Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli?
Wandyagadde Okumanya Ebisingawo Ebikwata ku Baibuli?
Lwaki Wandisomye Baibuli?
BAIBULI obutafaananako bitabo birala, erimu obulagirizi obw’okwagala okuva eri Katonda. (1 Abasessaloniika 2:13) Singa okolera ku Baibuli by’eyigiriza, ojja kuganyulwa kinene. Okwagala kwo eri Katonda kujja kweyongera, era ojja kubeera n’enkolagana ey’oku lusegere n’oyo Awa “buli kirabo ekirungi, na buli kitone [e]kituukirivu.” (Yakobo 1:17) Ojja kuyiga engeri y’okumutuukiriramu mu kusaba. Bw’ofuna ebizibu, ojja kufuna obuyambi bwa Katonda. Singa onootuukanya obulamu bwo n’emisingi gya Baibuli, Katonda ajja kukuwa obulamu obutaggwaawo.—Abaruumi 6:23.
Baibuli erimu amazima agawa okutegeera. Abo abafuna okumanya okuli mu Baibuli basumululwa okuva mu bulimba obusimbye amakanda mu bukadde n’obukadde bw’abantu. Ng’ekyokulabirako, okumanya amazima agakwata ku kibaawo bwe tufa, kitusumulula okuva mu kutya nti abafu bayinza okutukolako akabi, oba nti ab’eŋŋanda zaffe n’ab’emikwano babonaabona. (Ezeekyeri 18:4) Enjigiriza ya Baibuli ekwata ku kuzuukira ebudaabuda abo abafiiriddwa abaagalwa baabwe. (Yokaana 11:25) Okumanya amazima agakwata ku bamalayika ababi kituyamba okwekuuma akabi akava mu kwenyigira mu by’obusamize era ne kituyamba okutegeera ensonga lwaki waliwo emitawaana mingi ku nsi.
Emisingi gya Katonda egy’omu Baibuli gitulaga engeri y’okweyisaamu ey’omuganyulo. Ng’ekyokulabirako, ‘okubeera n’empisa ennungi’ kireetawo obulamu obulungi. (1 Timoseewo 3:2, New World Translation) Bwe ‘twenaazaako obugwagwa bwonna obw’omubiri n’obw’omwoyo,’ twekuuma obutoonoona bulamu bwaffe. (2 Abakkolinso 7:1) Era okukolera ku bulagirizi obuli mu Baibuli kireetawo okussibwamu ekitiibwa n’essanyu mu bufumbo.—1 Abakkolinso 6:18.
Bw’okolera ku Kigambo kya Katonda, ojja kuba musanyufu okusingawo. Okumanya okuli mu Baibuli kutuyamba okufuna emirembe mu birowoozo n’okumatira era ne kutuwa n’essuubi. Kutuyamba okukulaakulanya engeri ennungi ng’obusaasizi, okwagala, essanyu, emirembe, ekisa n’okukkiriza. (Abaggalatiya 5:22, 23; Abaefeso 4:24, 32) Engeri ng’ezo zituyamba okubeera omwami oba omukyala asingawo obulungi. Era zituyamba okuba taata oba maama, mutabani oba muwala asingawo obulungi.
Wali weebuuzizzaako ekiri mu biseera eby’omu maaso? Obunnabbi obuli mu Baibuli butulaga nti tuli mu kiseera ekikulu ennyo mu byafaayo by’omuntu. Obunnabbi buno tebulaga mbeera ziriwo mu nsi kyokka, naye era bulaga nti mangu nnyo Katonda ajja kufuula ensi eno okuba Olusuku lwe.—Okubikkulirwa 21:3, 4.
Ekinaatuyamba Okutegeera Baibuli
Oboolyawo ogezezzaako okusoma Baibuli naye n’ogisanga nga nzibu okutegeera. Kyandiba nti tomanyi wa wa kukebera mu Baibuli okuzuula eby’okuddamu mu bibuuzo byo. Bwe kiba bwe kityo, si ggwe wekka ali mu mbeera eyo. Ffenna twetaaga obuyambi okusobola okutegeera Ekigambo kya Katonda. Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi 235, bayigiriza obukadde n’obukadde bw’abantu Baibuli ku bwereere. Bajja kuba basanyufu okukuyamba.
Bulijjo, kiba kirungi okuyiga Baibuli mu mitendera; ng’otandikira ku njigiriza ezisookerwako. (Abaebbulaniya 6:1) Nga weeyongera okuyiga, ojja kusobola okulya “emmere enkalubo,” kwe kugamba okutegeera amazima ag’omunda. (Abaebbulaniya 5:14) Baibuli ye yeesigamizibwako buli kintu. Ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli nga brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?, bijja kukuyamba okutegeera Ebyawandiikibwa ebikwata ku nsonga ezitali zimu.
Oli Mwetegefu Okuwaayo Ekiseera Buli Wiiki Okutegeera Baibuli?
Oyinza okutegeka okuyiga Baibuli ku kiseera n’ekifo ekikwanguyira. Bangi bayigira mu maka gaabwe. Abamu bayiga nga bakozesa essimu. Enteekateeka ey’okuyiga teba ng’omusomo ogutegekerwa abantu abangi. Wabula, eba nteekateeka yiyo kinnoomu ng’etuukagana n’embeera zo nga mw’otwalidde n’obusobozi bwo obw’okutegeera n’obuyigirize. Tewabaawo bibuuzo ng’eby’essomero era tojja kuwulira ng’oswaziddwa. Ebibuuzo by’olina ku Baibuli bijja kuddibwamu, era ojja kuyiga engeri gy’oyinza okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda.
Teweetaaga kusasulira nteekateeka eno ey’okuyiga Baibuli. (Matayo 10:8) Abantu ab’eddiini yonna, era n’abo abatalina ddiini naye nga baagala mu bwesimbu okwongera ku kumanya kw’EKigambo kya Katonda kwe balina basobola okuyiga awatali kusasula.
Baani abayinza okwenyigira mu kuyiga Baibuli? Ab’omu maka go bonna. Ne mikwano gyo nabo basobola okwenyigiramu. Oba, bwe kuba nga kwe kusiima kwo, oyinza okuyigirizibwa wekka.
Bangi bawaayo essaawa emu buli wiiki okuyiga Baibuli. Bw’oba ng’osobola okuwaayo ekiseera ekisukka mu ssaawa buli wiiki oba n’obutawera, mu buli ngeri Abajulirwa bajja kubeera beetegefu okukuyamba.
Oyanirizibwa Okuyiga
Tukusaba otegeeze Abajulirwa ba Yakuwa. Engeri emu gy’oyinza okukikolamu kwe kuwandiika ng’okozesa endagiriro eri wammanga. Olwo nno, enteekateeka zijja kukolebwa omuntu akukyalire akuyigirize Baibuli awatali kusasula.
□ Mumpeereze brocuwa Katonda Atwetaagisa Ki?
□ Muntuukirire ku bikwata ku kuyiga Baibuli ku bwereere.
Okuggyako nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli y’Oluganda eya 1968.