Olowooza Ki ku Biseera eby’Omu Maaso?
Embeera y’ensi . . .
-
eneesigala nga bw’eri?
-
eneeyongera kwonooneka?
-
eneetereera?
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Katonda . . . alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era tewalibaawo kufa nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”—Okubikkulirwa 21:3, 4, Enkyusa ey’Ensi Empya.
OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO
Ojja kuba n’emirimu emirungi era egimatiza.—Isaaya 65:21-23.
Tojja kuddamu kulwala wadde okubonaabona.—Isaaya 25:8; 33:24.
Ojja kuba mu bulamu obw’essanyu ng’oli wamu n’ab’omu maka go ne mikwano gyo emirembe gyonna.—Zabbuli 37:11, 29.
TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA
Lwa nsonga nga bbiri:
-
Katonda asobola okutuukiriza ekisuubizo ekyo. Mu Bayibuli, Yakuwa Katonda ye yekka ayitibwa “Omuyinza w’Ebintu Byonna” kubanga amaanyi ge tegaliiko kkomo. (Okubikkulirwa 15:3) N’olwekyo, asobola bulungi okutuukiriza ekisuubizo kye eky’okutereeza ensi. Bayibuli egamba, “eri Katonda ebintu byonna bisoboka.”—Matayo 19:26.
-
Katonda ayagala okutuukiriza ekisuubizo ekyo. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eraga nti Yakuwa ‘ayagala nnyo’ okuzuukiza abaafa.—Yobu 14:14, 15.
Ate era Bayibuli ekiraga nti Yesu Omwana wa Katonda, yawonya abalwadde. Lwaki yabawonya? Kubanga yali ayagala okukikola. (Makko 1:40, 41) Okufaananako Kitaawe, Yesu naye ayagala okuyamba abo abali mu bwetaavu.—Yokaana 14:9.
N’olwekyo tuli bakakafu nti Yakuwa ne Yesu baagala okutuyamba tube n’obulamu obw’essanyu mu biseera eby’omu maaso!—Zabbuli 72:12-14; 145:16; 2 Peetero 3:9.