Buuka ogende ku bubaka obulimu

“Emizannyo Egiteeka Obulamu mu Kabi”— Osaanidde Okugizannya?

“Emizannyo Egiteeka Obulamu mu Kabi”— Osaanidde Okugizannya?

Bayibuli Ky’egamba

“Emizannyo Egiteeka Obulamu mu Kabi”— Osaanidde Okugizannya?

LEERO ABANTU TEBAKOMA KU KULABA MIZANNYO EGISSA OBULAMU MU KABI, NAYE ERA BEENYIGIRA MU BINTU GAMBA NG’OKUBUUKA MU BBANGA NGA BAKOZESA PALAKYUTI, OKUWALAMPA ENSOZI EMPANVU, OKUVUGA OBWATO OBUTONO NGA BABUYISA KU BIYIRIRO, OBA OKUWUGA N’EBYENNYANJA EBIYITIBWA SHARK, ERA NGA BAKOLA EBINTU EBYO OLW’OKWAGALA OKWESANYUSAAMU.”—OLUPAPULA LW’AMAWULIRE OLUYITIBWA WILLOW GLEN RESIDENT.

LEERO abantu baagala nnyo okuzannya emizannyo egissa obulamu mu kabi. Bakola ebintu eby’obulabe nga bavuga obugaali, nga bazannyira ku muzira, nga bawalampa ensozi empanvu ennyo, oba nga babuuka okuva ku bugulungujjo bw’ensozi. Emizannyo egyo gicaase nnyo kubanga abantu baagala okukola ebintu ebissa obulamu bwabwe mu kabi nga bagamba nti bibayamba okuggwaamu ensisi, oba nga baagala okufuna ekintu ekibasanyusa mu bulamu.

Kyokka eky’okuba nti abantu beenyigira mu mizannyo ng’egyo, era nga n’egyo egitali gya bulabe bagizannya mu ngeri essa obulamu bwabwe mu kabi, kiviiriddeko abantu bangi okufuna ebisago. Mu 1997, omuwendo gw’abantu mu Amerika abajjanjabibwa olw’ebisago bye baafuna nga bazannya omuzannyo gw’okwevugira ku bubaawo obuliko obupiira gweyongera ebitundu 33 ku buli kikumi, ogw’abo abazannyira ku muzira nga bakozesa obubaawo, gweyongera ebitundu 31 ku buli kikumi, ate ogw’abo abawalampa ensozi, gweyongera ebitundu 20 ku buli kikumi. Abantu abazannya emizannyo egyo bamanyi bulungi obulabe obuli mu kugizannya. Omukazi omu eyeenyigira mu mizannyo ng’egyo agamba nti: “Mba nkimanyi nti nnyinza okufa.” Omu ku bazannyi abazannyira ku muzira agamba nti “bw’otafuna bisago, oba tataddeemu maanyi.”

Okuva bwe tukirabye nti emizannyo egyo gissa obulamu mu kabi, Omukristaayo asaanidde okugizannya? Bayibuli eyinza etya okutuyamba okulaba obanga tusaanidde okwenyigira mu mizannyo ng’egyo? Okumanya engeri Katonda gy’atwalamu obulamu, kijja kutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

Engeri Katonda gy’Atwalamu Obulamu

Bayibuli egamba nti Yakuwa ‘ye nsibuko y’obulamu.’ (Zabbuli 36:9) Ng’oggyeeko okuba nti Yakuwa ye yatutonda, y’atuwa ebintu bye twetaaga okusobola okunyumirwa obulamu. (Zabbuli 139:14; Ebikolwa 14:16, 17; 17:24-28) Ekyo kiraga nti ayagala tufeeyo ku kirabo eky’obulamu kye yatuwa. Amateeka ge yawa Abayisirayiri galaga nti obulamu abutwala nga bwa muwendo nnyo.

Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri gaali geetaagisa omuntu okubaako by’akola okusobola okwewala okussa obulamu bw’abalala mu kabi. Singa omuntu ekyo teyakikolanga n’aviirako omuntu omulala okufiirwa obulamu bwe, yabangako omusango gw’okuyiwa omusaayi. Ng’ekyokulabirako, omuntu bwe yazimbanga ennyumba, yalinga okussa omuziziko okwetooloola akasolya k’ennyumba akaabanga akaseeteevu. Singa omuntu teyassanga muziziko ogwo ku nnyumba ye, omuntu n’awanukayo n’agwa n’afa, nnannyini nnyumba eyo yabangako omusango. (Ekyamateeka 22:8) Singa ente yatomeranga omuntu n’afa, nnannyini nte eyo teyabangako musango. Kyokka singa ente eyo yabanga emanyiddwa nti erina omuze gw’otomera era nga nnannyini yo yalabulwa naye n’atafaayo kugisiba, ente eyo bwe yatomeranga omuntu n’afa, nnannyini yo yabangako omusango gw’okuyiwa omusaayi era naye yalinanga okuttibwa. (Okuva 21:28, 29) Yakuwa yawa Abayisirayiri amateeka ago olw’okuba obulamu abutwala nga bwa muwendo nnyo, era ayagala abantu baleme kussa bulamu mu kabi.

Abaweereza ba Katonda abeesigwa baalinga bakimanyi nti ne bwe wataabangawo tteeka lirambulukufu lyogera ku kintu, kyali kikyamu okussa obulamu bwabwe oba obw’abalala mu kabi. Bayibuli egamba nti waliwo ekiseera Dawudi lwe yawulira ng’ayagala ‘okunywa ku mazzi g’omu luzzi olwali ku mulyango gwa Besirekemu.’ Mu kiseera ekyo Abafirisuuti baali bagumbye mu Besirekemu. Basatu ku basirikale ba Dawudi bwe baawulira ekyo kye yali agambye, baasalawo okuwaguza mu lusiisira lw’Abafirisuuti ne basenera Dawudi amazzi mu luzzi olwo ne bagamuleetera. Kiki Dawudi kye yakola? Teyanywa mazzi ago, wabula yagayiwa ku ttaka. Yagamba nti: “Kikafuuwe nze okukola kino, kubanga nzisaamu Katonda ekitiibwa! Ddala nnywe omusaayi gw’abasajja bano abatadde obulamu bwabwe mu kabi? Kubanga batadde obulamu bwabwe mu kabi okusobola okuleeta amazzi gano.” (1 Ebyomumirembe 11:17-19) Dawudi yali tasemba basajja be kussa bulamu bwabwe mu kabi okusobola okumufunira ekintu kye yali ayagala.

Yesu naye yeeyisa mu ngeri y’emu. Sitaani bwe yamukema n’amugamba nti abuuke okuva waggulu ku kisenge kya yeekaalu, alabe obanga bamalayika banaamuwanirira n’atafuna bisago, Yesu yagaana okussa obulamu bwe mu kabi. Yaddamu Sitaani nti: “Togezesanga Yakuwa Katonda wo.” (Matayo 4:5-7) Dawudi ne Yesu baali bakimanyi nti kikyamu mu maaso ga Katonda okukola ebintu ebissa obulamu mu kabi.

Tuyinza tutya okumanya emizannyo egissa obulamu mu kabi? Okuva bwe kiri nti n’emizannyo egitali gya bulabe abantu abamu bagizannya mu ngeri essa obulamu mu kabi, tuyinza tutya okumanya obanga tunaagizannya oba nedda?

Ddala Kyetaagisa Okugizannya?

Okusobola okusalawo obulungi, tulina okulowooza ku muzannyo gwe tuba twagala okuzannya. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okwebuuza nti, ‘Abantu batera okufuna ebisago nga bazannya omuzannyo ogwo? Nnatendekebwa mu kuzannya omuzannyo ogwo, oba nnina ebintu ebiyinza okunnyamba okwewala okufuna ebisago? Singa ngwa wansi oba singa ebintu bye nkozesa biremererwa okukola obulungi, ebisago bye nnafuna binaaba bitono oba binaaba bya maanyi, si na kindi okufiirwa obulamu bwange?’

Okumala ga ssa obulamu mu kabi olw’okwagala okwesanyusaamu, kiyinza okwonoona enkolagana Omukristaayo gy’alina ne Yakuwa, oba kiyinza okumuviirako okufiirwa enkizo z’alina mu kibiina. (1 Timoseewo 3:2, 8-10; 4:12; Tito 2:6-8) Kyeyoleka lwatu nti ne bwe tuba nga twesanyusaamu, tusaanidde okulowooza ku ngeri Omutonzi waffe gy’atwalamu obulamu.