Enkomerero Y’eddiini Ez’obulimba Eri Kumpi!
Amawulire g’Obwakabaka Na. 37
Obubaka eri Ensi Yonna
Enkomerero Y’eddiini Ez’obulimba Eri Kumpi!
▪ Eddiini ez’obulimba ze ziruwa?
▪ Enkomerero yaazo eneebaawo etya?
▪ Ggwe kino kinaakukwatako kitya?
Eddiini ez’obulimba ze ziruwa?
Onyolwa olw’ebikolobero ebikolebwa mu linnya ly’eddiini? Olaba nga kituufu abo abeeyita abaweereza Katonda okwenyigira mu ntalo, ebikolwa eby’obutujju, oba obulyi bw’enguzi? Lwaki ebizibu bingi birabika nga bisibuka ku ddiini?
Eddiini zonna tezeenyigira mu bikolwa ebibi ng’ebyo, wabula ezo ez’obulimba. Yesu Kristo, abangi gwe bassaamu ekitiibwa, yakiraga nti eddiini ez’obulimba zandibaddemu ebikolwa ebibi mu ngeri y’emu ‘ng’omuti omubi bwe gubala ebibala ebibi.’ (Matayo 7:15-17) Bibala bya ngeri ki ebivudde mu ddiini ez’obulimba?
Eddiini ez’Obulimba . . .
▪ ZEENYIGIRA MU NTALO NE MU BY’OBUFUZI: Akatabo akayitibwa Asiaweek kagamba nti: “Mu Asiya ne mu bitundu ebirala, abakulembeze abaagala ennyo obuyinza beeyambisa eddiini okusobola okutuuka ku bigendererwa byabwe.” Akatabo kano era kaalabula nti: “Ensi eyolekedde akatyabaga.” Munnaddiini omu omukuukuutivu mu Amerika yagamba nti: “Bonna abeenyigira mu bikolwa eby’obutujju baba balina okuttibwa okusobola okumalawo ettemu.” Awa amagezi ng’agamba nti: “Bonna basaanyizibwewo mu linnya Katonda.” Okwawukana ku ekyo, yo Baibuli egamba nti: “Omuntu bw’ayogera nti Njagala Katonda, n’akyawa muganda we, mulimba.” (1 Yokaana 4:20) Yesu naye yagamba nti: ‘Mwagalenga abalabe bammwe.’ (Matayo 5:44) Eddiini mmeka z’omanyi ng’abazirimu beenyigira mu ntalo?
▪ ZIYIGIRIZA EBIKYAMU: Eddiini ezisinga obungi ziyigiriza nti omuntu bw’afa waliwo ekintu ekitafa ekimuvaamu. Nga zikozesa enjigiriza eno, eddiini nnyingi zisaba abagoberezi baazo ssente okusobola okusabira emyoyo gy’abo ababa baafa. Kyokka yo Baibuli eyigiriza nti: “Abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi, so nga tebakyalina mpeera; kubanga ekijjukizo kyabwe kyerabirwa.” (Omubuulizi 9:5) Yesu yayigiriza nti abafu bajja kuzuukira. Okuzuukira kwandibadde tekwetaagisa singa omuntu yalina omwoyo ogutafa. (Yokaana 11:11-25) Eddiini yo eyigiriza nti omwoyo tegufa?
▪ ZITTIRA KU LIISO EBIKOLWA EBY’OBUGWENYUFU: Mu mawanga mangi, eddiini nnyingi zikkiriza abalyi b’ebisiyaga okuweereza mu bifo eby’obuvunaanyizibwa era zipikiriza gavumenti okutongoza obufumbo wakati w’abantu abafaanaganya obutonde. N’amakanisa agavumirira ebikolwa eby’obugwenyufu gazibira abakulembeze baago abasobya ku baana. Naye Baibuli eyigiriza ki ku nsonga eno? Egamba nti: “Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga . . . tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” (1 Abakkolinso 6:9, 10) Olinayo eddiini z’omanyi ezittira ku liiso abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu?
Matayo 7:19) Yee, eddiini ez’obulimba zijja kutemebwa ng’omuti zizikirizibwe! Naye kino kinaabaawo kitya, era ddi? Okwolesebwa okuli mu kitabo ky’Okubikkulirwa essuula 17 ne 18, kutuwa eky’okuddamu.
Kiki ekinaatuuka ku ddiini ezibala ebibala ebibi? Yesu yalabula nti: “Buli muti ogutabala kibala kirungi bagutema bagusuula mu muliro.” (Eddiini ez’obulimba zinaazikirizibwa zitya?
Kuba akafaananyi ng’omukazi omwenzi atudde ku nsolo enkambwe era ng’ensolo eyo erina emitwe musanvu n’amayembe kkumi. (Okubikkulirwa 17:1-4) Omukazi ono omwenzi y’ani? Alina obuyinza “ku bakabaka b’ensi.” Ayambadde olugoye olw’effulungu, anyookeza obubaane, era mugagga nnyo. Okugatta ku ekyo, akozesa eby’obulogo, ‘okulimba amawanga gonna.’ (Okubikkulirwa 17:18; 18:12, 13, 23) Baibuli etuyamba okutegeera nti omwenzi ono nteekateeka ya bya ddiini eriwo mu nsi yonna. Tekitegeeza ddiini emu yokka, wabula eddiini zonna ezibala ebibala ebibi.
Ensolo omukazi omwenzi gye yeebagadde ye nteekateeka y’eby’obufuzi eriwo mu nsi yonna. * (Okubikkulirwa 17:10-13) N’olwekyo, eddiini ez’obulimba okwebagala ensolo kitegeeza nti zigezaako okuwaliriza ab’eby’obufuzi bakole bye zaagala.
Kyokka, mangu ddala wajja kubaawo ekintu ekyewuunyisa. “Amayembe ekkumi ge walabye, n’ensolo, bano balikyawa omwenzi, balimulekesaawo, balimufuula omwereere, balirya ennyama ye, era balimwokera ddala omuliro.” (Okubikkulirwa 17:16) Nga tekisuubirwa, ab’eby’obufuzi bajja kwefuulira eddiini ez’obulimba bazizikirize. Kiki ekinaabaleetera okukola kino? Ekitabo ky’Okubikkulirwa kigamba nti: ‘Katonda yassa mu mitima gyabwe okukola kye yateesa.’ (Okubikkulirwa 17:17) Yee, Katonda ajja kuzikiriza eddiini ez’obulimba olw’ebikolwa ebibi bye zikoze mu linnya lye. Ng’ayoleka obwenkanya obutuukiridde, ajja kukozesa ab’eby’obufuzi ababadde mikwano gyazo okuzizikiriza.
Oteekwa kukola ki singa oba toyagala kuzikirizibwa wamu n’eddiini ez’obulimba? Katonda akubiriza nti: “Mukifulumemu, abantu bange.” (Okubikkulirwa 18:4) Ddala kino kye kiseera okuva mu ddiini ez’obulimba! Naye bw’ovaayo ogenda wa? Tekitegeeza kusigalirawo nga tokkiririza mu Katonda, kubanga abalinga abo nabo ba kuzikirizibwa. (2 Abasessaloniika 1:6-9) Mu ddiini ey’amazima mwe mwokka mwe tusobola okufunira obukuumi. Osobola otya okumanya eddiini ey’amazima?
Okwawulawo eddiini ey’amazima
Bibala ki ebirungi eddiini ey’amazima by’esaanidde okwoleka?—Matayo 7:17.
Eddiini ey’Amazima . . .
▪ OGIRABIRA KU BIKOLWA EBY’OKWAGALA: Abasinza ab’amazima “si ba nsi.” Tebalina njawukana olwa langi oba amawanga, era ‘baagalana.’ (Yokaana 13:35; 17:16; Ebikolwa 10:34, 35) Mu kifo ky’okuttiŋŋana, beetegefu buli omu okufiirira munne.—1 Yokaana 3:16.
▪ YEESIGA EKIGAMBO KYA KATONDA: Mu kifo ky’okuyigiriza ‘obulombolombo n’amateeka g’abantu,’ eddiini ey’amazima yeesigamya enjigiriza zaayo ku Kigambo kya Katonda, Baibuli. (Matayo 15:6-9) Lwaki? Kubanga “buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda, era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okunenyanga, olw’okutereezanga.”—2 Timoseewo 3:16.
■ ENYWEZA AMAKA ERA EKUUMA OMUTINDO GW’EMPISA OGWA WAGGULU:
Eddiini ey’amazima eyigiriza abasajja ‘okwagalanga bakazi baabwe ng’emibiri gyabwe gyennyini.’ Eyigiriza nti abakazi basaanidde ‘okuwa babbaabwe ekitiibwa.’ Era eyigiriza abaana ‘okuwuliranga bazadde baabwe.’ (Abaefeso 5:28, 33; 6:1) Ate era abo abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa balina okuba ab’empisa ennungi.—1 Timoseewo 3:1-10.
Waliwo eddiini yonna etuukiriza ebintu bino byonna? Ekitabo ekiyitibwa Holocaust Politics, ekyakubibwa mu 2001, kigamba nti: “Singa abantu abasinga obungi baali bagoberera ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza era ne bakoppa n’engeri gye beeyisaamu, okutta Abayudaaya okw’ekikungo okwaliwo mu Ssematalo ow’Okubiri kwandyewaliddwa era ebikolwa nga bino tebyandizzeemu kubaawo.”
Mu butuufu, mu nsi 235, Abajulirwa ba Yakuwa tebakoma ku kuyigiriza buyigiriza bantu mitindo gya Baibuli egy’empisa, naye bo bennyini bagigoberera. Tukukubiriza osabe Abajulirwa ba Yakuwa okukuyamba okuyiga ebyo Katonda by’akwetaagisa osobole okumusinza nga bw’ayagala. Baako ky’okolawo kati awatali kulwa. Enkomerero y’eddiini ez’obulimba eri kumpi!—Zeffaniya 2:2, 3.
Okusobola okumanya ebisingawo ku bubaka bwa Baibuli Abajulirwa ba Yakuwa bwe babuulira, bawandiikire ng’okozesa emu ku ndagiriro zino wammanga.
□ Nsaba okumpeereza akatabo, Beera Bulindaala!
Laga olulimi lw’oyagala.
□ Mbasaba muntegeeze ebikwata ku kuyigirizibwa Baibuli ku bwereere.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 17 Okusobola okunnyonnyoka ensonga eno obulungi, laba akatabo Beera Bulindaala! olupapula 12 ne 13 akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 3]
Eddiini ez’obulimba zirina obuyinza “ku bakabaka b’ensi”
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 3]
“Mukifulumemu, abantu bange”