Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Yakuwa Yatulaga Ekisa eky’Ensusso mu Ngeri Nnyingi

Yakuwa Yatulaga Ekisa eky’Ensusso mu Ngeri Nnyingi

BWE yali akyali muvubuka, taata yali ayagala nnyo Katonda era ng’ayagala kufuuka mukulu w’eddiini y’Ekipolotesitante. Kyokka ekiruubirirwa kye ekyo kyakyuka bwe yasoma ebitabo by’Abayizi ba Bayibuli era n’atandika okukuŋŋaana nabo. Yabatizibwa mu 1914 nga wa myaka 17. Mu kiseera ekyo Ssematalo I yali agenda mu maaso era taata baamugamba ayingire amagye. Naye olw’okuba yagaana okukwata eby’okulwanyisa, yasindikibwa mu kkomera ly’e Kingston Ontario, mu Canada, amaleyo emyezi kkumi. Bwe yateebwa, taata yayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna n’atandika okuweereza nga kolopoota (payoniya).

Mu 1926, Arthur Guest yawasa Hazel Wilkinson. Maama wa Hazel yali yayiga amazima mu 1908. Nze nnazaalibwa nga Apuli 24, 1931, era nze mwana ow’okubiri mu baana abana Arthur ne Hazel be baazaala. Taata wange yali ayagala nnyo Bayibuli era naffe yatuleetera okugyagala. Ffenna awaka okusinza Yakuwa kye kintu ekyali kisingayo obukulu mu bulamu bwaffe. Twateranga okubuuliranga awamu nnyumba ku nnyumba.Bik. 20:20.

NANGE SAALIKO LUDDA LWE MPAGIRA MU BY’OBUFUZI ERA NNAWEEREZA NGA PAYONIYA

Ssematalo II yabalukawo mu 1939, era mu mwaka ogwaddako omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa gwawerebwa mu Canada. Mu kiseera ekyo, mu masomero mangi, abaana baalina okukubira bbendera saluti n’okuyimba oluyimba lw’eggwanga. Nze ne mwannyinaze Dorothy baatugobanga mu kibiina bwe baabanga bakubira bbendera saluti oba nga bayimba oluyimba lw’eggwanga. Lumu omusomesa yagezaako okunswaza ng’agamba nti nnali mutiitiizi. Bwe twali tumaze okusoma, bayizi bannange abawerako baatandika okunvuma era ne bansindika ne ngwa. Naye ekyo kyandeetera okwongera okuba omumalirivu ‘okugondera Katonda so si bantu.’Bik. 5:29.

Nnabatizibwa mu Jjulaayi 1942, nga ndi wa myaka 11, era bambatiriza mu kipipa ekyali ku faamu emu. Mu biseera by’oluwummula nnateranga okuweereza nga payoniya omuwagizi. Lumu nnagenda n’ab’oluganda abamu okubuulira abasalamala abaali babeera mu kitundu ekimu ekyesudde mu bukiikakkono bwa Ontario.

Nga Maayi 1, 1949, nnatandika okuweereza nga payoniya owa bulijjo. Okuva bwe kiri nti ofiisi y’ettabi ey’omu Canada yali ezimbibwa, nnayitibwa okuyambako mu mulimu ogwo era oluvannyuma, nga Ddesemba 1, nnayitibwa okuweereza ku Beseri y’omu Canada. Nnakolanga gwa kukuba bitabo era nnayiga okukozesa ebyuma ebikuba ebitabo. Nzijukira okumala ennaku eziwerako nga nkola ekiro kiramba okukuba tulakiti ezaali zikwata ku kuyigganyizibwa Abajulirwa ba Yakuwa mu Canada kwe baali bayitamu.

Oluvannyuma lw’ekiseera, bwe nnali nga nkolera mu Kitongole eky’Obuweereza, nnayogerako ne bapayoniya abaali bagenda okuweerereza mu Quebec, awaali okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Omu ku bapayoniya abo yali ayitibwa Mary Zazula eyali ava mu Edmonton, Alberta. Olw’okuba Mary ne mwannyina, Joe, baagaana okulekera awo okuyiga Bayibuli, bazadde baabwe ab’eddiini y’Ekisoddookisi baabagoba awaka. Mary ne Joe bombi baabatizibwa mu Jjuuni 1951, era oluvannyuma lw’emyezi mukaaga baatandika okuweereza nga bapayoniya. Bwe nnali mbuuza bapayoniya abo, nnakiraba nti Mary yali ayagala nnyo Yakuwa. Nnakiraba nti Mary ye mukazi gwe nnali njagala okuwasa. Twafumbiriganwa oluvannyuma lw’emyezi mwenda, nga Jjanwali 30, 1954. Oluvannyuma lwa wiiki emu, twayitibwa okutendekebwa mu mulimu ogw’okukyalira ebibiina era emyaka ebiri egyaddirira twagimala tukyalira ebibiina mu bukiikakkono bwa Ontario.

Omulimu gw’okubuulira bwe gwagenda gweyongera okugaziwa, wajjawo obwetaavu bw’abaminsani. Nze ne Mary twagamba nti bwe kiba nti twali tusobodde okugumira obunnyogovu n’ensiri mu Canada tusobola okuweerereza Yakuwa buli wamu. Twayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 27 era ne tumaliriza emisomo egyo mu Jjulaayi 1956. Omwezi gwa Noovemba we gwatuukira, twali twamala dda okutuuka mu Brazil, gye twali tusindikiddwa.

TUWEEREZA NG’ABAMINSANI MU BRAZIL

Bwe twatuuka mu Brazil, twatandika okuyiga Olupotugo. Twasooka ne tuyiga ebigambo ebyangu ebyanditusobozesezza okutandika okunyumya n’abantu. Era twakwatayo ennyanjula ennyangu ez’okukozesa nga tugaba magazini. Oluvannyuma bwe twagenda okubuulira, twasanga omukazi eyayagala ennyo okuwuliriza obubaka bwaffe. Twali tusazeewo nti singa omuntu yenna atuwuliriza, twandimusomeddeyo ekyawandiikibwa ekiraga engeri obulamu gye buliba nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda. N’olwekyo, omukyala oyo nnamusomera Okubikkulirwa 21:3, 4 era oluvannyuma ne nzirika! Nnali sinnamanyiira bbugumu lya mu nsi eyo, era kyantwalira ekiseera okulimanyiira.

Twaweerereza mu kibuga Campos, era kati ekibuga ekyo kirimu ebibiina 15. We twatuukirayo, waaliyo ekibinja kimu ekyesudde era n’amaka g’abaminsani agaalimu bannyinaffe bana: Esther Tracy, Ramona Bauer, Luiza Schwarz, ne Lorraine Brookes (kati ayitibwa Wallen). Obuvunaanyizibwa bwange mu maka g’abaminsani gwali gwa kwoza ngoye na kussennya nku. Lumu ku Bbalaza ekiro oluvannyuma lw’okusoma Omunaala gw’Omukuumi, waliwo ekintu ekyabaawo. Mukyala wange yali agalamidde mu ntebe era ng’omutwe agutadde ku katto nga tunyumya ku bye twali tuyiseemu mu lunaku. Bwe yayimusa omutwe ng’asituka, wansi w’akatto waafubutukayo omusota era waaliwo akasattiro okutuusa lwe nnagutta!

Oluvannyuma lw’okumala omwaka gumu nga tuyiga Olupotugo, nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Twaweereza mu bitundu by’ebyalo awataali masannyalaze era twebakanga ku mikeeka. Twatambuliranga mu biggaali ebisikibwa embalaasi. Lumu twagenda okubuulira mu kabuga akamu akasangibwa mu bitundu by’ensozi, era ennyumba gye twasulamu twapangisa mpangise. Ofiisi y’ettabi yatusindikira magazini 800 ez’okukozesa nga tubuulira. Twagenda enfunda n’enfunda ku posita okukima bbookisi za magazini.

Mu 1962, Essomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka lyakubirizibwa mu bitundu bya Brazil ebitali bimu era lyalimu ab’oluganda ne bannyinaffe abaminsani. Nnamala emyezi mukaaga nga nsomesa ab’oluganda ne bannyinaffe mu Manaus, Belém, Fortaleza, Recife, ne Salvador, naye nga siri na Mary. Nnategeka olukuŋŋaana lwa disitulikiti mu kizimbe ekimu mu Manaus. Olw’okuba enkuba yatonnya nnyo, tetwalina mazzi mayonjo ga kunywa era tetwalina kifo kirungi ab’oluganda we bandisobodde kuliira mmere. (Mu kiseera ekyo, emmere yagabulwanga ku nkuŋŋaana ennene.) Nnayogerako n’omukulu w’amagye omu ne mmubuulira ku kizibu kyaffe. Yakola enteekateeka n’atufunira amazzi ag’okunywa era yasindika abasirikale ne batuzimbira weema bbiri ennene, emu ne tugikozesa okufumbiramu ate endala ne tugikozesa okuliiramu emmere.

Bwe nnali siriiwo, Mary yabuulirako mu kitundu ekimu awakolerwa bizineesi ekyalimu abantu abangi abaali bavudde e Portugal. Abantu abo baali tebaagala kuwuliriza bubaka obuva mu Bayibuli. Mary yawulira bubi n’agamba mikwano gye nti, “Portugal ye nsi gye saagala kugenda kuweererezaamu.” Kyokka waayita ekiseera kitono ne tufuna ebbaluwa nga tusindikiddwa okugenda okuweerereza mu Portugal, ate ng’omulimu gwaffe mu nsi eyo gwali guwereddwa. Ekyo kyewuunyisa nnyo Mary. Wadde kyali kityo, twakkiriza okugenda e Portugal.

NGA TULI E PORTUGAL

Twatuuka mu kibuga Lisbon ekya Portugal, mu Agusito 1964. Poliisi y’omu Portugal yali eyigganya nnyo ab’oluganda. N’olwekyo, twakiraba nti tekyali kya magezi kunoonya ba luganda amangu ddala nga twakatuuka mu Portugal. Twasooka kubeera mu nnyumba entono gye twapangisa. Bwe twamala okufuna viza, twapangisa ennyumba endala enneneko. Oluvannyuma lw’emyezi ettaano, twakiraba nti kati twali tusobola okunoonya ab’oluganda era bwe kityo twakuba essimu ku ofiisi y’ettabi. Kyatuleetera essanyu lingi okukuŋŋaana awamu n’ab’oluganda oluvannyuma lw’emyezi ettaano!

Okuva bwe kiri nti omulimu gwaffe gwali guwereddwa, abapoliisi baalumbanga amaka g’ab’oluganda. Ate era olw’okuba Ebizimbe by’Obwakabaka byali biggaddwa, enkuŋŋaana twazifuniranga mu maka g’ab’oluganda. Abajulirwa ba Yakuwa bangi baatwalibwanga ku poliisi ne babuuzibwa ebibuuzo. Okusingira ddala poliisi yatulugunya ab’oluganda ng’eyagala bagibuulire amannya g’abo abaali bakubiriza enkuŋŋaana. Bwe kityo, ab’oluganda baalekera awo okukozesa amannya gaabwe ag’ekika, era mu kifo ky’ekyo ne bakozesanga amannya gaabwe amalala. Ekyo naffe kye twakola.

Ekintu kye twali tutwala ng’ekikulu kwe kukakasa nti bakkiriza bannaffe bafuna emmere ey’eby’omwoyo. Obuvunaanyizibwa bwa Mary bwali bwa kuwandiika ebyo ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu bitabo ebirala ku lupapula olw’enjawulo. Oluvannyuma twakozesanga olupapula olwo mu kukola kopi z’ebitabo eby’okuwa ab’oluganda.

OKULWANIRIRA AMAWULIRE AMALUNGI MU MATEEKA

Mu Jjuuni 1966, waliwo omusango ogwawawaabirwa mu kooti y’omu Lisbon. Ab’oluganda bonna 49 ab’omu kibiina ky’e Feijó baawozesebwa nga babalanga okuba n’enkuŋŋaana mu maka g’ow’oluganda omu. Bwe baali tebannagenda mu kkooti, nnabateekateeka ne nneefuula nga looya eyali agenda okubalumiriza. Twali tukimanyi nti bajja kutusingisa omusango, naye era twali bakakafu nti ekyo kyanditusobozesezza okuwa obujulirwa. Looya waffe yakomekkereza ng’ajuliza ebigambo bya Gamalyeri eyaliwo mu kyasa ekyasooka. (Bik. 5:33-39) Ebikwata ku musango ogwo byafulumira ku mikutu gy’amawulire, era ab’oluganda abo 49 baasibibwa mu kkomera ebbanga eriri wakati w’ennaku 45 n’emyezi ettaano n’ekitundu. Twasanyuka nnyo okulaba nga looya waffe oyo atandise okuyiga Bayibuli, era we yafiira yali atandise n’okujja mu nkuŋŋaana.

Mu Ddesemba 1966, nnalondebwa okuba omulabirizi w’ettabi era nnamala ebiseera bingi nga nnwanirira amawulire amalungi mu mateeka. Twakola kyonna ekisoboka okulaba nti tuleetera gavumenti ya Portugal okukkiriza Abajulirwa ba Yakuwa okusinza Katonda waabwe awatali kuziyizibwa. (Baf. 1:7) Kyaddaaki, nga Ddesemba 18, 1974, omulimu gwaffe gwakkirizibwa mu mateeka. Ow’oluganda Nathan Knorr ne Frederick Franz, okuva ku kitebe kyaffe ekikulu, bajja mu Portugal okusanyukira awamu naffe. Twafuna olukuŋŋaana olw’enjawulo mu Oporto ne mu Lisbon era abantu 46,870 baaluliko.

Yakuwa era yasobozesa omulimu gw’okubuulira okugaziwa ne gutuuka ne ku bizinga ebitali bimu gye boogera Olupotugo. Muno mwe muli ekizinga ky’e Azores, Cape Verde, Madeira, n’eky’e São Tomé ne Príncipe. Omuwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa bwe gwagenda gweyongera obungi, kyali kyetaagisa okugaziya ofiisi y’ettabi. Era bwe yamala okugaziyizibwa, Ow’oluganda Milton Henschel yajja n’awa emboozi ey’okugiwaayo, nga Apuli 23, 1988. Ab’oluganda 45,522 be baaliwo ku mukolo ogwo, nga mw’otwalidde n’abaminsani 20 abaaweererezaako mu Portugal.

TWAGANYULWA MU BYOKULABIRAKO EBIRUNGI

Mu myaka gye mmaze nga mpeereza Yakuwa, ŋŋanyuddwa nnyo mu byokulabirako ebirungi ab’oluganda abeesigwa bye bataddewo. Waliwo kye nnayigira ku w’Oluganda Theodore Jaracz bwe nnamuwerekerako ku lukyala lwa zooni. Ofiisi y’ettabi gye twali tukyalidde yalina ekizibu eky’amaanyi. Wadde ng’ab’oluganda ku Kakiiko k’Ettabi baali bakoze kyonna ekisoboka okukigonjoola, ekizibu ekyo kyali kiremeddewo. Naye Ow’oluganda Jaracz yabagamba nti: “Muwe omwoyo omutukuvu omwagaanya gubayambe.” Emyaka mingi emabega, bwe twali tukyaddeko ku Beseri y’e Brooklyn, nze ne mukyala wange Mary awamu n’abalala twakyalirako Ow’oluganda Franz. Ow’oluganda Franz bwe twamusaba okubaako ky’ayogera ku myaka gy’amaze ng’aweereza Yakuwa, yatugamba nti: “Kye nnyinza okwogera kiri nti: Munywerere ku kibiina kya Yakuwa, embeera ne bw’eba nzibu etya. Kye kibiina kyokka ekikola omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda, Yesu gwe yalagira abayigirizwa be okukola.”

Nze ne mukyala wange tukoledde ku magezi ago, era ekyo kituleetedde essanyu lingi nnyo. Era kituleetera essanyu lingi buli lwe tulowooza ku biseera bye twamala nga tukyalira ab’oluganda mu nsi ezitali zimu. Twanyumirwanga nnyo okubeerako awamu n’ab’oluganda ab’emyaka egy’enjawulo n’okubakakasa nti Yakuwa asiima emirimu gye bakola. Twabakubirizanga okweyongera okumuweereza.

Nze ne Mary tuli mu myaka 80 era kati tukaddiye. Mary alwalalwala. (2 Kol. 12:9) Naye ebizibu bye tufunye bituyambye okunyweza okukkiriza kwaffe era bituleetedde okwongera okuba abamalirivu okusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa. Bwe tulowooza ku kiseera kye tumaze nga tuweereza Yakuwa, tukiraba nti ddala Yakuwa atulaze ekisa eky’ensusso mu ngeri nnyingi. *

^ lup. 29 Ekitundu kino bwe kyali kiteekebwateekebwa, Douglas Guest yafa nga mwesigwa eri Yakuwa nga Okitobba 25, 2015.