Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 3

Lakabu Yakkiririza mu Yakuwa

Lakabu Yakkiririza mu Yakuwa

Ka tukube akafaananyi nga tuli mu kibuga Yeriko. Ekibuga kino kyali mu nsi ya Kanani. Abantu b’omu nsi eyo baali tebakkiririza mu Yakuwa. Omukazi ayitibwa Lakabu naye yali abeera mu Yeriko.

Lakabu bwe yali akyali muto, yakiwulirako nti Abayisirayiri bwe baali bava e Misiri, Musa yayawulamu Ennyanja Emmyufu ne basobola okuyitawo. Era yali yakiwulirako nti Yakuwa yayamba Abayisirayiri okuwangula entalo ze baalwana n’abalabe baabwe. Naye kati yagenda okuwulira nti bali kumpi nnyo ne Yeriko!

Lakabu yakweka abakessi kubanga yali akkiririza mu Yakuwa

Lwali lumu, Abayisirayiri babiri ne bajja mu kibuga Yeriko akawungeezi okukiketta. Baagenda ewa Lakabu era n’abayingiza mu nnyumba. Ekiro ekyo kabaka wa Yeriko yategeezebwa nti waaliwo abakessi abaali bazze mu kibuga era nti baali mu nnyumba ya Lakabu. Kabaka yatuma abasajja be bagende babakwate. Lakabu yakweka abakessi abo waggulu mu kasolya k’ennyumba ye era n’agamba abasajja kabaka be yali atumye nti: ‘Abakessi baabaddeko wano, naye baagenze, era baafulumye dda n’ekibuga. Bwe mugenderawo kati mujja kubakwata!’ Omanyi ensonga lwaki Lakabu yakweka abakessi abo?— Kubanga yali akkiririza mu Yakuwa era yali akimanyi nti Yakuwa ajja kuwa Abayisirayiri ensi ya Kanani.

Abakessi bwe baali bava mu nnyumba ya Lakabu, baamugamba nti ye n’ab’ennyumba ye bajja kuwonawo ng’ekibuga Yeriko kizikirizibwa. Omanyi kye baamugamba okukola?— Baamugamba nti: ‘Ddira akaguwa kano akamyufu okasibe ku ddirisa ly’ennyumba yo. Bw’onookasibako, buli anaaba mu nnyumba yo ajja kuwonawo.’ Lakabu yakolera ddala ekyo abakessi kye baamugamba. Omanyi ekyaddirira?

Yakuwa yawonyaawo Lakabu n’abo abaali mu nnyumba ye

Bwe waayitawo ennaku ntono, Abayisirayiri baatandika okwetooloola ekibuga Yeriko nga tebalina kigambo kyonna kye boogera. Baakyetooloolera ennaku mukaaga, nga buli lunaku bakyetooloola omulundi gumu. Naye ku lunaku olw’omusanvu baakyetooloola emirundi musanvu. Nga bamaze okukyetooloola omulundi ogusembayo, baaleekaana nnyo, era Yakuwa yasuula ekikomera ekyali kyetoolodde ekibuga. Naye yo ennyumba eyaliko akaguwa akamyufu yasigalawo! Ogiraba mu kifaananyi?— Lakabu n’abo abaali mu nnyumba ye baawonawo!

Kiki ky’oyigira ku Lakabu?— Lakabu yakkiririza mu Yakuwa kubanga yawulira ebintu ebyewuunyisa bingi Yakuwa bye yakola. Naawe olina bingi by’oyiga ku Yakuwa. Okkiririza mu Yakuwa nga Lakabu bwe yali amukkiririzaamu?— Kirungi okuba nti omukkiririzaamu!