Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Lwaki Abakristaayo basaanidde okwegendereza ennyo nga bakozesa emikutu emigatta bantu okubaako obubaka bwe basindikira abalala oba bwe bafuna okuva eri abalala?

Abakristaayo abamu bakozesa tekinologiya ali ku mulembe okuwuliziganya n’ab’eŋŋanda zaabwe ne bakkiriza bannaabwe. Kya lwatu nti Omukristaayo akuze mu by’omwoyo ajjukira okulabula kuno: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka, naye atalina bumanyirivu agenda bugenzi mu maaso n’agwa mu mitawaana.”​—Nge. 27:12.

Tukimanyi nti Yakuwa ayagala okutukuuma. N’olwekyo, tetukolagana n’abo abaleetawo enjawukana, abaagobebwa mu kibiina, oba abanyoolanyoola amazima. (Bar. 16:17; 1 Kol. 5:11; 2 Yok. 10, 11) Abamu ku abo abali mu kibiina kya Yakuwa bayinza okuba nga tebeeyisa bulungi. (2 Tim. 2:20, 21) Ekyo tusaanidde okukijjukira nga tukola emikwano. Tekiba kyangu kulonda mikwano mirungi okuyitira ku mikutu emigattabantu.

Kikulu nnyo okwegendereza nnaddala bwe kituuka ku bibinja ebinene eby’okweweerezeganya obubaka okuyitira ku mikutu emigattabantu. Abakristaayo abamu beeyunze ku bibinja ng’ebyo era ebivuddemu tebibadde birungi. Naye ddala ow’oluganda oba mwannyinaffe ayinza okwewala okukola emikwano emibi ng’ali mu kibinja ekirimu abantu bikumi na bikumi oba nkumi na nkumi? Tekisoka kumanya kiki buli omu ku bantu abo ky’ali oba embeera ye ey’eby’omwoyo. Zabbuli 26:4 wagamba nti: “Sibeera na bantu balimba, era nneewala abo abakweka kye bali.” Ekyo kiraga nti kya magezi okuwuliziganya n’abo bokka be tumanyi.

Omukristaayo ne bw’aba ng’ali mu kibinja kya bantu batono, alina okwegendereza ebiseera by’amala ng’awuliziganya n’abantu abo n’ebyo abantu abo bye boogerako. Tekiri nti tuteekeddwa okubaako kye tuddamu ng’abalala basindise obubaka, ka kibe nti kinaatwala budde bwenkana wa oba k’ebe nsonga ki gye boogerako. Pawulo yalabula Timoseewo ku bantu ‘ab’olugambo era beeyingiza mu nsonga z’abalala.’ (1 Tim. 5:13) Leero kyangu okugwa mu katego ako nga tukozesa emikutu emigattabantu.

Tewali Mukristaayo mukulu mu by’omwoyo yandyagadde kukolokota balala, oba okwogera ebintu by’abalala eby’ekyama, oba okusoma obubaka obukolokota abalala, oba obwanika ebyama by’abalala. (Zab. 15:3; Nge. 20:19) Ate era yeewala okusaasaanya obubaka obusavuwaziddwa oba obutaliiko bukakafu. (Bef. 4:25) Tufuna emmere ey’eby’omwoyo etumala n’amawulire ageesigika okuyitira ku mukutu gwaffe ogwa jw.org ne ku programu za JW Broadcasting®.

Abajulirwa ba Yakuwa abamu bakozesa emikutu emigattabantu okutunda, okugula, oba okulanga ebintu, oba okuyita abaagala emirimu. Ensonga ezo ziba za bizineesi so si za bya mwoyo. Abakristaayo abeewala okuba ‘n’empisa ey’okwagala ssente’ beewala okuba n’ekigendererwa eky’okukola ssente mu bakkiriza bannaabwe.​—Beb. 13:5.

Ate kiba kitya okukozesa emikutu emigattabantu okusondera ssente bakkiriza bannaffe ababa mu bwetaavu oba abo ababa bakoseddwa obutyabaga? Twagala nnyo bakkiriza bannaffe era tufuba okuyamba oba okuzzaamu amaanyi abo ababa beetaaga obuyambi. (Yak. 2:15, 16) Naye okugezaako okunoonya obuyambi obwo nga tuyitira mu bibinja ebiri ku mikutu emigattabantu kiba kitaataaganya enteekateeka ennungi ekolebwa ofiisi y’ettabi oba ekibiina okuyamba abantu ng’abo. (1 Tim. 5:3, 4, 9, 10, 16) Ate era tetwandyagadde kuleetera balala kulowooza nti ffe nga kinnoomu twakwasibwa enkizo ey’enjawulo okulabirira abantu ba Katonda.

Twagala ebyo bye tukola bibe nga bireetera Katonda ettendo. (1 Kol. 10:31) N’olwekyo bwe tuba nga tusalawo okukozesa emikutu emigattabantu okuwuliziganya n’abalala oba okukozesa tekinologiya omulala, tusaanidde okufumiitiriza ku kabi akakirimu era tulina okuba abeegendereza.