KUBUUZA BIBUUZO | RACQUEL HALL
Omukazi Omuyudaaya Alaga Ensonga Lwaki Yakyusa Eddiini Gye Yalimu
Maama wa Racquel Hall Muyudaaya ow’omu Isirayiri, ate taata we wa mu Austria era nga naye yayingira eddiini y’Ekiyudaaya. Bajjajjaabe abazaala maama we baasengukira mu Isirayiri mu 1948, era ng’ogwo gwe mwaka Isirayiri ey’omu kiseera kino lwe yafuuka eggwanga eryetongodde. Abawandiisi ba magazini ya Awake! babuuza Racquel ekyamuleetera okukyusa eddiini ye ey’Ekiyudaaya.
Tubuulire ebikukwatako.
Nnazaalibwa mu America mu 1979. Bazadde bange baagattululwa nga nnina emyaka esatu. Maama wange yanjigiriza empisa n’obuwangwa bw’Ekiyudaaya, era nnasomera mu masomero g’Abayudaaya. Bwe nnali wa myaka musanvu, twagenda mu Isirayiri ne tumalayo omwaka gumu, era eyo nayo nnasomerayoko. Oluvannyuma, nze ne maama twasengukira mu Mexico.
Wadde nga mu kitundu gye twasengukira tewaaliyo kkuŋŋaaniro ly’Abayudaaya, nnasigala ngoberera obulombolombo bw’Abayudaaya. Nnakoleezanga emisubbaawa ku Ssabbiiti, nnasomanga Torah, era nnasabanga nga nkozesa akatabo k’essaala akayitibwa siddur. Ku ssomero nnagambanga bayizi bannange nti eddiini yange ye yasookawo. Nnali sisomangako bitabo bya Bayibuli abasinga obungi bye bayita Endagaano Empya, ebyogera ku buweereza bwa Yesu Kristo n’enjigiriza ze. Mu butuufu, maama yali yandabula obutasoma bitabo ebyo, ng’agamba nti byali bijja kunnyonoona.
Lwaki wasalawo okusoma Endagaano Empya?
Bwe nnaweza emyaka 17, nnaddayo mu America okumaliriza emisomo gyange. Nga ndi eyo, mukwano gwange eyali Omukristaayo yaŋŋamba nti obulamu bwange bwali tebusobola kuba bwa makulu nga sikkiririza mu Yesu.
Nnamuddamu nti, “Abantu abakkiririza mu Yesu baabula.”
Yambuuza nti, “Wali osomyeko ku Ndagaano Empya?”
Nnamuddamu nti “Nedda.”
Yanziramu nti, “Tolaba nga si kya magezi okumala gavumirira ekintu ky’otolina ky’okimanyiiko?”
Ebigambo bye byanzuukusa, kubanga bulijjo nnalinga nkitwala nti kya busiru omuntu okuwa endowooza ku kintu ky’atamanyi. Bwe ntyo, nnamusaba Bayibuli ye ne ngitwala eka ne ntandika okusoma Endagaano Empya.
Ebyo bye wasoma byakukwatako bitya?
Nneewuunya nnyo okukimanya nti abawandiisi b’Endagaano Empya baali Bayudaaya. Ate era gye nnakoma okusoma, gye nnakoma okukimanya nti Yesu yali Muyudaaya ow’ekisa, omwetoowaze, era eyayagalanga okuyamba abantu, so si okubakozesa okubaako bye yeefunira. Nnagenda ne mu tterekero ly’ebitabo ne nneeyazika ebitabo ebimwogerako. Naye tewali n’ekimu ku bitabo ebyo kyandeetera kuba mukakafu nti Yesu ye Masiya. Ebimu byali biraga nti Yesu Katonda. Ekyo nnali ndaba nga tekikola makulu kubanga Yesu bwe yali ku nsi yasabanga. Kati olwo yasabanga ani? Ate ekirala, Yesu yafa. So ng’ate Bayibuli eyogera bw’eti ku Katonda: “Ggwe tofa.” *
Wafuna otya eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo?
Nkimanyi nti amazima tegakubagana mpawa. Era nnali mumalirivu okuzuula amazima. Bwe kityo nnasaba Katonda mu bwesimbu nga bwe nkulukusa amaziga, era ogwo gwe mulundi gwe nnasooka okusaba nga sikozesa katabo ka ssaala. Olwali okumaliriza bwe nti okusaba, ne mpulira akonkona ku luggi. Abajulirwa ba Yakuwa babiri be baali bakonkona. Bampa akamu ku butabo bwabwe bwe bakozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. Akatabo ako awamu n’ebyo bye twakubaganyangako ebirowoozo, byankakasa nti ebyo bye bakkiririzaamu byesigamiziddwa ku Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, Abajulirwa ba Yakuwa tebakitwala nti mu Katonda omu mulimu bakatonda basatu era nti Yesu y’omu ku bakatonda abo, wabula bakitwala nti Yesu ‘Mwana wa Katonda,’ * era ye ‘mubereberye w’ebitonde bya Katonda.’ *
Waayita ekiseera kitono, ne nzirayo e Mexico, era ne nneeyongera okusoma n’Abajulirwa ba Yakuwa ebikwata ku bunnabbi obwogera ku Masiya. Nneewuunya nnyo okukiraba nti waliwo obunnabbi bungi nnyo obwogera ku Masiya! Naye era nnali nkyalimu okubuusabuusa. Nneebuuza: ‘Yesu yekka ye yatuukana n’Obunnabbi obwo? Kyandiba nti yakolanga ebintu mu bugenderevu asobole okutuukana n’obunnabbi obwogera ku Masiya?’
Kati olwo kiki ekyakuleetera okuba omukakafu nti Yesu ye Masiya?
Abajulirwa ba Yakuwa bandaga obunnabbi omuntu yenna bw’atayinza kubaako na ky’akolawo kutuukana nabwo. Ng’ekyokulabirako, ng’ebula emyaka egisukka mu 700, nnabbi Mikka yagamba nti Masiya yandibadde azaalibwa mu Besirekemu, eky’omu Buyudaaya. * Tewali muntu ayinza kusalawo wa gy’alina kuzaalibwa. Isaaya yawandiika nti Masiya yandittiddwa ng’omumenyi w’amateeka, kyokka nti ‘yandiziikiddwa mu bagagga.’ * Obunnabbi obwo bwonna bwatuukirira ku Yesu.
Ekintu ekisembayo ekyankakasiza ddala nti Yesu ye Masiya, kikwata ku lunyiriri lw’obuzaale bwe. Bayibuli yalaga nti Masiya yandibadde ava mu lunyiriri lwa Kabaka Dawudi. * Abayudaaya ab’edda, baaterekanga enkalala okwabanga ennyiriri z’obuzaale awaka, ne mu bifo bya lukale. Singa Yesu teyali wa mu lunyiriri lwa Dawudi, ekyo abalabe be bandikiraalaasizza! Naye tebaakikola kubanga tewaaliwo kubuusabuusa kwonna nti Yesu yali wa mu lunyiriri lwa Dawudi. Era oluusi Yesu abantu baamuyitanga “Omwana wa Dawudi.” *
Mu mwaka 70 E.E., nga wayise emyaka 37 bukya Yesu afa, amagye g’Abaruumi gaazikiriza Yerusaalemi, era ebiwandiiko by’ennyiriri z’obuzaale ne bisaanawo. N’olwekyo Masiya okusobola okumanyibwa nga bakozesa ennyiriri z’obuzaale bwe, yalina okulabika ng’omwaka 70 E.E. tegunnatuuka.
Okumanya ekyo kyakukwatako kitya?
Mu Ekyamateeka 18:18, 19, Katonda yagamba nti yandibadde aleeta mu Isirayiri nnabbi alinga Musa. Era yagattako nti, “Omuntu ataliwuliriza bigambo byange by’alyogera mu linnya lyange, ndimuvunaana.” Bwe nnasoma Bayibuli yonna ne ngimalako, saasigalamu kubuusabuusa kwonna nti Yesu ow’e Nazaaleesi ye nnabbi oyo.
^ lup. 17 Okubikkulirwa 3:14, King James Version.
^ lup. 21 Isaaya 9:6, 7; Lukka 1:30-32. Matayo essuula 1 eraga olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu okuyitira mu taata we, ate Lukka essuula 3, eraga olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu okuyitira mu maama we.