Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Etteeka eriri mu Eby’Abaleevi 19:16 erigamba nti “tossanga obulamu bwa munno mu kabi” lirina makulu ki, era kiki kye tuyigamu?

Yakuwa yagamba Abayisirayiri okuba abatukuvu. Okusobola okukola ekyo, yabagamba nti: “Togendanga ng’owaayiriza abalala mu bantu bo. Tossanga obulamu bwa munno mu kabi. Nze Yakuwa.”​—Leev. 19:2, 16.

Mu Lwebbulaniya, ebigambo “tossanga obulamu bwa munno mu kabi” obutereevu bisoma nti “toyimiriranga kulwanyisa musaayi gwa munno.” Ebigambo ebyo birina makulu ki? Ekitabo ekimu eky’Abayudaaya ekinnyonnyola ebiri mu kitabo ky’Eby’Abaleevi kigamba nti: “Ekitundu kino eky’olunyiriri . . . kizibu okutegeera kubanga kizibu okumanya amakulu gennyini agali mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekyakozesebwa, obutereevu ekitegeeza, ‘toyimirira ku, okuliraana, oba okumpi’ n’omusaayi gwa munno.”

Abeekenneenya ba Bayibuli abamu bakwataganya ebigambo ebyo n’olunyiriri 15 olugamba nti: “Temusalanga musango mu ngeri etali ya bwenkanya. Teweekubiiranga ku ludda lw’omwavu oba olw’omugagga. Olamulanga munno mu bwenkanya.” (Leev. 19:15) Bwe kiba bwe kityo, ebigambo ebiri mu lunyiriri 16 ebigamba nti toyimiriranga kulwanyisa musaayi gwa munno biba bitegeeza nti Abayisirayiri tebaalina kukola kintu kyonna kitali kya bwenkanya nga waliwo ensonga ezitwaliddwa mu maaso g’omulamuzi, mu bya bizineesi, oba mu maka, era nti Omuyisirayiri teyalina kukola kintu kyonna kitali kya bwesigwa ng’alina by’ayagala okwefunira. Kyo kituufu nti tetulina kukola bintu ebyo, naye waliwo engeri esingako gye tusaanidde okutegeeramu ebigambo ebiri mu lunyiriri 16.

Lowooza ku bigambo ebisooka mu lunyiriri olwo. Katonda yagamba abantu be obutawaayiriza balala. Kijjukire nti okuwaayiriza kisingawo ku kukola obukozi olugambo. Kyo kituufu nti olugambo luyinza okuvaamu ebizibu, naye ate okuwaayiriza kibi nnyo n’okusingawo. (Nge. 10:19; Mub. 10:12-14; 1 Tim. 5:11-15; Yak. 3:6) Omuntu awaayiriza omulala amwogerako eby’obulimba ng’alina ekigendererwa eky’okwonoona erinnya lye. Omuntu awaayiriza ayinza okwogera eby’obulimba ku muntu omulala wadde ng’akimanyi nti kiyinza okuviirako omuntu oyo okufiirwa obulamu bwe. Ng’ekyokulabirako, waliwo abasajja abaawaayiriza Nabbosi, ne kimuviirako okufiirwa obulamu bwe. (1 Bassek. 21:8-13) Mazima ddala, omuntu awaayiriza asobola okussa obulamu bwa munne mu kabi nga bwe kiragibwa mu kitundu eky’okubiri ekya Eby’Abaleevi 19:16.

Ate era omuntu bw’awaayiriza omulala, kiba kiraga nti amulinako obukyayi. 1 Yokaana 3:15, wagamba nti: “Buli atayagala muganda we aba mutemu, era mumanyi nti tewali mutemu alina obulamu obutaggwaawo.” Kituukirawo okuba nti Katonda bwe yamala okwogera ebigambo ebiri mu Eby’Abaleevi 16:16, yagattako nti: “Tokyawanga muganda wo mu mutima gwo.”​—Leev. 19:17.

Abakristaayo balina ekintu ekikulu kye bayinza okuyiga mu Eby’Abaleevi 19:16. Tetusaanidde kuba na ndowooza mbi ku balala, wadde okubawaayiriza. Bwe twogera eby’obulimba ku mulala olw’okuba tetumwagala oba olw’okuba tumukwatirwa obuggya, tuyinza okussa obulamu bwe mu kabi era ekyo kiba kiraga nti twamukyawa. Ekyo Abakristaayo basaanidde okukyewalira ddala.​—Mat. 12:36, 37.