Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBYAFAAYO

Nnakkiriza Yakuwa Okunkulembera mu Kkubo Lye Ntambuliramu

Nnakkiriza Yakuwa Okunkulembera mu Kkubo Lye Ntambuliramu

BWE nnali mu myaka gy’obutiini, nneeronderawo ekkubo ery’okutambuliramu, kwe kugamba, omulimu gw’okukola okweyimirizaawo, era nnali njagala nnyo omulimu ogwo. Naye Yakuwa yannonderawo ekkubo eddala ery’okutambuliramu, era yalinga aŋŋamba nti: “Nja kukuwa amagezi era nkulage ekkubo ly’olina okuyitamu.” (Zab. 32:8) Okukkiriza Yakuwa okunnonderawo ekkubo ery’okutambuliramu kinsobozesezza okukozesa obulamu bwange okumuweereza, era kinviiriddemu emikisa mingi, nga mwe muli n’ogw’okumala emyaka 52 nga mpeereza mu Afirika.

NSINDIKIBWA OKUWEEREZA MU AFIRIKA

Nnazaalibwa mu 1935 mu kabuga akayitibwa Darlaston, akasangibwa mu kitundu kya Bungereza ekiyitibwa Black Country (Ensi Enzirugavu). Ekitundu ekyo kyatuumibwa erinnya eryo olw’ekikka ekikwafu ekyavanga mu makolero amangi agaliyo. Bwe nnali nga ndi wa myaka ng’ena, bazadde bange baatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe nnali nnaakayingira emyaka egy’obutiini, nnakikakasa nti bye nnali njiga ge mazima, era nnabatizibwa mu 1952 nga nnina emyaka 16.

Mu kiseera kye kimu ekyo, nnafuna omulimu mu kkolero erimu eryali likola ebitundu by’emmotoka ebitali bimu, era nnakolanga bwe ntendekebwa. Nnatendekebwa okuba omuwandiisi wa kampuni, era omulimu ogwo nnali ngwagala nnyo.

Kyokka lumu nnayolekagana n’okusalawo okw’amaanyi. Omulabirizi akyalira ebibiina bwe yali akyalidde ekibiina kyaffe, yansaba ntandike okukubirizanga olukuŋŋaana lw’okusoma ekitabo olwabangawo wakati mu wiiki mu kibiina ekyali mu kitundu ky’e Willenhall gye nnali mbeera. Nnawulira nga nsobeddwa, kubanga mu kiseera ekyo nnali nkuŋŋaanira mu bibiina bibiri. Mu wiiki wakati nnakuŋŋaaniranga mu kibiina ekyali okumpi ne gye nnali nkolera mu Bromsgrove, ekyali mayilo ng’abiri okuva ewaffe. Ate ku wiikendi nnaddangayo eka mu bazadde bange era nnakuŋŋaaniranga mu kibiina ky’omu Willenhall.

Olw’okuba nnali njagala okuwagira ekibiina kya Yakuwa, nnakiriza ekyo omulabirizi kye yaŋŋamba wadde ng’ekyo kyali kitegeeza nti nnalina okulekayo omulimu gwe nnali njagala ennyo. Olw’okuba nnakkiriza Yakuwa okunkulembera mu kkubo lye nnina okutambuliramu, kinsobozesezza okufuna essanyu lingi mu bulamu.

Bwe nnali nkyakuŋŋaanira mu kibiina ky’e Bromsgrove, nnasisinkana mwannyinaffe ayitibwa Anne alabika obulungi ennyo era ayagala ennyo Yakuwa. Twafumbiriganwa mu 1957, era twaweerereza wamu nga bapayoniya aba bulijjo, bapayoniya ab’enjawulo, twakola omulimu gw’okukyalira ebibiina, era ne tuweereza ne ku Beseri. Anne andeetedde essanyu lingi nnyo.

Mu 1966, twasanyuka nnyo bwe twayitibwa mu ssomero lya Gireyaadi erya 42. Oluvannyuma twasindikibwa okuweerereza mu Malawi, ensi omuli abantu abamanyiddwa okuba ab’ekisa ennyo era abasembeza abalala. Kyokka twali tetumanyi nti tetwali ba kumala mu Malawi kiseera kiwanvu.

TUWEEREREZA MU KISEERA EKY’EBYAFAAYO MU MALAWI

Emmotoka ey’ekika kya Jeep gye twakozesanga mu mulimu gw’okukyalira ebibiina mu Malawi

Twatuuka mu Malawi nga Febwali 1, 1967. Oluvannyuma lw’okumala omwezi gumu nga tuyigirizibwa olumu ku nnimi ezoogerwa mu nsi eyo, nnatandika okukola ng’omulabirizi wa disitulikiti. Emmotoka gye twalina yali ya kika kya Jeep, era abamu baali balowooza nti yali esobola okuyita buli wamu nga mwe muli ne mu migga. Wadde nga bangi baali balowooza bwe batyo, yali esobola kuyita mu mazzi agatali mawanvu gokka. Oluusi twasulanga mu nnyumba ez’ettaka ezaaserekebwa n’essubi, era nga mu biseera eby’enkuba kyetaagisa okuteekako ettundubaali waggulu. Mu butuufu, we twatandikira okuweereza ng’abaminsani obulamu tebwali bwangu, naye twanyumirwa!

Mu Apuli nnakitegeera nti twali twolekedde obuzibu obw’amaanyi. Nnawulira ku leediyo okwogera kw’omukulembeze wa Malawi eyali ayitibwa Hastings Banda. Yagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa baali tebasasula misolo era nti baali ba bulabe eri gavumenti. Kya lwatu nti ebyo bye yayogera tebyali bituufu. Ffenna twali tukimanyi nti ekyamuviirako okwogera bw’atyo kwe kuba nti twali tetulina ludda lwe tuwagira mu by’obufuzi, era nga twagaana n’okugula kkaadi z’ebibiina by’eby’obufuzi.

Mu Ssebutemba twasoma amawulire agaali galaga nti pulezidenti yali agambye nti Abajulirwa ba Yakuwa baali bantu ba mutawaana mu Malawi. Mu lukuŋŋaana olumu olw’eby’obufuzi pulezidenti oyo yagamba nti gavumenti ye yali agenda kuyisa mu bwangu etteeka eriwera Abajulirwa ba Yakuwa mu Malawi. Etteeka eryo lyayisibwa nga Okitobba 20, 1967. Nga wayise ekiseera kitono, abapoliisi n’abamu ku bakungu ba gavumenti bajja ku ofiisi y’ettabi okugiggalawo era n’okugoba abaminsani mu Malawi.

Mu 1967, nze ne Anne, awamu n’abaminsani abalala, Jack ne Linda Johansson twakwatibwa era ne tugobebwa mu Malawi

Oluvannyuma lw’okumala ennaku ssatu mu kkomera, twatwalibwa mu Mauritius, ensi eyali efugibwa Bungereza. Kyokka ab’obuyinza mu Mauritius tebaatukkiriza kusigalayo ng’abaminsani. N’olwekyo, twasindikibwa mu Rhodesia (kati eyitibwa Zimbabwe). Bwe twatuukayo, twasisinkana omukungu eyali omukambwe ennyo era eyatugaana okuyingira mu nsi eyo. Yatugamba nti: “Mwagobeddwa mu Malawi era mwagaaniddwa n’okusigala mu Mauritius, kati mwagala okujja mu nsi yaffe olw’okuba mulaba nti yo terina buzibu.” Anne yatandika okukaaba. Kyalinga gy’obeera nti tewali n’omu yali atwagala! Mu kiseera ekyo nnawulira nga njagala kuddayo waffe mu Bungereza. Oluvannyuma abakungu baatukkiriza okusula ku ofiisi y’ettabi, kyokka ne batugamba nti enkeera twalina okugenda okubalaba ku ofiisi yaabwe. Twali bakoowu, naye ensonga twazireka mu mikono gya Yakuwa. Enkeera nga tuzzeeyo ku ofiisi, twakkirizibwa okusigala mu Zimbabwe ng’abagenyi, era ekyo twali tetukisuubira. Siryerabira ngeri gye nnawuliramu ku lunaku olwo. Nnali mukakafu nti Yakuwa yali aluŋŋamya ekkubo lyaffe.

MPEEREZA MU MALAWI NGA NSINZIIRA ZIMBABWE

Nga ndi ne Anne ku Beseri y’omu Zimbabwe mu 1968

Ku ttabi ly’e Zimbabwe nnali nkola mu Kitongole ky’Obuweereza, era twali tulabirira omulimu gw’Obwakabaka mu Malawi ne mu Mozambique. Ab’oluganda mu Malawi baali bayigganyizibwa nnyo. Mu bimu ku ebyo bye nnali nkola mwe mwali okuvvuunula lipoota abalabirizi abaali bakyalira ebibiina mu Malawi ze baawerezanga. Lumu akawungeezi bwe nnali mmaliriza lipoota emu, nnakaaba bwe nnasoma ku ngeri ab’oluganda ne bannyinaffe mu Malawi gye baali batulugunyizibwamu. * Kyokka era nnawulira nga nziziddwamu nnyo amaanyi olw’obwesigwa bwabwe, okukkiriza kwabwe, n’obugumiikiriza bye baali booleka.​—2 Kol. 6:4, 5.

Twakola kyonna ekisoboka okutuusa emmere ey’eby’omwoyo ku b’oluganda abaali basigadde mu Malawi n’abo abaali baddukidde mu Mozambique. Ab’oluganda abaali bavvuunula ebitabo byaffe mu Luchichewa, olulimi olusinga okwogerwa mu Malawi, baali gaggiddwayo nga batwaliddwa ku faamu y’ow’oluganda omu mu Zimbabwe. Ow’oluganda oyo yabazimbira ennyumba mwe bandibadde babeera ne ofiisi ze bandibadde bakoleramu. Nga bali eyo, baagenda mu maaso n’okukola omulimu gw’okuvvuunula.

Twakola enteekateeka ab’oluganda abaali bakyalira ebibiina mu Malawi okubangawo ku nkuŋŋaana za disitulikiti buli mwaka mu Zimbabwe ezaabanga mu Luchichewa. Ku nkuŋŋaana ezo baafunanga ebiwandiiko by’emboozi ezaabanga ziweereddwa. Bwe baddangayo mu Malawi, baafubanga nga bwe basobola okuzituusa ku b’oluganda. Lumu nga bazze mu Zimbabwe, twateekateeka Essomero ly’Omulimu gw’Obwakabaka okusobola okuzzaamu ab’oluganda abo abavumu amaanyi.

Nga mpa emboozi mu Luchichewa, ku lukuŋŋaana olunene mu mu Zimbabwe olwali mu Luchichewa ne mu Lushona

Mu Febwali 1975, nnagenda okukyalira Abajulirwa ba Yakuwa abaali badduse mu Malawi ne bagenda mu nkambi z’ababundabunda mu Mozambique. Ab’oluganda abo baali bakolera ku bulagirizi ekibiina kya Yakuwa bwe kyali kyakawa ebibiina, omwali n’obwo obwali bukwata ku kussaawo akakiiko k’abakadde. Abakadde abo abaali baakalondebwa baali bakoze enteekateeka nnyingi ez’eby’omwoyo, omwali okuwanga emboozi, okukubiriza ekyawandiikibwa ekya buli lunaku n’Omunaala gw’Omukuumi, era n’okubeeranga n’enkuŋŋaana ennene. Enkambi baali baziteeseteese ng’olukuŋŋaana olunene, nga zirimu ebitongole gamba ng’ekiyonja, ekikola ku by’emmere, n’ekikola ogw’obukuumi. Yakuwa yali ayambye ab’oluganda abo abeesigwa okukola ebintu bingi, era nnavaayo nga nziziddwamu nnyo amaanyi.

Emyaka gya 1970 bwe gyali ginaatera okuggwako, ettabi lwa Zambia lyatandika okuba nga lye lirabirira omulimu gwaffe mu Malawi. Wadde kyali kityo, nze n’ab’oluganda abalala twasigala tulowooza ku b’oluganda mu Malawi era nga tubasabira. Olw’okuba nnali mpeereza ku Kakiiko k’Ettabi mu Zimbabwe, emirundi egiwerako nnasisinkananga n’ab’oluganda abaabanga bakiikiridde ekitebe kyaffe ekikulu awamu n’ab’oluganda abalala okuva mu Malawi, South Africa, ne Zambia. Ku buli mulundi twebuuzanga ekibuuzo kino kye kimu: “Kiki ekirala kye tuyinza okukolera ab’oluganda mu Malawi?”

Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, okuyigannyizibwa mu Malawi kwakendeera. Ab’oluganda abaali badduseeyo baatandika okuddayo mpolampola, ate abo abaali basigaddeyo baali tebakyayisibwa bubi nnyo. Ensi ezaali zeetoolodde Malawi zaali zitandise okukkiriza omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu mateeka era nga zibaggyeko n’obukwakkulizo. Mozambique nayo yakkiriza omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu mateeka mu 1991. Naye twasigala twebuuza, ‘Abajulirwa ba Yakuwa baliweebwa ddi eddembe ly’okusinza mu Malawi?’

TUDDAYO MU MALAWI

Embeera y’eby’obufuzi mu Malawi yakyuka, era mu 1993 gavumenti yakkiriza omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu mateeka. Nga waakayita ekiseera kitono, nnanyumyako n’omuminsani omu era n’ambuuza nti, “Munaddayo mu Malawi?” Olw’okuba mu kiseera ekyo nnalina emyaka 59, nnamuddamu nti, “Nedda, nkaddiye nnyo!” Kyokka ku olwo lwennyini twafuna ebbaluwa okuva ku Kakiiko Akafuzi nga batusaba okuddayo mu Malawi.

Twali tunyumirwa nnyo obuweereza bwaffe mu Zimbabwe, n’olwekyo tekyatwanguyira kusalawo obanga twandizzeeyo mu Malawi. Twali basanyufu nnyo mu Zimbabwe era twali tufunye emikwano mingi. Ab’oluganda ku Kakiiko Akafuzi baali batugambye nti twali tusobola okusalawo okugenda oba obutagenda. N’olwekyo kyali kyangu okusalawo okusigala mu Zimbabwe. Kyokka mu kiseera ekyo nnafumiitiriza ku Ibulayimu ne Saala. Baagondera Yakuwa ne bava mu maka gaabwe amalungi mu myaka gyabwe egy’obukadde.​—Lub. 12:1-5.

Twasalawo okukolera ku bulagirizi obwatuweebwa ekibiina kya Yakuwa ne tuddayo mu Malawi nga Febwali 1, 1995, nga waakayita emyaka 28 bukyanga tusooka kugenda mu nsi eyo. Akakiiko k’Ettabi kaatandikibwawo, era nze awamu n’ab’oluganda abalala babiri ffe twali ku kakiiko ako. Mangu ddala twatandika okuddamu okuteekateeka omuli gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Malawi.

YAKUWA AKUZA

Yali nkizo ya maanyi okulaba engeri Yakuwa gye yakuzaamu omulimu mu bwangu! Omuwendo gw’ababuulizi gwalinnya mu bwangu, okuva ku babuulizi nga 30,000 mu 1993 okutuuka ku babuulizi abasukka mu 42,000 mu 1998. * Akakiiko Akafuzi kaawa olukusa okuzimba ofiisi y’ettabi empya mu Malawi okusobola okulabirira omulimu omunene ogwali mu nsi eyo. Twafuna ettaka lya yiika 30 mu Lilongwe, era nnalondebwa okuba ku kakiiko akaali kakola ku by’okuzimba.

Ow’Oluganda Guy Pierce eyali ku Kakiiko Akafuzi ye yawa emboozi ey’okuwaayo ofiisi y’ettabi empya mu Maayi 2001. Ab’oluganda okuva mu Malawi abaali basukka mu 2000 be baaliwo, era ng’abasinga obungi ku bo baali baabatizibwa emyaka egisukka mu 40 emabega. Ab’oluganda abo abeesigwa baali bagumidde ebizibu eby’amaanyi okumala emyaka mingi mu kiseera omulimu gwaffe bwe gwali nga guwereddwa. Baali baavu mu by’omubiri naye baali bagagga nnyo mu by’omwoyo. Kati baalina essanyu lingi nnyo okulambula ofiisi yaabwe empya ey’ettabi. Mu buli kifo kye baagendamu ku Beseri, baali bayimba ennyimba z’Obwakabaka mu maloboozi ag’enjawulo mu nnyimba ey’Ekifirika. Mu butuufu, ogwo gwe mukolo ogwakasinze okunnyumira mu mikolo gyonna gye nnali mbaddeko. Bwali bujulizi obulaga nti Yakuwa awa emikisa abo abasigala nga beesigwa nga boolekagana n’ebizibu.

Ofiisi y’ettabi bwe yamala okuzimbibwa, nnafuna enkizo ey’okuwangayo eri Yakuwa Ebizimbe by’Obwakabaka. Ebibiina mu Malawi byaganyulwa mu nteekateeka ekibiina kya Yakuwa gye kyassaawo ey’okuzimba mu bwangu Ebizimbe by’Obwakabaka mu nsi ezitali bulungi mu by’enfuna. Ng’enteekateeka eyo tennabaawo, ebibiina ebimu byali bikuŋŋaanira mu biyumba bye baazimbisanga n’emiti gya kalittunsi. Baakozesanga mmuli okusereka ebiyumba ebyo, era baatulanga ku foomu empanvu ez’ettaka. Enteekateeka eyo bwe yatandika, ab’oluganda baakuba bbulooka ne bazookya era ne bazikozesa okuzimba ebizimbe ebirungi eby’okukuŋŋaaniramu. Naye ng’enjogera bw’egamba nti ku foomu tekubula kifo kya kutuulamu, baasigala bakozesa foomu, so si ntebe ezituulwako omuntu omu omu!

Ate era nnafuna essanyu lingi okulaba engeri Yakuwa gy’ayambamu abantu okukula mu by’omwoyo. Nnakwatibwako nnyo okulaba ab’oluganda abavubuka nga beewaayo okuyambako mu mirimu egitali gimu, era baayiga ebintu bingi olw’okutendekebwa kwe baafuna okuva mu kibiina kya Yakuwa n’olw’okwenyigira mu kukola ebintu ebyo. Baaweebwa obuvunaanyizibwa obusingawo ku Beseri ne mu bibiina. Abalabirizi abakyalira ebibiina abapya abaalondebwa beeyongera okunyweza ebibiina, era bangi ku balabirizi abo baali bafumbo. Wadde ng’abantu abasinga obungi, nga mwe mu n’ab’eŋŋanda zaabwe, baali basuubira ab’oluganda abo ne bakyala baabwe okuzaala abaana, baasalawo obutazaala baana mu nteekateeka y’ebintu eno okusobola okuweereza Yakuwa mu ngeri esingawo.

NDI MUSANYUFU NNYO OLW’EKYO KYE NNASALAWO

Nga ndi ne Anne ku Beseri y’omu Bungereza

Oluvannyuma lw’okumala emyaka 52 nga mpeereza mu Afirika, nnatandika okutawaanyizibwa obulwadde. Akakiiko k’Ettabi kaasaba nsindikibwe ku Beseri y’e Bungereza, era Akakiiko Akafuzi kakkiriza okusaba okwo. Twawulira bubi nnyo okuva mu buweereza bwe twali twagala ennyo, naye ab’oluganda ku Beseri y’e Bungereza batulabirira bulungi nnyo mu myaka gyaffe egy’obukadde.

Sirina kubuusabuusa kwonna nti ekyo kye nnasalawo, eky’okukkiriza Yakuwa okunkulembera mu kkubo lye nnina okutambuliriramu mu bulamu, kye kintu ekisingayo okuba eky’amagezi kye nnali nsazeewo. Singa nnali nneesigamye ku kutegeera kwange, embeera y’obulamu bwange yandibadde ya njawulo nnyo. Yakuwa yali amanyi bulungi kye nneetaaga okusobola ‘okutereeza amakubo gange.’ (Nge. 3:5, 6) Bwe nnali nkyali muvubuka, nnasanyuka nnyo okuyiga engeri ekkolero eddene gye liddukanyamu emirimu gyalyo. Kyokka ekibiina kya Yakuwa kyampa omulimu ogundeetedde essanyu eringi ennyo n’okusingawo. Okuweereza Yakuwa kifudde obulamu bwange okuba obw’amakulu ennyo!

^ Okumanya ebisingawo ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa mu Malawi, laba Yearbook of Jehovah’s Witnesses, eya 1999, lup. 148-223.

^ Kati mu Malawi eriyo ababuulizi abasukka mu 100,000.