Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma!
Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma!
Oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako nti, ‘Lwaki waliwo okubonaabona kungi nnyo?’ Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, abantu babonyebonye nnyo olw’entalo, obwavu, obutyabaga, obumenyi bw’amateeka, obutali bwenkanya, obulwadde n’okufa. Naye ate mu myaka ekikumi egiyise omuntu abonyeebonye nnyo n’okusinga bwe kyali kibadde. Okubonaabona kuno kulikoma?
Eky’okuddamu ekizzaamu amaanyi kiri nti kujja kukoma era kunaatera! Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Omubi talibeerawo . . . Naye abawombeefu balisikira ensi, era banaasanyukiranga emirembe emingi.” Emirembe gino banaaginyumirwa kumala bbanga ki? Kyeyongera ne kigamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:10, 11, 29.
Nga Katonda amaze okuggyawo obubi n’okubonaabona, ensi ejja kufuulibwa olusuku lwe. Olwo nno abantu bajja kusobola okubeerawo emirembe gyonna mu bulamu obutuukiridde era obw’essanyu. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe; era okufa tekulibaawo nate; so tewaabengawo nate nnaku newakubadde okukaaba newakubadde okulumwa: eby’olubereberye biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:4.
Mu nsi empya, abafu bajja kuzuukizibwa nabo basobole okweyagalira mu mbeera ezo ennungi. Baibuli egamba nti: “Walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu era n’abatali batuukirivu.” (Ebikolwa 24:15) Eyo ye nsonga lwaki Yesu Kristo yali asobola okugamba omumenyi w’amateeka eyeenenya era n’amukkiririzaamu, nti: “Oliba nange mu Lusuku lwa Katonda.”—Lukka 23:43, New World Translation.
Kiki Ekyaviirako Okubonaabona?
Okuva Katonda bw’ategekedde abantu ebiseera eby’omu maaso ebirungi bwe bityo, lwaki ate yakkiriza okubonaabona okubaawo? Lwaki akuleseewo okumala ekiseera kiwanvu?
Katonda yatonda Adamu ne Kaawa nga batuukiridde mu mubiri ne mu birowoozo. Yabateeka mu lusuku lwe olulabika obulungi ennyo era n’abawa omulimu ogumatiza. Baibuli egamba nti: “Katonda n’alaba buli ky’akoze; era laba, [nga] kirungi nnyo.” (Olubereberye 1:31) Singa baagondera Katonda, bandizadde abaana abatuukiridde era ensi yonna yandifuuse olusuku lwa Katonda abantu mwe bandifunidde obulamu obutaggwaawo nga bali mu mirembe n’essanyu.
Katonda yatonda Adamu ne Kaawa nga balina eddembe ly’okwesalirawo. Tebaali ba kubeera ng’ebyuma ebitasobola kwesalirawo. Kyokka, essanyu lyabwe ery’olubeerera lyali lyesigamye ku kukozesa obulungi eddembe lyabwe eryo—nga bagondera amateeka ga Katonda. Katonda agamba: “Nze Mukama Katonda wo, akuyigiriza oku[ku]gasa, akukulembera mu kkubo ly’oba oyitamu.” (Isaaya 48:17) Bwe bandikozesezza obubi eddembe lyabwe ery’okwesalirawo, kyandibaviiriddemu emitawaana mingi okuva abantu bwe baatondebwa nga tebasobola kweruŋŋamya bokka awatali bulagirizi bwa Katonda. Baibuli egamba nti: “Ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini, tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamya ebigere bye.”—Yeremiya 10:23.
Eky’ennaku, bazadde baffe abaasooka baalowooza nti basobola okwekutula ku Katonda ne basigala nga bali bulungi. Kyokka, bwe beekutula ku bufuzi bwa Katonda, baali tebakyalina buwagizi bwe era baafuuka abatali batuukirivu. N’ekyavaamu baatandika okukaddiwa era oluvannyuma baafa. Olw’okuba tuli bazzukulu baabwe, twasikira obutali butuukirivu bwabwe era kyetuva tufa.—Abaruumi 5:12.
Ensonga Enkulu—Ani Agwanidde Okufuga?
Lwaki Katonda teyazikiririzaawo Adamu ne Kaawa n’atonda abantu abalala? Lwa kuba obwannannyini bw’alina okufuga obutonde bwonna bwali bubuusabuusiddwa. Ekibuuzo ekyajjawo kyali nti, Ani agwanidde okufuga era bufuzi bw’ani obutuufu? Mu ngeri endala, Abantu bandisobodde okwefuga obulungi awatali bulagirizi bwa Katonda? Mu kubawa ekiseera ekimala bagezeeko okwefuga bokka, Katonda yandisobodde okukiraga nti tebasobola kubeera bulungi nga beekutudde ku bufuzi bwe. Ekiseera ekyabaweebwa kyali kya kuba kiwanvu ekimala basobole okugezaako enkola ez’enjawulo ez’eby’obufuzi, ez’eby’enfuna, ez’eddiini era n’okulongoosa embeera yaabwe ey’obulamu awatali bulagirizi bwa Katonda.
Biki ebivuddemu? Wabaddewo okubonaabona kungi nnyo mu nkumi n’enkumi z’emyaka egy’ebyafaayo by’omuntu. Ate mu myaka kikumi egiyise, abantu babonyeebonye nnyo n’okusinga bwe kyali kibadde. Bukadde na bukadde battibwa mu Ssematalo ow’Okubiri. Abantu abasukka mu bukadde 100 battiddwa mu ntalo. Obumenyi bw’amateeka n’ebikolwa eby’ettemu bibunye wonna. Okwekamirira amalagala kucaase nnyo mu nsi. Endwadde ez’obukaba zongedde okusaasaana. Buli
mwaka, abantu bukadde na bukadde bafa enjala n’obulwadde. Obulamu bw’amaka n’empisa byongedde okwonooneka buli wamu. Tewali gavumenti y’abantu esobola okugonjoola ebizibu bino. Era teri n’emu esobodde kumalawo kukaddiwa, bulwadde n’okufa.Embeera abantu gye balimu eri ddala nga Baibuli bwe yalagula. Ekigambo kya Katonda kiraga nti ekiseera kyaffe ze ‘nnaku ez’oluvannyuma’ ez’enteekateeka y’ebintu eno, “ebiro eby’okulaba ennaku.” Era nga Baibuli bwe yagamba, ‘abantu ababi n’abeetulinkiriza beeyongedde okuyitirira mu bubi.’—2 Timoseewo 3:1-5, 13.
Okubonaabona Kunaatera Okukoma
Obujulizi buno bwonna bulaga nti ekiseera kinaatera okutuuka obufuzi bw’abantu obwa kyetwala buggibwewo. Kyeraze lwatu nti obufuzi bw’abantu tebusobola kutuuka ku buwanguzi. Obufuzi bwa Katonda bwe bwokka obusobola okuleetawo emirembe, essanyu, obulamu obutuukiridde era n’obulamu obutaggwaawo. N’olwekyo, ekiseera kiri kumpi okutuuka Yakuwa aggyewo obubi n’okubonaabona. Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuyingira mu nsonga z’abantu azikirize enteekateeka y’ebintu eno embi.
Obunnabbi bwa Baibuli bugamba: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka [mu ggulu], obutalizikirizibwa emirembe gyonna. . . . Naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna [obufuzi obuliwo kati], era bunaabeereranga emirembe gyonna.” (Danyeri 2:44) Okulaga nti Yakuwa ye mufuzi w’obutonde bwonna, era nti y’agwanidde okufuga ng’ayitira mu Bwakabaka bwe obw’omu ggulu gwe mutwe omukulu ogwa Baibuli. Ng’ayogera ku kabonero akakulu akandirambye ‘ennaku ez’enkomerero,’ Yesu yagamba: “N’enjiri eno ey’obwakabaka eribuulirwa mu nsi zonna, okuba omujulirwa mu mawanga gonna; awo enkomerero n’eryoka ejja.”—Matayo 24:14.
Baani abajja okuwonawo ku nkomerero? Baibuli egamba bw’eti: “Abagolokofu banaabeeranga mu nsi, n’abo abatuukirira balisigala omwo. Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, n’abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.” (Engero 2:21, 22) Abagolokofu beebo abayiga Yakuwa by’ayagala era ne babikola. Yesu Kristo yagamba bw’ati: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe, Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Yee, “ensi eggwaawo . . . , naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:17.
Okuggyako nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli ey’Oluganda eya 1968.