Okubonaabona Kuliggwaawo?
Wandizzeemu nti . . .
-
yee?
-
nedda?
-
oboolyawo?
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Katonda . . . alisangula buli zziga mu maaso gaabwe, era tewalibaawo kufa, kubonaabona, kukaaba, wadde obulumi.”—Okubikkulirwa 21:3, 4, Contemporary English Version.
OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO
Oba mukakafu nti Katonda si y’atuleetera ebizibu.—Yakobo 1:13.
Oddamu amanyi okukimanya nti Katonda naye tekimusanyusa okulaba nga tubonaabona.—Zekkaliya 2:8.
Oba n’essuubi nti okubonaabona kwonna kujja kukoma.—Zabbuli 37:9-11.
TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA
Lwa nsonga nga bbiri:
-
Katonda tayagala bantu kubonaabona na kuyisibwa bubi. Lowooza ku ngeri Yakuwa Katonda gye yawuliramu abantu be bwe baayisibwanga obubi. Bayibuli egamba nti yanyolwa nnyo ‘olw’abo abaabakijjanyanga.’—Ekyabalamuzi 2:18, Enkyusa ey’Ensi Empya.
Katonda tayagala abo ababonyaabonya bannaabwe. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti ‘abo abayiwa omusaayi ogutaliiko musango’ ba muzizo gy’ali.—Engero 6:16, 17.
-
Katonda atufaako kinnoomu. “Buli omu amanyi ekimubonyaabonya era n’obulumi bwe.” Kyokka ne Yakuwa abimanyi!—2 Ebyomumirembe 6:29, 30.
Okuyitira mu Bwakabaka bwe, Yakuwa ajja kumalawo okubonaabona. (Matayo 6:9, 10) Ng’ekyo tekinnabaawo, abudaabuda abo abamunoonya.—Ebikolwa 17:27; 2 Abakkolinso 1:3, 4.
KY’OYINZA OKULOWOOZAAKO
Lwaki Katonda akyaleeseewo okubonaabona?
Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu ABARUUMI 5:12 ne 2 PEETERO 3:9.