Buuka ogende ku bubaka obulimu

Yesu Kristo—y’Ani?

Yesu Kristo—y’Ani?

Yesu Kristo—y’Ani?

“N’ABANTU bangi abatali Bakristaayo bakkiriza nti Yali muyigiriza wa kitalo era wa magezi nnyo. Mazima ddala mu bantu bonna abaali babaddewo y’omu ku abo abaalina ekinene ennyo kye bakola ku balala.” (The World Book Encyclopedia) ‘Ye’ ani oyo? Yesu Kristo, eyatandikawo Obukristaayo. Omumanyi? Waliwo engeri yonna gy’akutte ku bulamu bwo?

Ebikwata ku buweereza bwa Yesu byawandiikibwa mu Baibuli mu bitabo bina eby’ebyafaayo ebiyitibwa Enjiri. Ebitabo bino bya mazima? Oluvannyuma lw’okubyekenneenya, munnabyafaayo omu amanyiddwa ennyo Will Durant yawandiika: “Okuba nti abasajja batono aba bulijjo ab’omu mulembe gumu bandigunjizzaawo omuntu ow’amaanyi era alina engeri ezisikiriza, omutindo gw’empisa eza waggulu era n’oluganda lw’abantu olusikiriza bwe lutyo, kyandibadde kya magero kya maanyi nnyo n’okusinga ebyo byonna ebyawandiikibwa mu Njiri.”

Naye, obukadde n’obukadde bw’abantu mu Buvanjuba bw’ensi era ne mu bitundu ebirala, bamanyi kitono nnyo ku Yesu Kristo. Bayinza okukkiriza nti yaliwo, naye tebalowooza nti alina engeri yonna gy’akwata ku bulamu bwabwe. Abalala bagamba nti Yesu tagwana na kulowoozebwako olw’ebyo abeeyita abagoberezi be bye bakoze. ‘Baasuula bbomu ey’amaanyi ga atomu ku Nagasaki,’ abamu mu Japan bwe bagamba, ‘ekibuga ekisinga ebibuga ebirala bingi mu Japan okubaamu Abakristaayo.’

Naye, wandinenyezza omusawo singa omulwadde alemererwa okugoberera omusawo by’amulagidde? Kya lwatu nedda. Okumala ebbanga ddene abantu b’omu Kristendomu basudde muguluka obulagirizi Yesu bwe yateekawo ku ngeri y’okukola ku bizibu bye boolekagana nabyo buli lunaku. N’olwekyo mu kifo ky’okwesamba Yesu olw’abo abeeyita Abakristaayo, abatagoberera bulagirizi bwe, lwaki toyiga ebimukwatako? Soma Baibuli, otegeerere ddala Yesu y’ani era n’engeri gy’ayinza okukyusamu obulamu bwo.

Okwagala—Bye Yalagira

Yesu Kristo yali muyigiriza wa kitalo eyaliwo mu Palesitayini emyaka nga 2,000 egiyise. Bitono nnyo ebimanyiddwa ku bulamu bwe ng’akyali muto. (Matayo, essuula 1 ne 2; Lukka, essuula 1 ne 2) Bwe yaweza emyaka 30 egy’obukulu, Yesu yatandika obuweereza bwe ‘okutegeeza amazima.’ (Yokaana 18:37; Lukka 3:21-23) Abawandiisi b’ebyafaayo abana abaategeeza ku bulamu bwa Yesu baateeka essira ku buweereza bwe eri abantu, emyaka esatu n’ekitundu egyasembayo ng’ali ku nsi.

Mu buweereza bwe, Yesu yawa abayigirizwa be ekisumuluzo ekibasobozesa okwaŋŋanga ebizibu ebitali bimu mu bulamu bwabwe. Ekisumuluzo ekyo kye kiruwa? Kwe kwagala. Mu kubuulira okumanyiddwa ennyo mu byafaayo, okuyitibwa Okubuulira okw’Oku Lusozi, Yesu yayigiriza abayigirizwa be okulaga okwagala eri bantu bannaabwe. Yagamba: “Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo.” (Matayo 7:12) Omusingi guno guyitibwa Etteeka Erikwata ku Nneeyisa. “Abantu” Yesu be yayogerako wano batwaliramu n’abalabe b’omuntu. Mu kubuulira kwe kumu, yagamba: “Mwagalenga abalabe bammwe, musabirenga ababayigganya.” (Matayo 5:44) Okwagala okw’engeri eyo tekwandigonjodde ebizibu bingi bye twolekaganye nabyo leero? Bw’atyo Mohandas Gandhi omukulembeze w’Abahindu bwe yalowooza. Yagamba: “Bwe [tu]ligoberera ebyo Kristo bye yayigiriza mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi, tuliba tumaze okugonjoola ebizibu . . . by’ensi yonna.” Enjigiriza za Yesu ezikwata ku kwagala, bwe zigobererwa, ziyinza okugonjoola ebizibu by’olulyo lw’omuntu.

Okwagala Kwe nga Kuli mu Nkola

Yesu yagobereranga bye yayigirizanga. Yakulembezanga ebikwata ku balala so si ebibye era n’ateeka okwagala mu nkola. Lumu, Yesu n’abayigirizwa be baali baweereza nnamungi w’abantu, ne batafuna na kabanga kulya mmere. Yesu yalaba nga kyali kyetaagisa abayigirizwa be ‘okuwummulako,’ n’olwekyo baagenda mu kafo akataalimu bantu. Naye ekibiina kyabasookayo era ne kibalindirira. Wandikoze otya singa wali mu kifo kya Yesu? Yesu ‘yabasaasira’ era “n’atanula okubayigiriza [ebintu] bingi.” (Makko 6:30-34) Obusaasizi buno obungi bwe yalina bwamuleetera okuyamba abalala.

Yesu bye yakolera abalala tebyakoma ku kubayigiriza bya mwoyo. Era yabawanga n’obuyambi obulala obwetaagisa. Ng’ekyokulabirako, yaliisa abasajja 5,000 (nga tobaze bakazi na baana) abaamuwuliriza okuzibya obudde. Ate yaliisa n’abalala 4,000 omulundi omulala. Ku mulundi ogusoose okwogerwako, yakozesa emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri, ate ogw’oluvannyuma, yakozesa emigaati musanvu n’obwennyanja butono. (Matayo 14:14-22; 15:32-38; Makko 6:35-44; 8:1-9) Byali bya magero? Yee, yali mukozi wa bya magero.

Era Yesu yawonya abalwadde bangi. Yawonya abazibe b’amaaso, abalema, abagenge, ne bakiggala. Weewuunye, yazuukiza n’abafu! (Lukka 7:22; Yokaana 11:30-45) Lumu, omugenge yamwegayirira nti: “Bw’oyagala, oyinza okunnongoosa.” Yesu yakola atya? “[Y]agolola omukono gwe n’amukwatako n’amugamba nti Njagala; longooka.” (Makko 1:40, 41) Yesu yakubirizibwa okwagala okungi kwe yalina okubayamba. Okuyitira mu bya magero ng’ebyo, yalaga okwagala eri ababonaabona.

Kizibu okukkiriza? Naye ebyamagero bye ebisinga obungi Yesu yabikoleranga mu lujjudde. N’abaamuziyizanga, abaagezangako okumunoonyako ensobi, tebaakiwakanya nti yakola ebyamagero. (Yokaana 9:1-34) Ng’oggyeko ekyo, ebyamagero bye yakola byalina ekigendererwa. Byayamba abantu okutegeera nti Yesu y’oyo Katonda gwe yali atumye.—Yokaana 6:14.

Okwekenneenyako katono enjigiriza za Yesu n’obulamu bwe kituleetera okumwagala era kitukubiriza okukoppa okwagala kwe. Kyokka, eyo si ye ngeri yokka Yesu gy’ayinza okukwata ku bulamu bwo. Teyakoma ku kubeera muyigiriza wa kitalo eyayigiriza okwagala. Yakiraga nti nga tannafuuka muntu yali waali ng’Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka. (Yokaana 1:14; 3:16; 8:58; 17:5; 1 Yokaana 4:9) Era ne kaakano waali, ne kimufuula omuntu omukulu ennyo gy’oli. Baibuli eraga nti Yesu yazuukizibwa era nga kati atuuziddwa ku ntebe nga Kabaka w’Obwakabaka bwa Katonda. (Okubikkulirwa 11:15) Yesu yagamba: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3; 20:31) Mazima ddala, okutegeera ebikwata ku Yesu Kristo kiyinza okukuviiramu okufuna obulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwa Katonda! Kino kiyinzika kitya? Lwaki toyiga ebisingawo ebikwata ku Yesu otegeere engeri ‘okwagala kwa Kristo gye kutukubirizaamu’ okumukoppa? (2 Abakkolinso 5:14, NW) Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu okukuyamba.

Okuggyako nga kiragiddwa obulala, ebijuliziddwa byonna mu Baibuli biggiddwa mu Baibuli y’Oluganda eya United Bible Societies eya 1968.