangamu.”—Matayo 19:4-6.
Olubereberye 2:22-24, New World Translation) Olwo, kyandiba nti ebizibu by’omu maka ag’ennaku zino bivudde mu kugoberera engeri z’obulamu ezikontana n’emitindo egyateekebwawo Omutonzi mu Kigambo kye, Baibuli?
Bwe kityo Yesu Kristo mutuufu. Katonda ow’amagezi yatonda abantu abaasooka n’abategekera okuba n’obulamu bw’amaka obw’essanyu. Katonda yagatta abantu ababiri abaasooka mu bufumbo era n’agamba nti omusajja “anaanywereranga ku mukazi we era banaabanga omubiri gumu.” (Kkubo ki Erituusa ku Buwanguzi?
Nga bw’okimanyi obulungi ddala, ensi ya leero ekubiriza
muntu kwesanyusa na kwekkusa. “Omulugube mulungi,” omukugu mu by’enfuna bw’atyo bwe yagamba abayizi abaali bamalirizza emisomo gyabwe mu ttendekero ery’omu United States. “Osobola okuba ow’omululu era n’osigala nga weewulira bulungi.” Naye okuluubirira eby’okufuna tekutuusa ku buwanguzi. Mu butuufu, okululunkanira ebintu kye kimu ku ebyo ebisingira ddala okusekeeterera obulamu bw’amaka kubanga kwekiika mu nkolagana z’abantu era ne kitwala ebiseera byabwe n’ensimbi. Obutafaanana ku ekyo, lowooza ku ngero bbiri zokka ez’omu Baibuli engeri gye zituyambamu okulaba ekyetaagisa okuba abasanyufu.“Amaluma awali okwagalana gasinga ente eya ssava awali okukyawagana.”
“Akamere akaluma awamu n’obutereevu kakira ennyumba ejjudde embaga omuli okuyomba.” Engero 15:17; 17:1.
Engero ezo si za maanyi? Lowooza ku nsi bwe yandibadde ey’enjawulo ennyo singa buli maka gaali gakulembeza ebyo? Baibuli era ewa obulagirizi obw’omuwendo ku ngeri ab’omu maka gye basaanidde okuyisiŋŋanyamu. Lowooza ku bimu ku biragiro by’ewa.
Abaami: ‘Yagalanga mukazi wo ng’omubiri gwo gwennyini.’—Abaefeso 5:28-30.
Kyangu, ate nga kiteekeka mu nkola! Baibuli era eragira omusajja ‘okussaamu mukazi we ekitiibwa.’ (1 Peetero 3:7) Kino akikola ng’amulowoozaako mu ngeri ey’enjawulo, nga mw’otwalidde n’okumukwata n’obwegendereza, okumutegeera n’okumugumya. Era ebirowoozo by’omukyala abitwala nga bya muwendo era n’amuwuliriza. (Geraageranya Olubereberye 21:12.) Tokkiriza nti amaka gonna gandiganyuddwa singa omwami ayisa mukazi we, nga naye bwe yandyagadde okuyisibwa?—Matayo 7:12.
Abakyala: ‘Ssaamu Balo Ekitiibwa.’—Abaefeso 5:33, NW.
Omukyala awagira essanyu ery’omu maka ng’ayamba bba okutuukiriza obuvunaanyizibwa Olubereberye 2:18, NW) Oyinza okulaba essanyu eriba mu maka ng’omukyala awa bba ekitiibwa ng’awagira okusalawo kwe era ng’akolera wamu naye mu kutuukiriza ebiruubirirwa by’amaka?
bwe obunene. Kino kye kyagendererwa, okuva Katonda bwe yamussaawo nga ‘omubeezi eri omusajja, era omujjuuliriza gy’ali.’ (Abafumbo: “Abaami n’abakyala bateekwa okuba abeesigwa buli omu erni munne.”—Abaebbulaniya 13:4, “Today’s English Version.”
Bwe baba bwe batyo, obulamu bw’amaka ddala bujja kuganyulwa. Obwenzi emirundi mingi bwonoona amaka. (Engero 6:27-29, 32) N’olwekyo, mu magezi Baibuli ekubiriza nti: “Sanyuka ne mukazi wo era ofune essanyu n’omuwala gwe wawasa . . . Lwaki wandiwadde okwagala kwo eri omukazi omulala?”—Engero 5:18-20, TEV.
Abazadde: “Manyiiza [abaana bo] mu kkubo eri[ba]gwanira okutambuliramu.”—Engero 22:6.
Abazadde bwe bawaayo ebiseera era n’okufaayo ku baana baabwe, obulamu bw’amaka ddala bujja kulongooka. Bwe kityo, Baibuli ekubiriza abazadde okuyigiriza abaana baabwe emisingi emituufu ‘bwe baba batudde mu nnyumba yaabwe, bwe baba batambula mu kkubo, bwe baba bagalamidde, era bwe baba bagolokose.’ (Ekyamateeka 11:19) Era Baibuli egamba nti abazadde basaanidde okulaga nga baagala abaana baabwe nga babakangavvula.—Abaefeso 6:4.
Abaana: “Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe.”—Abaefeso 6:1.
Kya mazima, mu nsi eno enjeemu, si kyangu bulijjo okugondera abazadde bo. Naye era, ggwe tokikkiriza nti kye kya magezi okukola Oyo Eyatandikawo amaka ky’atugamba? Amanyi ekisinga obulungi okufuula obulamu bw’amaka gaffe obusanyufu okusingawo. Kale fuba nnyo okugondera abazadde bo. Ba mumalirivu okwewala ebikemo ebingi okukola ekibi eby’ensi eno.—Engero 1:10-19.
Gye kikoma okuba nti buli ow’omu maka akozesa okubuulirira 2 Peetero 3:13; Okubikkulirwa 21:3, 4) Kale mukifuule mpisa ya maka gammwe okuyigira awamu Baibuli! Amaka bukadde na bukadde okwetooloola ensi bazudde ng’obulagirizi obuweebwa mu kitabo Osobola Okuba Omulamu Emirembe Gyonna mu Lusuku lwa Katonda ku Nsi ekirimu ebifaananyi ebirungi ebiyigiriza bwa mugaso nnyo.
kwa Baibuli, obulamu bw’amaka gye bujja okweyongera okuganyulwa. Ab’omu maka tebajja kukoma ku kunyumirwa bulamu obusingako obulungi kati naye era bajja kuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso eby’ekitalo mu nsi empya eyasuubizibwa Katonda. (Okuggyako nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli y’Oluganda eya United Bible Societies eya 1968.
[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Ebifaananyi: Obusolo obuto: Hartebeespoortdam Snake and Animal Park.