Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 8

Yosiya Yalina Emikwano Emirungi

Yosiya Yalina Emikwano Emirungi

Olowooza kyangu okukola ebintu ebirungi?— Abantu abasinga obungi bagamba nti si kyangu. Bayibuli etutegeeza ebikwata ku mwana eyali ayitibwa Yosiya. Eraga nti Yosiya tekyamubeerera kyangu okukola ebintu ebirungi. Naye yalina emikwano emirungi egyamuyamba okukola ebintu ebirungi. Ka tulabe ebikwata ku Yosiya ne mikwano gye.

Amoni, kabaka wa Yuda ye yali taata wa Yosiya. Yali mubi nnyo era yali asinza bifaananyi. Bwe yafa, Yosiya ye yafuuka kabaka wa Yuda. Mu kiseera ekyo Yosiya yalina emyaka munaana gyokka! Olowooza yali mubi nga taata we?— Nedda!

Zeffaniya yagamba abantu balekere awo okusinza ebifaananyi

Yosiya ne bwe yali akyali muto, yali ayagala okugondera Yakuwa. Bwe kityo abo be yalonda okuba mikwano gye beebo abaali baagala Yakuwa. Era baamuyamba okukola ebintu ebirungi. Abamu ku bo be baani?

Omu ku mikwano gye yali ayitibwa Zeffaniya. Zeffaniya yali nnabbi wa Yakuwa. Yalabula abantu ba Yuda nti bwe bandisinzizza ebifaananyi, ebintu ebibi byandibatuuseeko. Yosiya yawuliriza Zeffaniya, n’asinza Yakuwa so si bifaananyi.

Mukwano gwa Yosiya omulala yali Yeremiya. Baali kumpi benkana emyaka, era ng’ebibuga bye baakuliramu byali biriraanaganye. Baali ba mukwano nnyo, era Yosiya bwe yafa Yeremiya yayiiya oluyimba olwali lulaga nti yali alumiddwa nnyo mukwano gwe Yosiya. Yeremiya ne Yosiya buli omu yayambanga munne okukola ebintu ebirungi n’okugondera Yakuwa.

Yosiya ne Yeremiya buli omu yakubiriza munne okukola ebintu ebirungi

Ebyo bye tusoma ku Yosiya bikuyigiriza ki?— Yosiya ne bwe yali akyali muto yali ayagala okukola ebintu ebirungi. Yali akimanyi nti abantu be yali asaanidde okufuula mikwano gye beebo abaali baagala Yakuwa. Naawe fuba okulaba nti abo abaagala Yakuwa era abayinza okukuyamba okukola ebintu ebirungi b’ofuula mikwano gyo.