Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye Bakkiriza?
Kiki Abajulirwa ba Yakuwa kye Bakkiriza?
“Twagala okuwulira okuva gy’oli by’olowooza: kubanga ebigambo by’enzikiriza eno, tumanyi nti kiwerebwa wonna wonna.” (Ebikolwa 28:22) Abakulembeze bano mu Ruumi eky’ekyasa ekyasooka baalaga ekyokulabirako ekirungi. Baayagala okuwulira okuva ku nsibuko entuufu, okusinga okuva ku bajolonga obujolonzi.
Mu ngeri y’emu, Abajulirwa ba Yakuwa ennaku zino batera okwogerwako obubi, era kyandibadde kisobyo okusuubira okumanya ekituufu ekibakwatako okuva eri abo abeekubiira. N’olwekyo tulina essanyu okukunnyonnyola ezimu ku nzikiriza zaffe enkulu.
Baibuli, Yesu Kristo, ne Katonda
Tukkiriza nti “buli ekyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda era kigasa.” (2 Timoseewo 3:16) Era newakubadde abamu bagambye nti tetuli Bakristaayo bennyini, kino si kya mazima. Tukkiriziganyiza ddala n’obujulizi bw’omutume Peetero obukwata ku Yesu Kristo nti: “Tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w’eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.”—Ebikolwa 4:12.
Naye nno, okuva Yesu bwe yagamba nti yali “Mwana wa Katonda” era nti ‘Kitange ye yantuma,’ Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti Katonda asinga Yesu obukulu. (Yokaana 10:36; 6:57) Yesu yennyini yakikkiriza nti: “Kitange ansinga obukulu.” (Yokaana 14:28; 8:28) Bwe kityo tetukkiriza nti Yesu yenkana ne Kitaawe, ng’enjigiriza ya Tiriniti bw’egamba. Wabula, tukkiriza nti ye yatondebwa Katonda era nti ali wansi We.—Abakkolosaayi 1:15; 1 Abakkolinso 11:3.
Mu lulimu Oluganda, erinnya lya Katonda ye Yakuwa. Baibuli egamba nti: “Ggwe wekka erinnya lyo YAKUWA, oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.” (Zabbuli 83:18) Okutuukagana n’ebigambo bino, Yesu yassa nnyo essiira ku linnya lya Katonda, n’ayigiriza abagoberezi be okusaba nti: “Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo litukuzibwe.” Era ye yennyini yasaba Katonda: “Njolesezza erinnya lyo abantu be wampa.”—Matayo 6:9; Yokaana 17:6.
Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti bandibadde bafaanana Yesu mu kumanyisa erinnya lya Katonda n’ebigendererwa bye eri abalala. N’olwekyo tuyitibwa erinnya ery’Abajulirwa ba Yakuwa kubanga tulabira ku Yesu, “Omujulirwa Omwesigwa.” (Okubikkulirwa 1:5; 3:14) Nga kituukagana bulungi, Isaaya 43:10 wagamba bwe wati eri ababaka ba Katonda. “Mmwe muli bajulirwa bange, bw’ayogera [Yakuwa, NW ], n’omuwereeza wange gwe nnalonda.”
Obwakabaka bwa Katonda
Yesu yayigiriza abagoberezi be okusabanga nti, “Obwakabaka bwo bujje,” era yafuula Obwakabaka obwo omutwe omukulu ogw’okuyigiriza kwe. (Matayo 6:10; Lukka 4:43) Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti Obwakabaka gavumenti ddala okuva mu ggulu, nti ejja kufuga ensi yonna, era nti Yesu Kristo ye yalondebwa okuba Kabaka waayo atalabika. “Gavumenti eneebanga ku kibegabega kye,” bw’etyo Baibuli bw’egamba. “Gavumenti ye n’emirembe tebirikoma kweyongeranga.”—Isaaya 9:6, 7, KJ.
Kyokka nno, Yesu Kristo si ye ajja okuba kabaka yekka owa gavumenti ya Katonda. Ajja kuba n’abafuzi bangi wamu naye mu ggulu. “Oba nga tugumiikiriza,” bw’atyo omutume Pawulo bwe yawandiika, “era tulifuga naye.” 2 Timoseewo 2:12) Baibuli eraga nti abantu abo abazuukizibwa okufuga awamu ne Kristo mu ggulu omuwendo gwabwe mugereke “akasiriivu mu obukumi buna mu enkumi nnya, abaagulibwa mu nsi.”—Okubikkulirwa 14:1, 3.
(Mu mazima, buli gavumenti eteekwa okuba n’abafugibwa, era Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti abalala bukadde ng’oggyeko bano abafuzi ab’omu ggulu bajja kufuna obulamu obutaggwaawo. Oluvannyuma ensi, ng’efuuliddwa olusuku lwa Katonda olulungi, ejja kujjuzibwa na bano abafugibwa abasaanira ab’Obwakabaka bwa Katonda, nga bonna bagondera obufuzi bwa Kristo ne bafuzi banne. Bwe kityo Abajulirwa ba Yakuwa bakakafu ddala nti ensi tegenda kuzikirizibwa era nti ekisuubizo kya Baibuli kijja kutuukirizibwa: “Abatuukirivu balisikira ensi, era banaagibeerangamu emirembe gyonna.”—Zabbuli 37:29; 104:5.
Naye obwakabaka bwa Katonda bunajja butya? Ng’abantu bonna beewaayo bokka eri gavumenti ya Katonda? Si bwe kiri, Baibuli eragira ddala bulungi ng’okujja kw’Obwakabaka kujja kwetaaga Katonda ye kennyini okuyingirira ensonga z’ensi: “Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, era obwakabaka . . . bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.”—Danyeri 2:44.
Obwakabaka bwa Katonda bunajja ddi? Okusinziira ku bunnabbi bwa Baibuli obutuukirizibwa kaakati, Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti buli kumpi nnyo okujja. Tukusaba olowooze ku by’obunnabbi ebimu ebyalagula eby’okubaawo mu ‘nnaku ez’oluvannyuma’ ez’embeera Matayo 24:3-14; Lukka 21:7-13, 25-31; era ne mu 2 Timoseewo 3:1-5.
zino embi ez’ebintu. Bisangibwa muOlw’okuba ‘twagala Yakuwa Katonda waffe n’omutima gwaffe gwonna, n’obulamu, n’amagezi era n’amaanyi gaffe gonna era ne muliraanwa waffe nga bwe tweyagala ffekka,’ tetweyawula mu mawanga, olwa langi n’olw’embeera z’obulamu. (Makko 12:30, 31) Tumanyiddwa wonna olw’okwagala okusangibwa mu b’oluganda baffe ab’Ekikristaayo abasangibwa mu mawanga gonna. (Yokaana 13:35; 1 Yokaana 3:10-12) Bwe tutyo twekuuma obuteetabika mu nsonga ez’ebyobufuzi ez’amawanga ago. Tugezaako okuba ng’abayigirizwa ba Yesu ab’edda, be yayogerako nti: “Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.” (Yokaana 17:16) Tukkiriza nti okweyawula okuva ku nsi kitegeeza okwewala empisa embi ezibunye wonna ennaku zino, nga bino bitwaliramu okulimba, okubba, obwenzi, okulya ebisiyaga, okukozesa obubi omusaayi, okusinza ebifaananyi, n’ebirala ebiri ng’ebyo ebivumirirwa mu Baibuli.—1 Abakkolinso 6:9-11; Abaefeso 5:3-5; Ebikolwa 15:28, 29.
Essuubi ery’Ebiseera eby’Omu Maaso
Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti obulamu bwe tuli nabwo kaakano mu nsi ssi bwe bwokka. Tukkiriza nti Yakuwa yatuma Kristo ku nsi okuyiwa omusaayi gw’obulamu bwe ng’ekinunulo abantu basobole okufuna embeera ey’obutuukirivu awamu ne Katonda era n’okufuna obulamu obutaggwaawo mu mbeera empya ez’ebintu. Ng’omutume wa Yesu bwe yagamba nti: ‘Tuweereddwa obutuukirivu olw’omusaayi gwe.’ (Abaruumi 5:9; Matayo 20:28) Abajulirwa ba Yakuwa balina obwesige obujjuvu olw’obulamu obw’omu maaso, nga bwesigamye ku kuzuukizibwa mu bafu wansi w’Obwakabaka bwa Katonda. Tukkiriza, nga Baibuli bw’eyigiriza, nti omuntu bw’afa ddala aba takyaliwo, nti “ku lunaku olwo ebirowoozo bye ne bibula.” (Zabbuli 146:3, 4; Ezeekyeri 18:4; Omubuulizi 9:5) Yee, obulamu obw’omu maaso obw’abafu bwesigamye ku Katonda okubajjukira mu kuzuukizibwa.—Yokaana 5:28, 29.
Naye nno, Abajulirwa ba Yakuwa bakakafu nti bangi abalamu kaakano bajja kuwonawo Obwakabaka bwa Katonda bwe bunaamalawo gavumenti eziriwo zonna era, nga Nuuwa n’ab’omu maka ge bwe baawona Amataba, bajja kweyongera okubaawo banyumirwe obulamu emirembe gyonna ku nsi erongooseddwa. (Matayo 24:36-39; 2 Peetero 3:5-7, 13) Naye tukkiriza nti okuwonyezebwa kwesigama ku kutuukiriza ebisaanyizo bya Yakuwa, nga Baibuli bw’egamba nti: “Ensi eggwaawo . . . naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.”—1 Yokaana 2:17; Zabbuli 37:11; Okubikkulirwa 7:9, 13-15; 21:1-5.
Mu mazima, tekisoboka okunnyonnyola wano enzikiriza zonna ez’Abajulirwa ba Yakuwa, naye tukusaba ofune ebisingawo.
Wabula nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli ey’Oluganda eya 1968.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 4]
Tuyitibwa erinnya ery’Abajulirwa ba Yakuwa kubanga tulabira ku Yesu