Ennyambala n’Okwekolako Byali Nkonge Gyendi
Ennyambala n’Okwekolako Byali Nkonge Gyendi
BYAYOGERWA EILEEN BRUMBAUGH
MU DDIINI gye nnakuliramu kyali kitwalibwa nti omuntu okwambala engoye ez’emisono oba okukozesa ebintu ebikozesebwa ku mulembe guno, kiraga nti omuntu oyo wa nsi ya Sitaani. Eddiini eyo yatandikira mu Bugirimaani mu 1708. Ekitabo ekiyitibwa The Encyclopedia of Religion kigamba nti eddiini eyo yatandikibwawo oluvannyuma lw’abantu abamu okukitwala nti “buli muntu yali yeetaaga okuwulira amawulire agakwata ku Kristo.” Bwe kityo baasindika abaminsani mu nsi ezitali zimu.
Mu 1719, ekibinja ekyalimu abantu abatonotono ekyali kikulemberwa Alexander Mack kyagenda mu ssaza ly’Amerika kati eriyitibwa Pennsylvania. Okuva olwo ebibinja ebirala byatandikibwawo okuva mu kibinja ekyo ekyasooka, era nga buli kimu ku bibinja ebyo kiri ku lwakyo. Buli kimu ku bibinja ebyo kyali kinnyonnyola mu ngeri ya njawulo enjigiriza za Alexander Mack. Akabinja kaffe kaalimu abantu nga 50. Kyali kitwalibwa nti kikulu nnyo okusoma Bayibuli n’okugondera buli kimu abakulu b’eddiini yaffe kye baasalangawo.
Bazadde bange ne bajjajjange baali mu ddiini eyo. Nze nnabatizibwa mu ddiini eyo nga nnina emyaka 13. Baatuyigiriza nti kikyamu okukozesa oba okubeera n’emmotoka, tulakita, essimu, leediyo, oba ekintu ekirala kyonna ekikozesa amasannyalaze. Ffe abakazi twalina kwambala ngoye ezitali za musono, tetwasalanga nviiri zaffe, era twalina okusiba akatambaala ku mutwe oba okwambala enkofiira. Abasajja baakuzanga ebirevu. Twali tulowooza nti obutaba ba nsi kyali kizingiramu obutambala ngoye eziri ku mulembe, obuteekolako, n’obutambala majolobero, kubanga twali tukitwala nti omuntu akozesa ebintu ebyo aba mwonoonyi era nga wa malala.
Twayigirizibwa okussa ennyo ekitiibwa mu Bayibuli kubanga Kigambo kya Katonda. Buli ku makya nga tetunnalya kya nkya, twakuŋŋaaniranga mu ddiiro ne tuwuliriza taata ng’atusomera essuula emu okuva mu Bayibuli era n’abaako by’agyogerako. Oluvannyuma ffenna twafukamiranga, taata n’asaba. Ekyo bwe kyaggwanga, maama yasabanga essaala ya Kitaffe Ali mu Ggulu. Nneesunganga nnyo ekiseera ekyo, kubanga ffenna ng’amaka twabeeranga wamu nga tufumiitiriza ku bintu ebikwata ku Katonda.
Twali tubeera ku faamu okumpi n’akabuga Delphi, mu ssaza lya Indiana, era twalimanga ebintu eby’enjawulo. Ebintu bye twakungulanga twabiteekanga mu kigaali ekyasikibwanga embalaasi ne tubitwala okubitunda ku nguudo oba nnyumba ku nnyumba. Twali tukitwala nti okukola ennyo kye kimu ku bizingirwa mu kuweereza Katonda. Bwe kityo twakolanga n’obunyiikivu okuggyako ku lwa Ssande, olw’okuba twali tulutwala nti lunaku lwa Ssabbiiti. Kyokka oluusi twemaliranga nnyo ku mirimu gye twakolanga ku faamu, ne tulemererwa okwenyigira mu by’omwoyo.
Nfumbirwa
Mu 1963, bwe nnali wa myaka 17, nnafumbirwa James, era nga naye yali mu ddiini y’emu. Bazadde ba James awamu ne bajjajjaabe abaali bazaala taata we nabo baali mu ddiini eyo. Ffembi twali twagala nnyo okuweereza Katonda, era twali tulowooza nti eddiini yaffe ye yokka eyali eddiini entuufu.
Omwaka gwa 1975 we gwatuukira, twali tuwezezza abaana mukaaga, era omwana waffe ow’omusanvu era eyasembayo, twamuzaala mu 1983. Rebecca, omwana waffe ow’okubiri, ye muwala yekka gwe twalina. Twali tukola nnyo, nga tusaasaanya kitono, era tetwalina bintu bingi. Twafuba nnyo okuyigiriza abaana baffe ebintu bazadde baffe n’abantu abalala bye baatuyigiriza okuva mu Bayibuli.
Mu ddiini yaffe, endabika ey’okungulu yali etwalibwa nga kintu kikulu nnyo. Twali tulowooza nti okuva bwe kiri nti tewali muntu ayinza kumanya kiri mu mutima gwa muntu mulala, engeri omuntu gy’ayambalamu eraga ekyo ky’ali munda. N’olwekyo, singa omuntu yalanganga nnyo enviiri ze, twali tukitwala nti ekyo kiraga nti alina amalala. Singa omuntu yayambalanga olugoye oluliko ebimuli ebinene oba ebigambo ebinene, ekyo nakyo twali tukitwala nti kyoleka amalala. Oluusi amateeka ago twagatwalanga nga makulu nnyo n’okusinga ebyo ebiri mu Bayibuli.
Omu ku b’Eŋŋanda Zaffe Ayigira Amazima mu Kkomera
Mu myaka gy’enkaaga, omu ku baganda b’omwami wange ayitibwa Jesse, era naye eyali mu ddiini yaffe, yasibibwa mu kkomera olw’okugaana okuyigira amagye. Eyo mu kkomera yasisinkanayo Abajulirwa ba Yakuwa, era nabo abakitwala nti okuyingira mu magye kikontana n’ebyo Bayibuli by’eyigiriza. (Isaaya 2:4; Matayo 26:52) Jesse yanyumirwa nnyo okukubaganya ebirowoozo n’Abajulirwa ba Yakuwa era yayagala nnyo ebintu bye baamuyigiriza. Oluvannyuma lw’okuyigirizibwa Bayibuli, Jesse yabatizibwa n’afuuka Omujulirwa wa Yakuwa. Ekyo kyatuyisa bubi nnyo!
Jesse yabuulirako omwami wange James ku bintu bye yali ayize. Ate era yakola enteekateeka James afunenga magazini za Watchtower ne Awake! obutayosa. Okusoma magazini ezo kyaleetera James okwagala okumanya ebisingawo ebiri mu Bayibuli. Okuva bwe kiri nti James yali ayagala nnyo okuweereza Katonda, kyokka ng’emirundi mingi awulira nti Katonda amuli wala, yali ayagala nnyo ekintu kyonna ekyandimuyambye okusemberera Katonda.
Abakulembeze b’eddiini yaffe baatukubirizanga okusoma obutabo obwakubibwanga amadiini agaalina enzikiriza ezeefaanaanyirizaako ez’eddiini yaffe, wadde nga twali tukitwala nti amadiini ago gaali kitundu kya nsi. Kyokka taata wange yali tayagalira ddala Bajulirwa ba Yakuwa. Yali akitwala nti kyali kibi nnyo okusoma magazini za Watchtower ne Awake! Bwe kityo kyampisa bubi nnyo bwe nnalaba James ng’asoma magazini ezo. Nnatya nti yali agenda kukkiriza enjigiriza ez’obulimba.
Kyokka James yali amaze ekiseera nga takkiririza mu njigiriza ezimu ez’eddiini yaffe ze yali alaba nti zaali zikontana n’ekyo Bayibuli ky’eyigiriza; gamba ng’eyo egamba nti omuntu okukola omulimu gwonna ku Ssande kiba kibi. Ng’ekyokulabirako, mu ddiini yaffe baali bayigiriza nti kikkirizibwa okuwa ensolo amazzi ku Ssande, kyokka nti kyali kikyamu okukuulayo akaddo akamu mu ttaka ku Ssande. Tewali kyawandiikibwa kyonna abakulembeze b’eddiini yaffe kwe baali beesigamya tteeka eryo. Mpolampola, nange nnatandika okubuusabuusa enjigiriza ng’ezo.
Olw’okuba twali tumaze ekiseera kiwanvu nga tulowooza nti eddiini yaffe ye yokka ey’amazima, era nga tulowooza nti bwe twandivudde mu ddiini eyo obulamu tebwanditubeeredde bwangu, kyatubeerera kizibu nnyo okugivaamu. Kyokka muli twali tuwulira nti kikyamu okubeera mu ddiini ng’ebintu ebimu by’eyigiriza tebiva mu Bayibuli. Bwe kityo mu 1983, twawandiika ebbaluwa nga tunnyonnyola ensonga lwaki twali tugenda kuva mu ddiini eyo, era ne tusaba ebbaluwa eyo esomebwa mu maaso g’ekibiina kyonna. Bwe kityo, twagobebwa mu ddiini eyo.
Tunoonya Eddiini ey’Amazima
Twatandika okunoonya eddiini ey’amazima. Twali tunoonya eddiini erimu abantu abakolera ku ebyo bye bayigiriza abalala. Okusookera ddala, eddiini zonna ezeenyigira mu ntalo twakirabirawo nti nkyamu. Kyokka twali tukyalina endowooza egamba nti eddiini entuufu abagoberezi baayo balina okuba n’ebintu bitono ddala era tebalina kwambala ngoye za misono, kubanga ekyo kiraga nti ba nsi. Okuva mu 1983 okutuuka mu 1985, twatambula Amerika yokka nga tunoonyereza ku bibiina by’eddiini ebitali bimu, ebyalina endowooza ng’eyaffe.
Mu kiseera ekyo, Abajulirwa ba Yakuwa bajjanga ku faamu yaffe eyali okumpi n’akabuga Camden, mu ssaza lya Indiana. Twabawulirizanga era twabasabanga bakozese enkyusa ya Bayibuli eya King James Version yokka. Nnali nzikiriziganya n’Abajulirwa ba Yakuwa ku ndowooza gye baalina ku ntalo. Kyokka nnali mbatwala nti ba nsi era nti eddiini yaabwe yali teyinza kuba nga ya mazima, olw’okuba baali tebambala nga ffe. Nnali ndowooza nti amalala ge gaaleeteranga abantu okwambala engoye ez’emisono mu kifo ky’okwambala nga ffe. Ate era nnali ndowooza nti omuntu okuba n’ebintu ebingi kyali kimuleetera okuba ow’amalala.
James yatandika okugendanga ku Kizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa, era ng’agenda n’abamu ku batabani baffe. Yankubirizanga okugenda naye, naye nga sikkiriza. Naye lumu yaŋŋamba nti, “Wadde nga tokkiriziganya n’ezimu ku njigiriza zaabwe, ggwe gendayo bugenzi olabe engeri buli omu gy’ayisaamu munne.” Engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye baayisangamu bannaabwe yamukwatako nnyo.
Kyaddaaki nnakkiriza okugenda, naye nga nneegendereza nnyo. Nnayingira mu Kizimbe ky’Obwakabaka nga nnyambadde olugoye oluwanvu olutaalina musono gwonna, era nnali nnyambadde n’akakofiira kange. Abamu ku batabani baffe tebaali mu ngatto, era nabo engoye zaabwe tezaali za misono. Wadde kyali kityo, Abajulirwa ba Yakuwa bajja we twali era baatulaga okwagala kungi. Muli nnagamba nti, ‘Batusanyukidde, wadde nga tuli ba njawulo nnyo ku bo.’
Nnakwatibwako nnyo olw’okwagala kwe baatulaga, naye nnali nkyanyweredde ku ekyo ekyali kindeese; okulaba obulabi ekyali kigenda mu maaso. Bwe baayimirira okuyimba, nze saayimirira era saayimba nnyimba zaabwe. Olukuŋŋaana bwe lwaggwa, nnababuuza ebibuuzo bingi ku bintu ebitali bimu bye nnali ndowooza nti baali tebabikola mu ngeri ntuufu, ne ku makulu g’ebyawandiikibwa ebimu. Wadde nga seegenderezanga nga mbuuza ebibuuzo, buli muntu gwe nnabuuzanga, yanfangako nnyo. Ate era nneewuunya nnyo okuba nti bwe nnabuuza abantu ab’enjawulo ekibuuzo kye kimu, bonna banziramu mu ngeri y’emu. Oluusi ebyo bye banzirangamu baabimpandiikiranga, era ekyo kyannyamba nnyo kubanga nnaddangamu ne mbyekenneenya oluvannyuma.
Mu 1985, twagenda ku lukuŋŋaana olunene olw’Abajulirwa ba Yakuwa olwali mu kibuga Memphis, mu ssaza lya Tennessee. Naye twagenda kulaba bulabi kigenda mu maaso. James yali akyalina ekirevu ekiwanvu, era twayambala engoye zaffe empanvu ze twayambalanga mu ddiini gye twavaamu. Mu kiseera eky’okuwummulamu, kumpi buli ddakiika waabangawo omuntu eyajja okutubuuzaako. Twakwatibwako nnyo olw’okwagala kwe baatulaga n’olw’engeri gye baatufaako. Ate era twakwatibwako nnyo olw’obumu obwali mu Bajulirwa ba Yakuwa, kubanga ka wabe wa we twagenda okufunira enkuŋŋaana, enjigiriza zaabwe zaali ze zimu.
Okwagala Abajulirwa ba Yakuwa kwe baatulaga kwakwata nnyo ku James, bw’atyo n’akkiriza okuyiga Bayibuli. Yeekenneenyanga n’obwegendereza buli kye baamuyigirizanga, ng’ayagala okukakasa nti ge mazima. (Ebikolwa 17:11; 1 Abassessalonika 5:21) Oluvannyuma James yakiraba nti yali azudde amazima. Kyokka nze nnali nkyasobeddwa. Nnali njagala okukola ekituufu, kyokka nnali saagala kugoberera bintu ebiri ku mulembe, kubanga nnali nkitwala nti ekyo kyandindeetedde okuba “ow’ensi.” Lwe nnasooka okukkiriza okuyigirizibwa Bayibuli, nnalina enkyusa za Bayibuli bbiri; eya King James Version n’eyitibwa Enkyusa ey’Ensi Empya. Nnakebera buli lunyiriri mu nkyusa za Bayibuli zombi okusobola okukakasa nti sibuzaabuzibwa.
Kyaddaaki Nnakiraba nti Nnali Nzudde Amazima
Bwe twali tuyiga n’Abajulirwa ba Yakuwa, twakitegeera nti Kitaffe ow’omu ggulu Katonda omu, so si bakatonda basatu abali mu omu. (Ekyamateeka 6:4; 1 Abakkolinso 8:5, 6) Ate era twayiga nti bwe tufa tewaliiwo kintu kituvaamu ne kyeyongera okubaawo nga kiramu, era nti teriiyo muliro ogutazikira. (Yobu 14:13; Zabbuli 16:10; Omubuulizi 9:5, 10; Ebikolwa 2:31) Ekimu ku bintu ebyatuleetera okukakasa nti twali tuzudde amazima, ye njigiriza eyo ekwata ku muliro ogutazikira. Mu ddiini gye twalimu baali bakubagana empawa ku njigiriza eyo.
Kyokka muli nnali nkyebuuza nti eddiini y’Abajulirwa ba Yakuwa eyinza etya okuba nga ye ntuufu, ate nga kitundu kya nsi. Ng’ekyokulabirako, bakozesa ebintu ebikozesebwa ku mulembe guno era bambala engoye ez’omusono, ebintu bye nnali ntwala nti byali tebisaana. Kyokka ate mu kiseera kye kimu nnakiraba nti baali batuukiriza ekiragira kya Yesu ekikwata ku kubuulira abantu bonna amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Bwe kityo nnasoberwa nnyo!—Matayo 24:14; 28:19, 20.
Mu kiseera ekyo nga nsobeddwa, okwagala Abajulirwa ba Yakuwa kwe bandaga kwannyamba okweyongera okunoonyereza. Ekibiina kyonna kyali kifaayo ku maka gaffe. Ab’oluganda abatali bamu okuva mu kibiina kye twakuŋŋaanirangamu oluusi bwe bajjanga okutulaba nga balinga abazze okugula obuguzi amata oba amagi, twatandika okukiraba nti baali bantu balungi. Wadde nga waaliwo Omujulirwa wa Yakuwa eyali atusomesa, tekyagaananga Bajulirwa ba Yakuwa balala kujja mu maka gaffe. Bajjanga okutulabako ekiseera kyonna. Twakozesa akakisa ako okwongera okumanya Abajulirwa ba Yakuwa, era twasiima nnyo okwagala kwe baatulaga.
Abajulirwa ba Yakuwa abaali mu kibiina kye twakuŋŋaanirangamu si be bokka abaalaganga nti batufaako. Bwe nnali nga nkyasobeddwa ku nsonga ekwata ku nnyambala n’okwekolako, Omujulirwa wa Yakuwa ayitibwa Kay Briggs, eyali mu kibiina ekyali kiriraanye ekyaffe, yajja okunkyalira. Era naye yali tayambala ngoye za misono wadde okwekolako. Ono yannyanguyira nnyo okunyumya naye. Ate lumu ow’oluganda ayitibwa Lewis Flora, era naye mu kusooka eyaliko mu ddiini gye nnalimu, yajja okunkyalira. Ow’oluganda oyo yakiraba nti nnali nsobeddwa, era oluvannyuma yampeereza ebbaluwa ya miko kkumi ng’agezaako okunnyamba. Ekisa kye yandaga kyandeetera okukaaba, era ebbaluwa ye nnagisoma enfunda n’enfunda.
Nnasaba ow’Oluganda O’Dell, eyali omubuulizi akyalira ebibiina okunnyonnyola amakulu ga Isaaya 3:18-23 ne 1 Peetero 3:3, 4. Nnamubuuza nti: “Ennyiriri zino teziraga nti okusobola okusanyusa Katonda tulina okwewala okwekolako n’okwambala engoye ez’emisono?” Yambuuza nti: “Waliwo ekikyamu kyonna ekiri mu kwambala enkofiira eriko liboni? Oba, kikyamu okusiba enviiri?” Mu ddiini gye nnali nvuddemu, abaana abato abawala baasibibwanga enviiri, era abakazi baayambalanga enkofiira eziriko liboni. Nnalaba nti waaliwo obutakwatagana, era nnakwatibwako nnyo olw’ekisa omulabirizi w’ekitundu kye yandaga n’olw’obugumiikiriza bwe.
Mpolampola, nnagenda ntegeera amazima, naye waali wakyaliwo ensonga emu eyali embobbya omutwe—abakazi okusala enviiri. Abakadde baŋŋamba nti enviiri z’abakazi abamu teziwanvuwa nnyo, ate ez’abalala ziwanvuwa nnyo. Oluvannyuma bambuuza nti, ‘Okuba nti omukazi omu alina enviiri empavu, ekyo kimufuula okuba nti asinga oyo alina enviiri ennyimpi?’ Era bannyamba okukiraba nti bwe kituuka ku nnyambala n’okwekolako, buli omu alina okwesalirawo ng’asinziira ku muntu we ow’omunda. Ate era bampa n’eby’okusoma.
Twakolera ku Bye Twayiga
Twali tunoonya ekibala ekirungi, era twakizuula. Yesu yagamba nti: “Ku kino bonna kwe banaategeereranga nti muli bayigirizwa bange–bwe munaayagalananga.” (Yokaana 13:35) Twakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa be balaga okwagala okwa nnamaddala. Wadde kyali kityo, ekiseera ekyo tekyali kyangu eri abaana baffe ababiri abakulu, Nathan ne Rebecca, okuva bwe kiri nti baali bayigiriziddwa era nga babatiziddwa mu ddiini gye twalimu. Kyokka oluvannyuma, amazima agali mu Bayibuli ge twabayigiriza, awamu n’okwagala Abajulirwa ba Yakuwa kwe baabalaga, byabakwatako.
Ng’ekyokulabirako, Rebecca yalinga ayagala nnyo okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. Bwe yakitegeera nti ebintu ebituuka ku muntu Katonda aba teyabiteekateeka dda, kyamubeerera kyangu okumusaba. Ate era yeeyongera okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda bwe yakitegeera nti Katonda ali omu, so basatu mu omu, era nti yali asobola okumukoppa. (Abeefeso 5:1) Ate era kyamusanyusa okukitegeera nti kyali tekimwetaagisa kukozesa bigambo bizibu ng’asaba Katonda. Bwe yayiga engeri y’okusabamu Katonda era n’ekigendererwa kya Katonda eky’okufuula ensi ekifo ekirabika obulungi, kyamuleetera okweyongera okufuna enkolagana ey’oku lusegere n’Omutonzi we.—Zabbuli 37:29; Okubikkulirwa 21:3, 4.
Kati Ffenna Tuweereza Yakuwa
Nze, James, n’abaana baffe abataano abakulu—Nathan, Rebecca, George, Daniel, ne John—twabatizibwa mu 1987 ne tufuuka Abajulirwa ba Yakuwa. Harley yabatizibwa mu 1989, ate Simon yabatizibwa mu 1994. Ffenna ng’amaka tuli banyiikivu mu mulimu gw’okulangirira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, Yesu Kristo gwe yawa abagoberezi be.
Batabani baffe abataano abakulu—Nathan, George, Daniel, John, ne Harley, awamu ne muwala waffe Rebecca—bonna baaweerezaako ku ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa ey’omu Amerika. George akyaweereza ku ofiisi y’ettabi, era yaakamalayo emyaka 14, ate Simon, eyali yaamala okusoma mu 2001, naye kati aweerereza ku ofiisi y’ettabi. Batabani baffe bonna kati baweereza ng’abakadde oba abaweereza mu bibiina eby’enjawulo eby’Abajulirwa ba Yakuwa. Omwami wange aweereza ng’omukadde mu kibiina ky’e Thayer, mu Missouri, era nange ndi munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira.
Kati tulina abazzukulu basatu—Jessica, Latisha, ne Caleb—era kitusanyusa nnyo okulaba nga bazadde baabwe bafuba okubayigiriza okwagala Yakuwa. Tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa yatusembeza gy’ali era n’atuyamba okumanya abantu be, okuyitira mu kwagala kwe balaga.
Tulumirirwa nnyo abantu abaagala okusanyusa Katonda, kyokka abaayigirizibwa nti amateeka g’eddiini makulu okusinga ebyo ebiri mu Bayibuli. Tusuubira nti ekiseera kijja kutuuka nabo bafune essanyu lye tufuna mu kugenda nnyumba ku nnyumba, nga tetutunda birime, wabula nga tubuulira abantu amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, ne ku bintu ebirungi by’ajja okutukolera mu biseera eby’omu maaso. Bwe ndowooza ku kwagala okungi abantu ba Yakuwa kwe baatulaga n’okuba nti baali bagumiikiriza gye tuli, ebiyengeyenge binzija mu maaso!
[Ebifaananyi]
Bwe nnali nga nnina emyaka musanvu, ate oluvannyuma nga nkuze
[Ekifaananyi]
James, George, Harley, ne Simon, nga bali mu ngoye ze baayambalanga
[Ekifaananyi]
Ekifaananyi ekyo kye bankuba nga ntunda ebirime kyafulumira mu lupapula lw’amawulire olumu
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
Journal and Courier, Lafayette, Indiana
[Ekifaananyi]
Nga tuli wamu ng’amaka leero