Buuka ogende ku bubaka obulimu

Ssuubi Ki olw’Abaagalwa Abaafa?

Ssuubi Ki olw’Abaagalwa Abaafa?

Ssuubi Ki olw’Abaagalwa Abaafa?

“Omuntu bw’afa, aliba mulamu nate?” bw’atyo omusajja Yobu bwe yabuuza edda ennyo. (Yobu 14:14) Oboolyawo naawe, okyewuunya. Wandiwulidde otya singa omanya nti okubeera awamu nate n’abaagalwa bo kyandisobose wano ku nsi mu mbeera ezisinga obulungi?

Kale nno, Baibuli esuubiza nti: “Abafu bo baliba balamu; emirambo . . . girizuukira.” Era nate Baibuli egamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, era banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Isaaya 26:19; Zabbuli 37:29.

Okuba n’obwesige obutuufu mu bisuubizo ng’ebyo, twetaaga okuddamu ebibuuzo ebimu ebikulu: Lwaki abantu bafa? Abafu bali ludda wa? Tuyinza tutya okuba abakakafu nti bayinza okuba abalamu nate?

Okufa, n’Ekyo Ekibaawo Bwe Tufa

Baibuli ekiraga bulungi nti Katonda olubereberye teyagenderera bantu kufa. Yatonda abantu ababiri abaasooka, Adamu ne Kaawa, n’abateeka mu lusuku lwe olw’oku nsi olwayitibwa Adeni, era yabalagira okuzaala abaana era n’okugaziya amaka gaabwe ag’Olusuku lwa Katonda okubuna ensi yonna. Bandifudde singa bajeemera ebiragiro bye.—Olubereberye 1:28; 2:15-17.

Olw’obutasiima kisa kya Katonda, Adamu ne Kaawa baajeema era ne batuusibwako ekibonerezo ekyabasalirwa. “Olidda mu ttaka,” bw’atyo Katonda bwe yagamba Adamu, “kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, era ne mu nfuufu mw’olidda.” (Olubereberye 3:19) Nga tannatondebwa, Adamu yali taliiwo; yali nfuufu. Olw’obujeemu bwe, oba ekibi kye, Adamu yaweebwa ekibonerezo eky’okudda mu nfuufu, mu mbeera ey’obutabaawo.

Bwe kityo okufa bwe butaba na bulamu. Baibuli egeraageranya bw’eti: “Empeera y’ekibi kwe kufa, naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo.” (Abaruumi 6:23) Ng’eraga nti okufa ye mbeera ey’obutabaako ky’omanyidde ddala, Baibuli egamba nti: “Kubanga abalamu bamanyi nga balifa: naye abafu tebaliiko kye bamanyi.” (Omubuulizi 9:5) Baibuli ennyonnyola nti, omuntu bw’afa: “Omukka gwe gumuvaamu, n’adda mu ttaka lye; ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.”Zabbuli 146:3, 4.

Naye nno, okuva bwe kiri nti Adamu ne Kaawa bokka be baajeemera ekiragiro eky’omu Adeni, lwaki ffenna tufa? Lwa kuba ffenna twazaalibwa luvannyuma lwa kujeema kwa Adamu, bwe kityo ffenna twasikira ekibi n’okufa okuva ku ye. Nga Baibuli bw’ennyonnyola nti: “Nga ku bw’omuntu omu [Adamu] ekibi bwe kyayingira mu nsi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona.”—Abaruumi 5:12; Yobu 14:4.

Naye omuntu omu ayinza okubuuza nti: ‘Abantu tebalina emmeeme etefa ewona okufa? Bangi bayigiriza kino, ne bagamba n’okugamba nti okufa mulyango oguyingira mu bulamu obulala. Naye endowooza eyo teva mu Baibuli. Wabula, Ekigambo kya Katonda kiyigiriza nti oli mmeeme, nti emmeeme yo ye ggwe wennyini, ng’otwaliddemu n’engeri zo zonna. (Olubereberye 2:7; Yeremiya 2:34; Engero 2:10) Era Baibuli egamba nti: “Emmeme ekola ekibi ye erifa.” (Ezeekyeri 18:4) Tewali Baibuli w’eyigiriza nti omuntu alina emmeeme etefa ewona okufa kw’omubiri.

Engeri Abantu Gye Bayinza Okuba Abalamu Nate

Oluvannyuma lw’ekibi n’okufa okuyingira mu nsi, Katonda yayolesa nga yali ateeseteese nti abafu bakomezebwewo mu bulamu okuyitira mu kuzuukizibwa. Bwe kityo Baibuli ennyonnyola nti: “Ibulayimu . . . yalowooza nga Katonda ayinza okuzuukiza [omwana we Isaaka] mu bafu.” (Abaebbulaniya 11:17-19) Obwesige bwa Ibulayimu tebwagwa butaka, kuba Baibuli egamba ku oyo Ayinza Byonna nti: “Si Katonda wa bafu, naye wa balamu: kubanga bonna baba balamu ku bubwe.”—Lukka 20:37, 38.

Yee, Katonda Ayinza Byonna talina buyinza kyokka naye era n’okwagala okuzuukiza abantu b’aba asiimye. Yesu Kristo yennyini yagamba nti: “Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye, ne bavaamu.”—Yokaana 5:28, 29; Ebikolwa 24:15.

Tewaayita bbanga ddene oluvannyuma lw’okwogera bw’ati, Yesu n’asanga abaali bagenda okuziika nga bava mu kibuga kya Isiraeri ekya Nayini. Omwana omulenzi eyali afudde ye yali omwana yekka owa nnamwandu. Bwe yalaba obuyinike bwe obw’amaanyi, Yesu n’amusaasira. Bw’atyo n’alagira omulambo nti: “Omulenzi, nkugamba nti Golokoka.” Omulenzi n’atuula, era Yesu n’amukwasa nnyina.—Lukka 7:11-17.

Nga bwe kyali eri nnamwandu oyo, era waaliwo okuwuniikirira kwa maanyi Yesu bwe yakyalira amaka ga Yayiro, omukulu w’ekkuŋŋaaniro ery’Ekiyudaaya. Muwala we ow’emyaka 12 yali afudde. Naye Yesu bwe yatuuka mu maka ga Yayiro, yagenda awali omwana afudde n’agamba nti: “Omuwala, golokoka.” Era n’agolokoka!—Lukka 8:40-56.

Oluvannyuma, mukwano gwa Yesu Lazaalo n’afa. Yesu bwe yatuuka mu maka ge, Lazaalo yali yaakamala ennaku nnya ng’afudde. Newakubadde yalina obuyinike bungi, mwannyina Maliza yalaga essuubi, ng’agamba nti: “Mmanyi nti alizuukira ku kuzuukira kw’olunaku olw’enkomerero.” Naye Yesu n’agenda ku ntaana, n’alagira okuggyawo ejjinja, n’akoowoola nti: “Lazaalo, fuluma ojje.” Era n’afuluma!—Yokaana 11:11-44.

Kaakano lowooza ku kino: Lazaalo yali mu mbeera ki mu nnaku ezo ennya ze yamala nga mufu? Lazaalo tewali kye yayogera nga yali mu ggulu mu kusanyuka oba mu kubonaabona okw’omuliro ogutazikira, nga mu butuufu kye yandibadde akoze singa yali eyo. Nedda, Lazaalo yali taliiko ky’amanyi mu kufa era nga bw’atyo bwe yandibadde okutuusa “kukuzuukira kw’olunaku olw’enkomerero” singa Yesu yali tamukomezaawo mu bulamu.

Kya mazima nti eby’amagero bino ebya Yesu omuganyulo gwabyo gwali gwa kiseera buseera, olw’okuba abo be yazuukiza baafa nate. Naye nno, yawa obukakafu emyaka 1,900 egiyiseewo, nti olw’amaanyi ga Katonda, abafu ddala basobola okuba abalamu nate. Bwe kityo olw’eby’amagero bye yakola, Yesu yalaga mu ngeri entono ekyo ekijja okubaawo ku nsi wansi w’Obwakabaka bwa Katonda.

Omwagalwa Bw’afa

Omulabe kufa bw’ajja, obuyinike bwo buyinza okuba obunene, wadde ng’olina essuubi mu kuzuukira. Ibulayimu yalina okukkiriza nga mukazi we yali wa kuba mulamu nate, kyokka tusoma nti “Ibulayimu n’ajja okukungubagira Saala, n’okumukaabira amaziga.” (Olubereberye 23:2) Ate ye Yesu? Lazaalo bwe yafa, “n’asinda mu mwoyo, ne yeeraliirikira,” era oluvannyumako “n’akaaba amaziga.” (Yokaana 11:33, 35) Bwe kityo, omuntu gw’oyagala bw’afa, kiba tekiraga bunafu okukaaba.

Omwana bw’afa, kiba kiseera kizibu naddala eri mmaama. Bw’etyo Baibuli ekakasa obuyinike obunene mmaama w’omwana bw’awulira. (2 Bassekabaka 4:27) Mu mazima, era kibeera kizibu eri ttaata afiiriddwa. “Singa nkufiiridde,” bw’atyo Kabaka Dawudi bwe yakaaba omwana we Abusaalomu ng’afudde.—2 Samwiri 18:33.

Kyokka, olw’okuba olina obwesige mu kuzuukizibwa, obunakuwavu bwo tebujja kuyitirira. Nga Baibuli bw’egamba, tojja ‘kunakuwala ng’abalala abatalina ssuubi.’ (1 Abasessaloniika 4:13) Wabula, ojja kusemberera Katonda mu kusaba, era Baibuli esuubiza nti “naye anaakuwaniriranga.”—Zabbuli 55:22.

Wabula nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli ey’Oluganda eya 1968.