Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
KIKI ekyayamba omusajja eyali omukubi wa zzaala era kkondo, okukyusa obulamu bwe? Soma olabe ky’agamba.
“Nnali njagala nnyo empaka z’okuvuga embalaasi.”—RICHARD STEWART
NNAZAALIBWA: 1965
ENSI: JAMAICA
EBYAFAAYO: NNALI MUKUBI WA ZZAALA ERA KKONDO
OBULAMU BWANGE BWE BWALI: Nnakulira mu kitundu ekyalimu abantu abangi era abaavu, mu Kingston, ekibuga ekikulu ekya Jamaica. Mu kitundu ekyo abantu bangi tebaalina mirimu, era kyalimu obumenyi bw’amateeka bungi. Ebibinja by’abamenyi b’amateeka byateekanga abantu ku bunkenke buli kiseera. Nnawuliranga emmundu ezivuga kumpi buli lunaku.
Maama wange yakolanga nnyo okusobola okutulabirira, nze ne bato bange babiri. Yafuba okulaba nti tufuna obuyigirize obulungi. Saayagalanga nnyo kugenda ku ssomero, naye nnali njagala nnyo empaka z’okuvuga embalaasi. Nnayosanga okugenda ku ssomero ne ŋŋenda awaabanga empaka ezo, era nange nnavuganga embalaasi.
Oluvannyuma nnatandika okukuba zzaala. Nneenyigiranga mu bikolwa eby’obugwenyufu, era nnayagala abakazi bangi. Nnanywanga enjaga, era nnabbanga okusobola okufuna ssente ez’okukozesa. Nnalina emmundu nnyingi ze nnakozesanga mu bwa kkondo, naye ekirungi emirundi gyonna gye nnagenda okubba, tewali n’omu gwe nnatta.
Oluvannyuma poliisi yankwata, era ne nsibibwa mu kkomera. Bwe nnateebwa, nnatandikira we nnali nkomye. Mu butuufu, nnafuuka mubi nnyo n’okusinga bwe nnali nga sinnaba kusibibwa. Wadde nga ku maaso nnalabikanga ng’omuntu ataalina mutawaana, nnali mukambwe nnyo era nga nkola kyonna kye njagala. Nnali sifaayo ku muntu yenna.
ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE: Mu kiseera ekyo, Abajulirwa ba Yakuwa baatandika okuyigiriza maama wange Bayibuli. Nnalaba ng’akoze enkyukakyuka ennungi mu bulamu bwe, era nnayagala okumanya ekyali kimuyambye okukola enkyukakyuka ezo. Bwe ntyo nange nnatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa.
Nnakizuula nti enjigiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa za njawulo ku z’amadiini amalala, era nti buli kye bayigiriza bakyesigamya ku Bayibuli. Ate era nnakiraba nti be bokka ababuulira nnyumba ku nnyumba ng’Abakristaayo abaasooka bwe baakolanga. (Matayo 28:19; Ebikolwa 20:20) Bwe nnalaba okwagala okwa nnamaddala Abajulirwa ba Yakuwa kwe balagaŋŋana, nnakakasa nti nnali nzudde eddiini ey’amazima.—Yokaana 13:35.
Bye nnayiga mu Bayibuli byandaga nti nnalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwange. Nnayiga nti Yakuwa Katonda akyayira ddala ebikolwa eby’obugwenyufu, era nti okusobola okumusanyusa nnalina okulekera awo okukola ebintu ebyonoona omubiri gwange. (2 Abakkolinso 7:1; Abebbulaniya 13:4) Nnakwatibwako nnyo bwe nnayiga nti Yakuwa alina enneewulira, era nti engeri gye nneeyisaamu esobola okumuleetera okunakuwala oba okuwulira essanyu. (Engero 27:11) Nnasalawo okulekera awo okunywa enjaga, okweggyako emmundu ze nnalina, era n’okukyusa engeri gye nnali nneeyisaamu. Ezimu ku nkyukakyuka ezanzibuwalira ennyo okukola, kwe kulekera awo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’okukuba zzaala.
Mu kusooka, nnali saagala mikwano gyange bamanye nti Abajulirwa ba Yakuwa baali banjigiriza Bayibuli. Naye bwe nnasoma ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 10:33, endowooza yange yakyuka. Mu lunyiriri olwo Yesu yagamba nti: “Buli anneegaanira mu maaso g’abantu nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.” Ebigambo ebyo byandeetera okubuulira mikwano gyange nti Abajulirwa ba Yakuwa baali banjigiriza Bayibuli. Beewuunya nnyo! Baali tebayinza kukikkiriza nti omuntu nga nze yali ayagala okufuuka Omukristaayo. Naye nnabagamba nti nnali njagala kulekera awo okukola ebintu ebibi bye nnali nkola.
ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU: Maama wange yasanyuka nnyo bwe yalaba nga ntandise okukolera ku ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli. Kati takyeraliikirira nti nnyinza okukola ebintu ebibi. Kati tutera kwogera ku buweereza bwaffe eri Yakuwa, era tweyongedde okuba ab’omukwano. Oluusi bwe ndowooza ku bulamu bwange bwe bwali, nneewuunya nnyo enkyukakyuka Katonda ze yannyamba okukola. Kati sikyegomba kwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’okwagala ennyo ssente nga bwe nnali emabega.
Singa sakkiriza kuyiga Bayibuli, ndowooza leero nnandibadde mufu oba nga ndi mu kkomera. Naye kati nze n’ab’omu maka gange tuli basanyufu. Ndi musanyufu nnyo okuweereza Yakuwa nga ndi wamu ne mukyala wange annyambye ennyo, era ne muwala waffe. Nneebaza nnyo Yakuwa Katonda eyanzikiriza okufuuka omu ku baweereza be. Ate era ndi musanyufu nnyo okuba nti waliwo eyannyamba okuyiga Bayibuli, era kinsanyusa nnyo okuyamba abalala okuyiga ebyo ebiri mu Bayibuli. N’okusingira ddala, nneebaza nnyo Yakuwa Katonda olw’okunnyamba okumanya ebimukwatako n’okunfuula mukwano gwe.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu]
“Nnayiga nti Yakuwa alina enneewulira, era nti engeri gye nneeyisaamu esobola okumuleetera okunakuwala oba okuwulira essanyu”
[Ekifaananyi]
Nga ndi wamu ne mukyala wange ne muwala waffe
[Ekifaananyi]
Nnalaba enkyukakyuka ennungi maama wange ze yakola