Obulamu mu Nsi Empya Ey’Emirembe
Obulamu mu Nsi Empya Ey’Emirembe
Bw’otunuulira ekifaananyi ekiri ku kapapula kano, muli owulira otya? Omutima gwo tegwegomba emirembe, essanyu n’embeera ennungi by’olaba awo? Ddala bwe kityo bwe kiri. Naye kirooto bulooto oba kuteebereza, okukkiriza nti embeera zino zigenda kubeerawo ku nsi?
Oboolyawo abantu abasinga obungi balowooza batyo. Ebintu ebiriwo leero ze ntalo, obumenyi bw’amateeka, enjala, endwadde, okukaddiwa—kumala gamenyako bitono. Wadde kiri kityo waliwo ensonga okuba n’essuubi. Mu kutunuulira eby’omu maaso, Baibuli eyogera ku “eggulu eriggya n’ensi empya bye tusuubira nga [Katonda] bwe yasuubiza, era mu bino obutuukirivu mwe bunaatuula.”—2 Peetero 3:13, NW; Isaaya 65:17.
Bino “eggulu eriggya” ne “ensi empya,” okusinziira ku Baibuli, tebitegeeza kitonde kiggya eky’eggulu lyennyini erirabika oba eky’ensi yennyini etuulibwamu. Ensi etuulibwamu era n’eggulu ery’omu bbanga byakolebwa nga bituukiridde, era Baibuli eraga nga bya kubeerawo emirembe gyonna. (Zabbuli 89:36, 37; 104:5) “Ensi empya” kijja okuba ekibiina eky’abantu abatuukirivu abanaabeera ku nsi, ate “eggulu eriggya” lijja okuba obwakabaka obw’omu ggulu obutuukiridde, oba gavumenti, ejja okufuga ekibiina ky’abantu kino eky’oku nsi. Naye kituufu okukkiriza nti kisoboka “ensi empya” oba ensi empya ey’ekitiibwa, okubaawo?
Kale, fumiitiriza kino nti embeera ennungi ezo zaali mu kigendererwa kya Katonda eky’olubereberye eri ensi eno. Yateeka abantu ababiri abaasooka mu Lusuku olw’oku nsi olwa Adeni era n’abawa obuvunaanyizibwa obw’ekitalo: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye.” (Olubereberye 1:28) Yee, ekigendererwa kya Katonda kyali bo okuzaala abaana n’oluvannyuma okugaziya Olusuku lwa Katonda okubuna ensi yonna. Newakubadde ng’oluvannyuma baalondawo okujeemera Katonda, bwe batyo ne beeraga okuba abatasaanira kuba balamu emirembe gyonna, ekigendererwa kya Katonda eky’olubereberye tekyakyuka. Era kiteekwa okutuukirizibwa mu nsi empya!—Isaaya 55:11.
Mu butuufu, bw’osaba Essaala ya Mukama waffe, oba Eya Kitaffe, ng’osaba obwakabaka bwa Katonda bujje, oba osaba gavumenti ye ey’omu ggulu eggyewo obubi ku nsi era efuge ensi empya eno. (Matayo 6:9) Era tuyinza okuba abakakafu nti Katonda ajja kuddamu okusaba okwo, olw’okuba Ekigambo kye kisuubiza nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29.
Obulamu mu Nsi Empya eya Katonda
Obwakabaka bwa Katonda bujja kuleetawo emikisa ku nsi egitayinza kugeraageranyizibwa, nga butuukiriza buli kintu ekirungi Katonda kye yagenderera olubereberye abantu be banyumirwe ku nsi. Obukyayi n’okwekubiira bijja kuggwaawo, olwo nno buli muntu ku nsi ajja kuba wa mukwano ddala eri buli muntu omulala. Mu Baibuli, Katonda asuubiza nti ‘ajja kuggyawo entalo okutuusa ku nkomerero y’ensi.’ “Eggwanga teririyimusa kitala eri eggwanga linaalyo; so tebaliyiga kulwana nate.”—Zabbuli 46:9; Isaaya 2:4.
Ensi yonna olwo ejja kufuulibwa ebe mu ngeri y’olusuku lwa Katonda. Baibuli egamba nti: “Olukoola n’amatongo birijaguza: n’eddungu lirisanyuka, lirisansula ng’ekiyirikiti . . . kubanga amazzi galitiiriikira mu lukoola, n’emigga mu ddungu. N’omusenyu ogumasamasa gulifuuka ekidiba, n’ettaka ekkalangufu nzizi za mazzi.”—Isaaya 35:1, 6, 7.
Wajja kubeerawo ensonga nnyingi okuba abasanyufu mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. Abantu tebaliddayo kulumwa njala olw’ebbula ly’emmere. “Ensi ereese ekyengera kyayo,” Baibuli bw’egamba. (Zabbuli 67:6; 72:16) Bonna balisanyukira ebibala by’amaanyi gaabwe, ng’Omutonzi waffe bw’asuubiza nti: “Balisimba ensuku z’emizabbibu ne balya ebibala byamu. . . . tebalisimba omulala n’alya.”—Isaaya 65:21, 22.
Mu nsi empya eya Katonda, abantu baliba tebakyabeera mu nzigotta mu bizimbe ebinene ebisuulwamu oba okuba mu buyuyuyu obucaafu, kubanga Katonda asazeewo nti: “Balizimba ennyumba ne basulamu . . . tebalizimba omulala n’asulamu.” Baibuli era esuubiza nti: “Tebalikolera bwereere mirimu.” (Isaaya 65:21-23) Bwe kityo abantu baliba n’emirimu egivaamu ebirungi era egimatiza. Obulamu tebulikooya.
Mu kiseera ekyo, Obwakabaka bwa Katonda bulizzaawo enkolagana ey’emirembe eyaliwo mu lusuku Adeni wakati w’ensolo era ne wakati w’ensolo n’abantu. Baibuli egamba nti: “Omusege gunaasulanga wamu n’omwana gw’endiga, n’engo eneegalamiranga wamu n’omwana gw’embuzi; n’ennyana n’omwana gw’empologoma n’ekya ssava wamu; n’omwana omuto alizikantiriza.”—Isaaya 11:6-9; Koseya 2:18.
Kirowoozeko, mu Lusuku lwa Katonda ku nsi endwadde zonna n’obukyamu bwonna obw’oku mubiri nabyo bijja kuwonyezebwa! Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti: “N’oyo atuulamu talyogera nti Ndi mulwadde.” (Isaaya 33:24) “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:4.
Engeri gye Kiyinzikamu gy’Oli
Mu mazima omutima gwo gubuguumiridde olw’ebisuubizo bya Katonda ebikwata ku bulamu obw’omu nsi ye Zabbuli 145:16; Mikka 4:4.
empya ey’obutuukirivu. Era wadde abamu bayinza okulowooza nti emikisa egyo giyitiridde obulungi okusobola okuba egy’amazima, ssi gye giyitiridde obulungi okuba nti tegisobola kuva mu mukono gw’Omutonzi waffe omwagazi.—Mu butuufu, waliwo ebisaanyizo ebirina okutuukirizibwa bwe tuba ab’okuba abalamu emirembe gyonna mu Lusuku lwa Katonda olulibeera ku nsi. Yesu yalaga ekisaanyizo ekimu ekikulu, ng’ayogera mu kusaba eri Katonda: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.”—Yokaana 17:3.
Bwe kityo mu mazima bwe tuba twagala okubeera mu nsi empya eya Katonda, tuteekwa okusooka okuyiga Katonda by’ayagala ate tubikole. Kubanga kyo kya mazima nti: “Ensi [eno] eggwaawo n’okwegomba kwayo, naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo,” okunyumirwa emirembe gyonna emikisa egy’okuleetebwa Omutonzi waffe omwagazi.—1 Yokaana 2:17.
Wabula nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli ey’Oluganda eya 1968.