Buuka ogende ku bubaka obulimu

Nnakkiriza Endowooza Katonda gy’Alina ku Musaayi

Nnakkiriza Endowooza Katonda gy’Alina ku Musaayi

Nnakkiriza Endowooza Katonda gy’Alina ku Musaayi

Omusawo Atubuulira Ebyafaayo Bye

NNALI mu kisenge ekimu mu ddwaliro nga ntegeeza basawo bannange ebyali bivudde mu kukebera omulambo. Omuntu eyali afudde yalina kookolo, era nnabagamba nti okufa kwe kwali kuvudde ku kuba nti obutoffaali bwe obumyufu bwali busesebbuse era nga n’ensigo ze ziremereddwa okukola olw’omusaayi omungi ogwali gumuteekeddwamu.

Omusawo omu eyali ku ddaala erya waggulu yayimirira n’aŋŋamba nga musunguwavu nti, “Kyotegeeza nti twamutaddeko ekika ky’omusaayi ekikyamu?” Nnamuddamu nti, “Ekyo si kye ntegeeza.” Nnabalaga ebifaananyi ebitali bimu eby’ensigo z’omufu, era ne mbagamba nti, “Mulabe obutundutundu bungi obw’otutoffaali obumyufu mu nsigo, era kino kiraga nti kye kyaviiriddeko ensigo okulekera awo okukola.” * Embeera yali ya bunkenke, era nnawulira nga ntidde nnyo. Wadde nga nze nnali nnaakatandika okukola ng’omusawo, ate nga ye yali musawo wa ku ddaala lya waggulu, nnali siyinza kusazaamu bye nnali njogedde.

Ebyo we byabeererawo nnali sinnaba kufuuka Mujulirwa wa Yakuwa. Nnazaalibwa mu 1943 mu kibuga Sendai, ekiri mu bukiikaddyo bwa Japan. Olw’okuba taata wange yali musawo, nange nnasalawo okusoma obusawo. Mu mwaka gwange ogw’okubiri nga nsoma obusawo, mu 1970, nnawasa omuwala ayitibwa Masuko.

Nneeyongera Okuyiga Ebisingawo Ebikwata ku Ndwadde

Masuko alina omulimu gwe yakolanga ogwatuyamba okweyimirizaawo nga bwe mmaliriza emisomo gyange. Bye nnasoma mu busawo byannyumira nnyo. Nneewuunya nnyo engeri omubiri gw’omuntu gye gwakolebwamu! Kyokka, nnali sikifumiitirizangako obanga ddala eriyo Omutonzi. Nnali ndowooza nti okunoonyereza ku by’ekisawo kye kyandifudde obulamu bwange okuba obw’amakulu. N’olwekyo, oluvannyuma lw’okufuuka omusawo, nnasalawo nneeyongera okusoma ebikwata ku ndwadde.

Lumu bwe nnali nkebera emirambo gy’abantu abaali bafudde kookolo, nnatandika okubuusabuusa obanga ddala kiyamba okussa omusaayi ku bantu. Abalwadde ababa ne kookolo akuze bayinza obutaba na musaayi gumala olw’okuba baba bavaamu omusaayi. Olw’okuba obujjanjabi obuweebwa abalwadde abo bwongera okubaviirako okuggwaamu omusaayi, emirundi mingi abasawo bagamba nti bateekebweko omusaayi. Kyokka nnatandika okwekengera nti okussaako omuntu omusaayi kiyinza okuba nga kyongera bwongezi kuleetera kookolo okusaasaana. Leero abasawo bakimanyi nti okussa omusaayi ku muntu kinafuya obusobozi bw’omubiri gwe obw’okulwanyisa endwadde, era ng’ekyo kiyinza okuviirako kookolo okwongera okusaasaana, emikisa gye egy’okuwona ne giba mitono. *

Embeera gye njogeddeko ku ntandikwa yaliwo mu 1975. Omusawo eyava mu mbeera yali mukugu mu ndwadde z’omusaayi, era ye yali ajjanjaba omuntu oyo eyafa. N’olwekyo tekyewuunyisa nti yanyiiga nnyo bwe yampulira nga ŋŋamba nti omulwadde yafa lwa kuteekebwako musaayi. Kyokka nnagenda mu maaso n’okutegeeza basawo bannange ebyo bye nnalina okubategeeza, era oluvannyuma omusawo oyo yakkakkana.

Tewaliba Bulwadde Wadde Okufa

Mu kiseera ekyo, omukyala Omujulirwa wa Yakuwa eyali omukulu mu myaka yajja okukyalira mukyala wange. Mu mboozi gye yanyumya ne mukyala wange, yakozesa ekigambo “Yakuwa” era mukyala wange yamubuuza “Yakuwa” kye kitegeeza. Omukyala oyo yaddamu nti, “Yakuwa lye linnya lya Katonda ow’amazima.” Masuko yalinga asoma Bayibuli okuviira ddala mu buto, naye Bayibuli gye yali asoma baali bagiggyamu erinnya lya Katonda ne bateekamu ekigambo “MUKAMA.” Kati yali akitegedde nti Katonda alina erinnya!

Mukyala wange yatandikirawo okuyiga Bayibuli n’omukyala oyo. Bwe nnakomawo awaka okuva mu ddwaliro, ku ssaawa nga musanvu ogw’ekiro, mukyala wange yaŋŋamba nga musanyufu nnyo nti, Bayibuli egamba nti, “Obulwadde n’okufa bijja kuggwaawo!” Nnamuddamu nti, “Ekyo nga kirungi!” Yeeyongera n’aŋŋamba nti, “Okuva bwe kiri nti ensi empya eneetera okujja, saagala oyonoone biseera byo.” Nze nnalowooza nti yali aŋŋamba nti ndekere awo okukola ng’omusawo. Ekyo kyannyiiza nnyo, era twatandika okuba n’obutakkaanya.

Mukyala wange teyaggwaamu maanyi. Yasaba nnyo Yakuwa, era n’anoonya ebyawandiikibwa ebituukirawo n’abindaga. Ebigambo ebiri mu Omubuulizi 2:22, 23 bye byasinga okunkwatako. Wagamba nti: “Omuntu aganyulwa ki mu kukola ennyo ne mu kutegana kw’ategana wansi w’enjuba? . . . Ekiro omutima gwe teguwummula. Ekyo nakyo butaliimu.” Ekyawandiikibwa ekyo kyali kiragira ddala embeera gye nnalimu. Ebiseera byange byonna nnali mbimalira ku mulimu, kyokka nga sirina ssanyu lya nnamaddala.

Lumu ku Ssande mu Jjulaayi 1975, mukyala wange bwe yali agenze mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, nange nnasalawo okugenda. Mukyala wange yeewuunya nnyo okundaba nga ŋŋenze mu nkuŋŋaana, era Abajulirwa ba Yakuwa bannyaniriza n’essanyu. Okuva olwo, nnatandika okugendanga mu nkuŋŋaana buli lwa Ssande. Nga wayise omwezi nga gumu, omu ku Bajulirwa ba Yakuwa yatandika okunjigiriza Bayibuli. Nga wayise emyezi ng’esatu okuva Abajulirwa ba Yakuwa lwe baasooka okukyalira mukyala wange, mukyala wange yabatizibwa.

Nnakkiriza Ekyo Katonda ky’Agamba ku Musaayi

Mangu ddala nnakitegeera nti Bayibuli eragira Abakristaayo ‘okwewala omusaayi.’ (Ebikolwa 15:28, 29; Olubereberye 9:4) Okuva bwe kiri nti nnali mbuusabuusa obujjanjabi obuzingiramu okuteekebwako omusaayi, saafuna buzibu bwonna kukkiriza ekyo Katonda ky’agamba ku musaayi. * Muli nnagamba nti, ‘Bwe kiba nti eriyo Omutonzi, era nga kino ky’agamba, ky’agamba kiteekwa okuba nga kye kituufu.’

Ate era nnakitegeera nti ekibi kye twasikira okuva ku Adamu, kye kituviirako okulwala n’okufa. (Abaruumi 5:12) Mu kiseera ekyo nnali nsoma ku bulwadde bw’emisuwa. Bwe tugenda tukula, emisuwa gyaffe gitandika okukakanyala n’okufunda, ne kituviirako okufuna endwadde ezikosa omutima, obwongo, n’ensigo. Nnakiraba nti kikola amakulu okuba nti obutali butuukirivu bwaffe bwe butuviirako okufuna ebizibu ebyo. Bwe kityo, obunyiikivu bwe nnalina mu by’obujjanjabi bwaddirira. Yakuwa Katonda yekka y’asobola okuggyawo endwadde n’okufa.

Mu Maaki 1976, nga wayise emyezi musanvu bukya ntandika okuyiga Bayibuli, nnalekera awo okusoma ku yunivasite. Nnatya nti nnali sigenda kuddamu kukola ng’omusawo, naye nnafuna omulimu ku ddwaliro eddala. Nnabatizibwa mu Maayi 1976. Nnakiraba nti engeri esingayo obulungi ey’okukozesaamu obulamu bwange, kwe kuba omubuulizi w’amawulire amalungi ow’ekiseera kyonna, oba payoniya. Era nnatandika obuweereza obwo mu Jjulaayi 1977.

Nnyinyonnyola Abalala Ekyo Katonda ky’Agamba ku Musaayi

Mu Noovemba 1979, nze ne Masuko twagenda mu kibiina ekirala awaali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako. Nnafuna omulimu mu ddwaliro erimu, ogwali gutanneetaagisa kukola kiseera kyonna. Ku lunaku lwe nnasooka okugenda okukola, abasawo abalongoosa baakuŋŋaanira wendi. Bambuuza nti, “Okuva bwe kiri nti oli Mujulirwa wa Yakuwa, kiki ky’onookola ng’ojjanjaba omulwadde eyeetaaga okuteekebwako omusaayi?”

Nnabannyonnyola mu bukkakkamu nti nnali nja kugondera etteeka lya Katonda erikwata ku musaayi. Nnabagamba nti waaliwo enzijanjaba endala eziteetaagisa kukozesa musaayi, era nti nnali nja kukola kyonna kye nsobola okuyamba abalwadde. Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo okumala essaawa ng’emu, oyo eyali akulira abasawo abalongoosa yagamba nti, “Nkitegeera. Bwe banaaleeta omulwadde avuddemu omusaayi omungi, ffe tujja kumukolako.” Oyo eyali akulira abasawo abalongoosa yali amanyiddwa ng’omuntu omuzibu, naye oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo okwo twafuuka ba mukwano era yassanga ekitiibwa mu nzikiriza zange.

Nnagondera Etteeka Erikwata ku Musaayi ne mu Mbeera Enzibu

Bwe twali tuweerereza mu kibiina kye twali tugenzeemu mu Chiba, ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa mu Japan lyatandika okuzimbibwa mu Ebina. Nze ne mukyala wange twagendangayo omulundi gumu buli wiiki okujjanjaba Abajulirwa ba Yakuwa abaali bakola nga bannakyewa mu kuzimba ebizimbe by’ettabi eryo, eriyitibwa Beseri. Oluvannyuma lw’emyaka mitono, twayitibwa okuweerereza ku Beseri ekiseera kyonna. Bwe kityo, mu Maaki 1981, twatandika okubeera mu bizimbe ebitali bya nkalakkalira bannakyewa abazimbi abaali basukka mu 500 mwe baali basula. Ku makya, nnayambangako mu kulongoosa ebinaabiro ne kaabuyonjo, ate olw’eggulo ne nkeberanga abalwadde.

Omu ku balwadde be nnali nzijanjaba yali mwannyinaffe ayitibwa Ilma Iszlaub, eyava mu Australia n’ajja mu Japan okuweereza ng’omuminsani mu 1949. Yalina kookolo w’omusaayi, era abasawo baamugamba nti yali asigazzaayo emyezi mitono afe. Ilma yagaana okuteekebwako omusaayi era n’asalawo nti ekiseera ekyali kisigaddeyo k’akimale ku Beseri. Mu kiseera ekyo, eddagala eriyamba omubiri okukola obutoffaali obumyufu, gamba ng’eryo eriyitibwa erythropoietin, lyali terinnaba kuzuulibwa. Bwe kityo, ebiseera ebimu yabanga n’obutoffaali obumyufu butono ddala mu musaayi gwe! Naye nnakola kyonna kye nsobola okumujjanjaba. Ilma yeeyongera okunywerera ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku musaayi, okutuusa lwe yafa mu Jjanwali 1988, nga wayiseewo emyaka musanvu.

Emyaka bwe gizze giyitawo, bannakyewa abawerako abakolera ku ttabi lya Japan ery’Abajulirwa ba Yakuwa bafunye obujjanjabi obuzingiramu okulongoosebwa. Ekirungi kiri nti abasawo mu malwaliro agaliraanyeewo bakkirizza okubalongoosa awatali kukozesa musaayi. Emirundi mingi mbaddenga mpitibwa okubeerawo mu kisenge we balongooseza okulaba engeri gye balongoosaamu, era ebiseera ebimu mbaddenga nneenyigira mu kulongoosa okwo. Nsiima nnyo abasawo abassa ekitiibwa mu nzikiriza y’Abajulirwa ba Yakuwa ekwata ku musaayi. Okukolera awamu nabo kimpadde akakisa okubabuulira ku ebyo bye nzikiririzaamu. Gye buvuddeko awo, omu ku basawo abo yabatizibwa n’afuuka Omujulirwa wa Yakuwa.

Olw’okuba abasawo bayize okulongoosa Abajulirwa ba Yakuwa nga tebakozesa musaayi, abantu abalala nabo bakiganyuddwamu. Kati kimanyiddwa nti abalwadde bwe batateekebwako musaayi nga balongoosebwa, bawona mangu.

Nneeyongera Okuyigira ku Musawo Asinga Bonna

Nfuba okweyongera okumanya ebipya ebiba bizuuliddwa mu kujjanjaba. Kyokka era nneeyongera okuyigira ku Yakuwa, Omusawo asinga bonna. Talaba ekyo kyokka kye tuli kungulu, naye alaba n’ekyo kye tuli munda. (1 Samwiri 16:7) Ng’omusawo, ngezaako okujjanjaba omuntu nga mmutwala nga bw’ali yenna, so si kutunuulira bulwadde bwokka. Ekyo kinsobozesa okujjanjaba omulwadde mu ngeri ennungi.

Okuba nti nkyeyongera okuweereza ku Beseri n’okuyamba abalala okuyiga ebikwata ku Yakuwa, nga mwe muli n’okubalaga endowooza gy’alina ku musaayi, kye kimu ku bisinga okundeetera essanyu. Kinsanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa Katonda, Omusawo asinga bonna, anaatera okuggyawo endwadde n’okufa.—Byayogerwa Yasushi Aizawa.

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 4 Ekitabo ekiyitibwa Modern Blood Banking and Transfusion Practices ekyawandiikibwa Dr. Denise M. Harmening kigamba nti “eky’obutoffaali obumyufu okusesebbuka kibaawo ku mulwadde ateekeddwako omusaayi, ali olubuto, oba ateekeddwamu ekitundu ky’omubiri eky’omuntu omulala.” Mu mbeera ng’eyo, bwe bakebera omusaayi gw’omulwadde aba agenda okuteekebwako omusaayi, ebiva mu kukebera okwo “tebiraga kizibu kiba mu musaayi.” Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Dailey’s Notes on Blood, omuntu asobola okufuna ekizibu “ky’obutoffaali okusesebbuka ne bw’aba ng’ateekeddwamu omusaayi mutono nnyo, kasita guba nga tegukwatagana na musaayi gwe. Ensigo bwe zirekera awo okukola, ziba tezikyasobola kuggya bukyafu mu musaayi.”

^ lup. 8 Magazini eyitibwa Journal of Clinical Oncology, eya Agusito 1988, yagamba nti: “Abalwadde abatateekebwako musaayi nga balongoosebwa baba n’emikisa mingi egy’okuwona okusinga abo abateekebwako omusaayi.”

^ lup. 16 Okumanya ebisingawo ku ekyo Bayibuli ky’eyogera ku musaayi, laba akatabo How Can Blood Save Your Life? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu]

“Nnabagamba nti waaliwo enzijanjaba endala eziteetaagisa kukozesa musaayi, era nti nnali kukola kyonna kye nsobola okuyamba abalwadde”

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu]

“Kati kimanyiddwa nti abalwadde bwe batateekebwako musaayi nga balongoosebwa, bawona mangu”

[Ebifaananyi]

Wagulu: Nga njigiriza ebikwata ku Bayibuli

Ku ddyo: Nze ne mukyala wange Masuko, leero