Buuka ogende ku bubaka obulimu

Nnategeera Engeri Obutali Bwenkanya Gye Bujja Okumalibwawo

Nnategeera Engeri Obutali Bwenkanya Gye Bujja Okumalibwawo

Nnategeera Engeri Obutali Bwenkanya Gye Bujja Okumalibwawo

Byayogerwa Ursula Menne

Okuviira ddala mu buto, mbaddenga njagala nnyo okulaba nti buli muntu ayisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. Okwagala okulaba nti wabaawo obwenkanya, kyanviirako n’okusibibwa mu kkomera mu East Germany eyali efugibwa Abakomunisiti. Kyewuunyisa okuba nti eyo mu kkomera gye nnategeerera engeri obutali bwenkanya gye bujja okumalibwawo. Ka mbabuulire bwe byali.

NNAZAALIBWA mu 1922 mu Bugirimaani mu kibuga Halle, ekibaddewo okumala emyaka nga 1,200. Ekibuga Halle kiri mayiro nga 120 mu bukiikaddyo bwa Berlin, era nga kye kimu ku bibuga ebyasooka okubeeramu Abapolotesitante abangi. Muganda wange Käthe yazaalibwa mu 1923. Taata waffe yali mu magye. Ate ye maama yali muyimbi.

Eky’okwagala okulaba ng’obutali bwenkanya buggwaawo nnakiggya ku taata. Taata bwe yava mu magye, yatandikawo bizineesi y’edduuka. Olw’okuba bakasitoma be abasinga obungi baali banaku, yabawanga ebintu ku bbanja olw’okubasaasira. Kyokka ekyo kyaviirako bizineesi ye okugwa. Ekyo ekyatuuka ku taata kyandibadde kinnyamba okukiraba nti kizibu nnyo okumalawo obutali bwenkanya. Naye emyaka gy’obuvubuka gyali gimpaga.

Ekitone eky’okuyimba n’okuzina nnakiggya ku maama. Era nze ne Käthe maama yatuyigiriza okuyimba n’okuzina. Nnali mwana mukyamufu nnyo era nze ne Käthe twali tunyumirwa nnyo obulamu, okutuusa ebintu bwe byakyuka mu 1939.

Ebizibu eby’Amaanyi Bitandika

Bwe nnamala emisomo gya siniya, nnagenda mu ssomero gye batendeka okuzina, era nnayiga okuzina amazina agayitibwa Ausdruckstanz era omukyala eyali ayitibwa Mary Wigman ye yali atendeka abantu amazina ago. Mary Wigman y’omu ku abo abaatandikawo amazina ago, ageetaagisa omuntu okwoleka enneewulira ye mu mazina. Ate era nnatandika n’okusiiga ebifaananyi. Bwe kityo mu myaka gyange egy’obutiini egyasooka nnali musanyufu nnyo, era nnayiga ebintu ebitali bimu. Kyokka mu 1939, Ssematalo II yatandika. Ate mu 1941, twafuna ekizibu ekirala eky’amaanyi, taata bwe yafa obulwadde bw’akafuba.

Olutalo lubi nnyo. Wadde ng’olutalo we lwatandikira nnalina emyaka 17 gyokka, nnakiraba nti ensi yalinga egudde eddalu. Nnalaba ebibinja by’abantu edda abaalinga abantu balamu, nga balinga abalaluse olw’okuwagira Abanazi. Waaliwo okufa kungi, era n’ebintu byayonoonebwa nnyo. Emu ku bbomu ezaakubibwa yayonoona nnyo ennyumba yaffe, era nnafiirwa ab’eŋŋanda zange bangi mu lutalo olwo.

Olutalo lwaggwa mu 1945, era nze ne Maama ne Käthe, twali tukyabeera mu Halle. Naye mu kiseera ekyo nnali mufumbo era nga nnina omwana ow’obuwala, kyokka obufumbo bwange bwalimu ebizibu bingi. Nnayawukana n’omwami wange, era okuva bwe kiri nti nnalina okweyimirizaawo ne muwala wange, nnatandika okukola omulimu gw’okuzina n’okusiiga ebifaananyi.

Olutalo bwe lwaggwa, Bugirimaani yayawulibwamu ebitundu bina, era ekibuga kyaffe kyali mu kitundu ekyali kifugibwa Soviet Union. N’olwekyo, ffenna twali tulina okumanyiira enfuga y’Abakomunisiti. Mu 1949, ekitundu kya Bugirimaani kye twalimu, ekyali kiyitibwa East Germany, kyatandika okuyitibwa German Democratic Republic (GDR).

Obulamu Nga Tufugibwa Abakomunisiti

Mu kiseera ekyo maama yalwala, era nnalina okumulabirira. Nnafuna omulimu mu gavumenti. Ate era mu kiseera kye kimu nnatandika okukolagana n’abavubuka abaali bagezaako okwanika ebikolwa eby’obutali bwenkanya ebyali bikolebwa gavumenti. Ng’ekyokulabirako, omuvubuka omu yagaanibwa okuyingira mu yunivasite olw’okuba taata we yaliko mu kibiina ky’Abanazi. Omuvubuka oyo nnali mmumanyi bulungi, kubanga twateranga okuyimba naye. Muli nneebuuza nti, ‘Lwaki abonaabona olw’ekyo taata we kye yakola?’ Nneeyongerera ddala okukolagana n’abavubuka abo abaali bawakanya obutali bwenkanya, era nnasalawo okwenyigira mu kwekalakaasa. Lumu nnatimba n’ebipande ku kizimbe kya kkooti ey’omu kitundu gye twabeeranga.

Olw’okuba nnali nkola ng’omuwandiisi w’ekibiina ekimu ekyali kigamba nti kireetawo emirembe, nneeyongera okulaba obutali bwenkanya bwe nnali mpandiika agamu ku mabaluwa g’ekibiina ekyo, era ekyo kyammalirako ddala emirembe. Olw’eby’obufuzi, lumu ekibiina ekyo kyawandiika amabaluwa agaali googera ebintu eby’obulimba ku musajja omu omukadde eyali abeera mu West Germany nga kirina ekigendererwa eky’okuleetera abalala okumwekengera. Nnawulira bubi nnyo olw’obutali bwenkanya obwo, era ne nsalawo okukweka amabaluwa ago mu ofiisi. Bwe kityo amabaluwa ago tegaaweerezebwa.

“Omuntu Asingayo Okuba ow’Omutawaana mu Kisenge mwe Twali Tusibiddwa” Yannyamba Okufuna Essuubi

Mu Jjuuni 1951, abasajja babiri bajja ku ofiisi we nnali nkolera ne bankwata ne bantwala mu kkomera eriyitibwa Roter Ochse, oba Red Ox. Oluvannyuma lw’omwaka gumu banzigulako omusango gw’okuwakanya gavumenti. Waliwo omuyizi eyali andiddemu olukwe n’ategeeza poliisi nti nze nnali ntimbye ebipande ku kkooti. Okumpozesa kwali kwa kutuusa butuusa mukolo, kubanga tewali n’omu yafaayo kuwuliriza kwewozaako kwange. Nnasalirwa ekibonerezo kya kusibibwa emyaka mukaaga. Mu kiseera ekyo nnalwala ne ntwalibwa mu kisenge ekimu eky’eddwaliro ly’ekkomera omwali abakazi abalala 40. Bwe nnatunuulira abakazi abo, nnalaba nga bonna baali bennyamivu nnyo, era nnawulira nga nsobeddwa. Bwe ntyo nnadduka ne ŋŋenda ku luggi ne ntandika okulukuba.

Omukuumi yambuuza nti, “Oyagala ki?”

Nnamuddamu nti, “Njagala kuva mu kisenge kino. Bwe kiba kisoboka, munsibe nzekka. Sijja kubeera mu kisenge kino.” Kya lwatu nti teyampuliriza. Waayita akaseera katono, ne ndaba omukazi omu eyali ow’enjawulo ku balala. Yali alabika nga alina emirembe ku mutima. Bwe kityo nnasalawo okutuula okumpi naye.

Nneewuunya okuwulira ng’aŋŋamba nti, “Bw’oba osazeewo okutuula okumpi nange weegendereze! Abalala bakitwala nti nze muntu asingayo okuba ow’omutawaana mu kisenge kino, kubanga ndi Mujulirwa wa Yakuwa.”

Mu kiseera ekyo nnali simanyi nti gavumenti y’Abakomunisiti yali etwala Abajulirwa ba Yakuwa ng’ab’obulabe. Kye nnali mbamanyiiko kyokka kiri nti bwe nnali nkyali muto, Abayizi ba Bayibuli babiri (ng’Abajulirwa ba Yakuwa bwe baayitibwanga edda), baakyaliranga taata obutayosa. Mu butuufu nnajjukira taata ng’agamba nti, “Abayizi ba Bayibuli batuufu!”

Nnawulira nga nfunye obuweerero bwe nnasisinkana omukyala oyo ayitibwa Berta Brüggemeier. Nnamugamba nti, “Mbuulira ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa.” Okuva ku olwo, ebiseera ebisinga obungi twabimalanga tuli ffembi, era ng’emirundi egisinga tukubaganya ebirowoozo ku Bayibuli. Ekimu ku bintu bye nnayiga kwe kuba nti Yakuwa Katonda ow’amazima, alina okwagala, mwenkanya, era wa mirembe. Ate era nnayiga nti ajja kuggyawo ebintu byonna ebibi abantu ababi bye bakoze, era ajja kuggyawo n’abantu abanyigiriza abalala. Zabbuli 37:10, 11 wagamba nti: “Mu kaseera katono, ababi tebalibaawo . . . Naye abawombeefu balisikira ensi, era baliba basanyufu nnyo kubanga walibaawo emirembe mingi.”

Nsumululwa mu Kkomera era ne Nzirukira mu West Germany

Nnasumululwa mu 1956, nga mmaze emyaka egisukka mu etaano mu kkomera. Nga wayise ennaku ttaano nga mmaze okuva mu kkomera, nnaddukira mu West Germany. Mu kiseera ekyo nnalina abaana ab’obuwala babiri, Hannelore ne Sabine, era nnagenda nabo. Bwe nnali eyo nnagattululwa n’omwami wange, era ne nziramu okusisinkana Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe nnali njiga Bayibuli, nnakiraba nti nnalina okukola enkyukakyuka eziwerako okusobola okutuukanya obulamu bwange n’emitindo gya Yakuwa. Nnakola enkyukakyuka ezo era ne mbatizibwa mu 1958.

Nnaddamu okufumbirwa, naye ku luno omusajja gwe nnafumbirwa yali Mujulirwa wa Yakuwa, era yali ayitibwa Klaus Menne. Obufumbo bwaffe bwalimu essanyu, era twazaala abaana babiri, Benjamin ne Tabia. Eky’ennaku, Klaus yafiira mu kabenje emyaka nga 20 emabega, era okuva olwo mbadde nnamwandu. Naye essuubi erikwata ku kuzuukira limbudaabuda nnyo. Nkimanyi nti abafu bajja kuddamu babe balamu mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Lukka 23:43; Ebikolwa 24:15) Ate era nnina essanyu lingi olw’okuba abaana bange bonna abana baweereza Yakuwa.

Okuyiga Bayibuli kwannyamba okukiraba nti Yakuwa yekka y’asobola okuleetawo obwenkanya obwa nnamaddala. Obutafaananako bantu, amanyi bulungi embeera ze tubaamu era n’ebyo byonna bye tuba twayitamu. Okumanya ekyo kinnyambye okufuna emirembe ne mu kiseera kino, naddala bwe ndaba obutali bwenkanya. Omubuulizi 5:8 wagamba nti: “Bw’olabanga ow’obuyinza ng’anyigiriza omwavu era ng’akola ebitali bya bwenkanya n’ebitali bya butuukirivu mu ssaza lyo, teweewuunyanga. Kubanga ow’obuyinza oyo wabaawo amusingako amutunuulidde, era abo bombi wabaawo ababasingako.” Kya lwatu nti oyo ‘abasingako’ ye Mutonzi waffe. Abebbulaniya 4:13 wagamba nti: “Ebintu byonna byeruliddwa era birabibwa oyo gwe tugenda okunnyonnyola bye twakola.”

Bye Mpiseemu Emyaka Egisukka mu 90

Oluusi abantu bambuuza obulamu bwe bwali nga tufugibwa Abanazi ne bwe bwali nga tufugibwa Abakomunisiti. Obulamu wansi wa gavumenti ezo zombi tebwali bwangu. Era gavumenti ezo zombi okufaananako gavumenti endala zonna, zikyoleka bulungi nti abantu tebasobola kwefuga. Ekyo Bayibuli ky’egamba nti ‘omuntu abadde n’obuyinza ku munne n’amuyisa bubi,’ kituufu ddala.—Omubuulizi 8:9.

Bwe nnali nkyali muto, era nga mmala gakkiriza buli kye baŋŋamba, nnalowoozanga nti abantu basobola okussaawo obufuzi obusobola okuleetawo obwenkanya. Naye kati mmanyi ekituufu. Omutonzi waffe yekka y’asobola okuleetawo obwenkanya obwa nnamaddala mu nsi, era ajja kubuleetawo. Ajja kuggyawo abantu ababi bonna, era ensi efugibwe Omwana we Yesu Kristo, bulijjo akulembeza eby’abalala mu kifo ky’okukulembeza ebibye. Bayibuli eyogera bw’eti ku Yesu: “Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu.” (Abebbulaniya 1:9) Nneebaza nnyo Katonda olw’okundeeta eri Kabaka oyo omwenkanya, era nneesunga okufugibwa obufuzi bwe emirembe gyonna!

[Ekifaananyi]

Nga ndi ne bawala bange Hannelore ne Sabine nga twakatuuka mu West Germany

[Ekifaananyi]

Leero nga ndi ne mutabani wange, Benjamin, ne mukyala we, Sandra