Biki Bye Tuyigira ku Bitonde?
Biki Bye Tuyigira ku Bitonde?
“Buuza ebisolo, bijja kukuyigiriza; buuza n’ebinyonyi eby’omu bbanga, bijja kukubuulira. Oba weetegereze ensi, ejja kukuyigiriza; n’eby’ennyanja ebiri mu nnyanja bijja kukubuulira.”—YOBU 12:7, 8.
MU MYAKA egiyise, bannassaayansi ne bayinginiya balina ebintu bingi bye bayigidde ku bimera ne ku nsolo. Beekenneenyezza engeri ebitonde ebimu gye byakulamu era n’engeri gye bikolamu ebintu ebitali bimu, nga balina ekigendererwa eky’okukola ebintu ebipya n’okulongoosa mu ebyo bye baakola edda. Bw’oba osoma ebyokulabirako ebigenda okulagibwa, weebuuze, ‘Ani yatonda ebintu ebyo, era ani agwanidde okutenderezebwa?’
Bye Tuyigira ku Biwaawaatiro Bya Lukwata
Biki abakozi by’ennyonyi bye bayinza okuyigira ku lukwata eyitibwa humpback? Waliwo bingi bye bayinza okugiyigirako. Lukwata eyo enkulu ezitowa kilo nga 30,000, kwe kugamba, obuzito bwayo bwenkana obwa ttuleera eyeetisse ebintu. Omubiri gwayo mukalambavu, era erina ebintu ebikuba amazzi ebiringa ebiwaawaatiro. Ogusolo guno oguweza ffuuti 40 obuwanvu guwuga ku sipiidi awatali kukaluubirirwa kwonna. Ng’ekyokulabirako, okusobola okukwasa ebyennyanja by’eba egenda okulya, lukwata eno ewuga edda waggulu nga bwe yeetooloolera wansi w’ebyennyanja ebyo ate mu kiseera kye kimu nga bw’efuuwa ebyovu. Ebyovu ebyo bikola ng’akatimba akaweza obugazi bwa ffuuti ttaano, era bikwasa ebyennyanja. Oluvannyuma lukwata eyasama n’emira ekijjulo kyayo.
Ekisinga okwewuunyisa abanoonyereza, ye ngeri ekisolo kino ekirina omubiri omukalambavu gye kikyukamu nga kyetooloolera mu kafo katono. Baakizuula nti engeri ebintu bya lukwata ebikuba amazzi gye byakulamu y’egisobozesa okukola ekyo. Okwawukana ku biwaawaatiro by’ennyonyi ebitereevu, ebintu bya lukwata ebikuba amazzi biriko obugulumugulumu.
Obugulumugulumu obwo busobozesa lukwata okuwuga ng’edda waggulu era bugiyamba amazzi ne gatagiremesa kuwuga ku sipiidi. Ekyo kibaawo kitya? Akatabo akayitibwa Natural History kagamba nti obugulumugulumu obwo buleetera amazzi okuyita ku bintu bya lukwata ebikuba amazzi nga galinga ageetooloola, ekyo ne kisobozesa lukwata okwanguyirwa okuwuga ng’edda waggulu. Singa ebikuba amazzi tebyaliko bugulumugulumu obwo, lukwata eyo teyandisobodde kuwuga mu ngeri eyo.
Ebyo bye baazuula biyinza bitya okuba eby’omugaso eri abantu? Singa ebiwaawaatiro by’ennyonyi bikolebwa nga bifaananako ebintu bya lukwata ebikuba amazzi, ebiwaawaatiro ebyo byandibadde tebyetaagisa kuteekebwako biwujjo bingi. Ebiwaawaatiro ebyo byandibadde birungi era nga byangu okuddaabiriza. Munnassaayansi ayitibwa John Long agamba nti ekiseera kijja kutuuka “tube nga buli nnyonyi gye tulaba ebiwaawaatiro byayo biriko obugulumugulumu obulinga obwo obuli ku bikuba amazzi ebya lukwata eyitibwa humpback.”
Bayinginiya Bagezaako Okukoppa Ebiwaawaatiro by’Ekinyonyi Ekiyitibwa Enkunga
Abakozi b’ennyonyi baatandika dda okukoppa ebiwaawaatiro by’ebinyonyi. Kyokka kati beeyongedde okulongoosa mu ebyo bye baakoppa ku biwaawaatiro by’ebinyonyi. Magazini eyitibwa New Scientist egamba nti: “Bannassaayansi ku yunivasite y’e Florida, bakoze ddulooni ebuuka ng’enkunga. Ddulooni eno esobola okubeera mu bbanga mu kifo kimu, ate n’ekka ku sipiidi omulundi gumu, ate era n’eyambuka ku sipiidi.”
Enkunga zibuuka mu ngeri eyeewuunyisa nga zifunya era nga zigolola ebiwaawaatiro byazo mu nnyingo ez’omu makkati g’ebiwaawaatiro n’ezo eziri awo ebiwaawaatiro we byegattira ku mubiri. Magazini eyo era egamba nti bannassaayansi abaakola “ddulooni eno eweza inchi 24 baakoppa engeri enkunga gy’efunyamu ne gy’egololamu ebiwaawaatiro byayo. Ebiwaawaatiro bya ddulooni eno bigisobozesa okuyimirira mu bbanga mu kifo kimu, ate n’ekka omulundi gumu ng’egenda eyita mu bizimbe ebiwanvu. Eggye lya Amerika lyagala okukola ennyonyi ezikola nga ddulooni eno okusobola okunoonya eby’okulwanyisa eby’obutwa mu bibuga ebinene.
Okukoppa Obugere bw’Omunya
Tulina bingi bye tusobola okuyigira ne ku biramu ebitambula ku lukalu. Ng’ekyokulabirako, eminya egitera okubeera mu mayumba gitambulira ku bisenge, era oluusi gitambulira ne ku siiringi. Ne mu biseera eby’edda eminya egyo gyali gimanyiddwa olw’obusobozi bwagyo obwo obwewuunyisa. (Engero 30:28) Kiki ekisobozesa eminya egyo okwekwata ku bintu nga gyewunzise ne gitagwa?
Obugere bw’omunya ogwo tebuliimu ggaamu. Mu bibatu by’obugere bwagwo mulimu obuntu obutono obulinga obuviiri. Obuntu obwo bwe bugusobozesa okwerippa ne ku bintu ebiseerera, gamba ng’endabirwamu.
Ebyo ebizuuliddwa ku bugere bw’omunya biyinza kuganyula bitya abantu? Singa wakolebwayo ebintu ebyeyambisibwa okukwasa ekintu ekimu ku kinnaakyo nga bikola ng’obugere bw’omunya, biyinza okukozesebwa mu kifo kya Velcro. * Magazini eyitibwa The Economist yalaga nti omwekenneenya omu yagamba nti singa wakolebwayo ebintu ebikola ng’obugere bw’omunya, bisobola okubeera eby’omugaso ennyo mu by’enzijanjaba.”
Ani Asaanidde Okutenderezebwa?
Mu kiseera kino abakozi b’ebizungirizi bali mu kukola loboti erina amagulu amangi ng’etambula ng’enjaba. Ate bayinginiya mu Finland baamala dda okukola ttulakita ey’amagulu omukaaga esobola okuwalampa ebintu ebiba byekiise mu kkubo lyayo n’ebiyitako mu ngeri y’emu ng’ebiwuka ebinene bwe bikola. Ate bannassaayansi abalala bakoze ekika ky’olugoye oluliko obuntu obweggula ate ne bweggala okusobola okuyingiza oba okufulumya amazzi agaba mu mpewo, mu ngeri y’emu ng’ebisigo bya payini bwe bikola. Waliwo ekika ky’emmotoka kye bali mu kukola nga bakoppa ekyennyanja ekiyitibwa boxfish. Emmotoka eyo empewo tegireetera kukendeeza ku sipiidi yaayo. Bannassaayansi abalala bali mu kwekenneenya essonko ly’ekkovu eriyitibwa abalone nga balina ekigendererwa eky’okukola ebyambalo ebiwewuka ebitayitamu masasi.
Waliwo ebintu bingi nnyo ebirungi abanoonyereza bye bazudde mu bitonde. Ebintu ebyo bye bazudde babiwandiise ne babitereka ku kompyuta. Bannassaayansi basobola okweyambisa ebintu ebyo ebyazuulibwa ne babaako ebintu bye bakola oba bye bagonjoola. Magazini eyitibwaThe Economist egamba nti: “Omuntu bw’abaako ekintu ekipya ky’ayiiyizza y’aba n’obwannannyini ku kintu ekyo. Mu ngeri y’emu, tuyinza okugamba nti ebitonde bye birina obwannannyini ku bintu ebizuulibwa.”
Kijja kitya okuba nti engeri ebitonde gye byakulamu n’engeri gye bikolamu ebintu eyoleka amagezi ag’ekitalo? Bannassaayansi bangi bagamba nti ebitonde byajjawo mu butanwa ne bigenda nga bifuukafuuka. Kyokka abalala bo balina ndowooza ndala. Ng’ekyokulabirako, munnassaayansi ayitibwa Michael Behe yagamba bw’ati mu lupapula lw’amawulire oluyitibwa New York Times mu 2005: “Okuba nti engeri ebitonde gye byakulamu n’engeri gye bikolamu ebintu eyoleka amagezi ag’ekitalo kikwatagana bulungi n’enjogera egamba nti, ‘Ekinyonyi bwe kiba nga kifaanana ng’embaata, kitambula ng’embaata, era nga kikaaba ng’embaata, tewaba kubuusabuusa kwonna nti eyo eba mbaata.’” Kiki kye yali ategeeza? “Okuba nti ebitonde byakula mu ngeri eyeewuunyisa era eyoleka amagezi, kiraga nti waliwo eyabikola.”
Tewali kubuusabuusa nti yinginiya ayiiya ebiwaawaatiro by’ennyonyi ebikola obulungi okusinga ebibaddewo y’agwana okutenderezebwa olw’ekyo ky’aba ayiiyizza. Mu ngeri y’emu, omuntu ayiiya olugoye olulungi oba kika ky’emmotoka ennungi ennyo, y’aba agwana okutenderezebwa. Mu butuufu, singa omuntu akoppa ekintu munne ky’aba ayiiyizza, naye n’atalaga nti ekintu ekyo si ye yakiyiiya oba nti yakoppa kikoppe, ayinza okuvunaanibwa.
Ggwe okiraba nti kikola amakulu okuba nti bannassaayansi abatendeke era abakugu, bakoppa ebitonde okusobola okukola ebintu ebitali bimu n’okugonjoola ebintu ebitali bimu, naye ne bagamba nti ebitonde ebyo bye bakoppa byajjawo mu butanwa? Bwe kiba nti ekintu ekyakoppebwa kyali kyetaagisa amagezi okusobola okukikola, ate olwo ekyo kye baakikoppako? Ddala ani agwanidde okutenderezebwa, omuntu eyakola ekintu mu ngeri ey’obukugu, oba omuyizi akoppa obukodyo bwe?
Obukakafu Kye Bulaga
Oluvannyuma lw’okulaba obukakafu obulaga nti ebintu byatondebwa, abantu bangi bakkiriziganya n’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Bye wakola nga bingi, Ai Yakuwa! Byonna wabikola n’amagezi. Ensi ejjudde ebintu bye wakola.” (Zabbuli 104:24) N’omuwandiisi wa Bayibuli omulala ayitibwa Pawulo naye yakiraba nti ebitonde byoleka nti ddala eriyo eyabitonda. Yagamba nti: “Engeri ze ezitalabika, kwe kugamba, amaanyi ge agataggwaawo n’Obwakatonda bwe, zirabikira ddala bulungi okuva ensi lwe yatondebwa, kubanga zitegeererwa ku bintu ebyatondebwa.”—Abaruumi 1:19, 20.
Kyokka abantu bangi abakkiririza mu Katonda era abatwala Bayibuli nti Kigambo kye, bagamba nti Katonda bwe yali atonda ebintu ayinza okuba nga yakozesa enkola ey’ebintu okugenda nga bifuukafuuka. Naye yo Bayibuli egamba ki?
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 15 Velcro akozesebwa mu kusiba ebintu. Abaako obuntu obulinga amalobo n’obuntu obwetooloovu. Obuntu obulinga amalobo buyingira mu buntu obwetooloovu ne bwekwata. Velcro naye yakoppebwa ku kimera ekimu.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu]
Kijja kitya okuba nti ebitonde byoleka amagezi ag’ekitalo?
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu]
Ani alina obwannannyini ku bitonde?
[Akasanduuko/Ebifaananyi]
Bwe kiba nti ekintu ekyakoppebwa obukoppebwa kyali kyetaagisa amagezi okusobola okukikola, ate olwo ekyo kye baakikoppako?
Abaakola ennyonyi eno baakoppa ebiwaawaatiro by’enkunga
Obugere bw’omunya tebukyafuwala, we buba bulinnye tebulekaawo bukyafu, kyenkana busobola okukwatira ku kintu kyonna, era busobola okuva mangu ku kintu kye buba bukwatiddeko. Bannassaayansi bagezaako okubukoppa
Abakozi b’emmotoka baatandika okukola emmotoka eyeefaanaanyirizaako ekyennyanja kino
[Ensibuko y’Ebifaananyi]
Airplane: Kristen Bartlett/University of Florida; gecko foot: Breck P. Kent; box fish and car: Mercedes-Benz USA
[Akasanduuko/Ebifaananyi]
AMAGEZI AGAABITONDERWAMU GABIYAMBA OKUMANYA GYE BIBA BIRAGA
Ebitonde bingi bikozesa “amagezi agaabitonderwamu” okumanya ekkubo lye birina okukwata okusobola okutuuka gye biba biraga. (Engero 30:24, 25) Ka tulabeyo ebyokulabirako bibiri.
◼ Entambula y’Ebiwuka Ebiwuka ebiba bigenze okunoonya emmere bimanya bitya ekkubo eribizza gye bisula? Bannassaayansi okuva mu bungereza baakizuula nti ng’oggyeeko okuba nti ebiwuka bino bigenda bireka olusu we biyita, era bikozesa amakoona n’amasaŋŋanzira agaba mu makubo ge biba bikoze ne bisobola okumanya ekkubo ettuufu eribizza gye bisula. Ng’ekyokulabirako, akatabo akayitibwa New Scientist kagamba nti: “Waliwo ebiwuka ebikola obukubo obuva we bisula, era obukubo obwo butuuka mu maaso eyo ne bweyawulamu amakubo ag’enjawulo, agamu nga galina amakoona manene ate ng’amalala galina amakoona matono.” Ekyo kibiyamba kitya? Ekiwuka bwe kiba kikomawo gye kisula ne kituuka mu masaŋŋanzira, kikwata ekkubo erisinga okuba n’ekkoona ettono, era kkubo eryo lye liba lidda gye kisula. Akatabo ako era kagamba nti, “Enkola eyo eyamba ebiwuka ebyo okutambula mu ngeri entegeke obulungi, naddala bwe kiba nti ebiwuka ebimu biba bigenda okunoonya emmere ate ng’ebirala bikomawo. Era kibiyamba n’obutamala maanyi mangi nga binoonya ekkubo ettuufu ery’okukwata.”
◼ Kampasi z’ebinyonyi Ebinyonyi bingi bitindigga eŋŋendo empanvu okuva mu kitundu ekimu eky’ensi ne bigenda mu kitundu ekirala eky’ensi mu kifo kyennyini kye biba byagala okugendamu. Era kino bikikola mu mbeera zonna ez’obudde. Ekyo bikikola bitya? Abanoonyereza bakizudde nti ebinyonyi ebyo bikozesa amaanyi g’ensi aga magineeti. Kyokka akatabo akayitibwa Science kagamba nti: “Amaanyi ga magineeti gagenda gakyuka mu bifo ebitali bimu eby’ensi, era mu bitundu ebimu galeetera kampasi obutasonga mu bukiikakkono.” Kiki ekisobozesa ebinyonyi obutawugulwa kudda ku luuyi lukyamu? Kirabika buli lwaggulo ng’enjuba egwa, ebinyonyi ebyo bigyeyambisa okutereeza kampasi eyabitonderwamu. Bannassaayansi bagamba nti okuva bwe kiri nti oluuyi enjuba gy’egwa lukyuka okusinziira ku kitundu ky’ensi n’ebiseera mu mwaka, ebinyonyi bituukana n’enkyukakyuka eyo nga bikozesa obusobozi obwabitonderwamu obw’okumanya ebiseera.
Ani yawa ebiwuka amagezi agabiyamba okumanya ekkubo lye birina okukwata? Ani yassa mu binyonyi kampasi n’obusobozi bw’okumanya ebiseera? Ekyo kyajjawo mu butanwa, oba eriyo Omutonzi ow’amagezi eyakikola?
[Ensibuko y’Ekifaananyi]
© E.J.H. Robinson 2004