Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Fuba Okutuuka ku Mutima gw’Ab’Eŋŋanda Zo Abatali Bakkiriza

Fuba Okutuuka ku Mutima gw’Ab’Eŋŋanda Zo Abatali Bakkiriza

YESU KRISTO bwe yali mu Gadala, ebukiikaddyo bw’Ennyanja y’e Ggaliraaya, yagamba omusajja eyali ayagala okufuuka omugoberezi we nti: “Genda eka mu b’eŋŋanda zo obabuulire byonna Yakuwa by’akukoledde n’engeri gy’akusaasiddemu.” Ebyo Yesu bye yayogera biraga nti yali akimanyi nti abantu bonna baagala okubuulirako ab’eŋŋanda zaabwe ku bintu ebirungi bye baba balabye oba bye baba bawulidde.Mak. 5:19.

Ne leero bwe kityo bwe kiri. Ebiseera ebisinga obungi omuntu bw’ayiga amazima, aba ayagala okubuulirako ab’eŋŋanda ze ku ebyo by’aba ayize. Naye ekyo asaanidde kukikola atya? Ayinza atya okutuuka ku mutima gw’ab’eŋŋanda ze ab’enzikiriza endala oba abatakkiririza mu Katonda? Waliwo amagezi amalungi Bayibuli g’ewa.

“TUZUDDE MASIYA”

Mu kyasa ekyasooka, Andereya y’omu ku bantu abaasooka okutegeera nti Yesu ye Masiya. Naye ani gwe yasooka okubuulirako ku mawulire ago? Bayibuli egamba nti: “Yasooka kusanga muganda we Simooni, n’amugamba nti: ‘Tuzudde Masiya’ (ekivvuunulwa nti, Kristo).” Andereya yatwala Peetero eri Yesu, bw’atyo n’amuwa akakisa okufuuka omu ku bayigirizwa ba Yesu.Yok. 1:35-42.

Nga wayiseewo emyaka nga mukaaga, Peetero bwe yali mu Yopa, yalagirwa okugenda ewa Koluneeriyo, omukulu w’abasirikale eyali abeera mu Kayisaliya. Peetero bwe yatuukayo, baani be yasangayo? Bayibuli egamba nti: “Koluneeriyo yali [asuubira okulaba Peetero n’abo be yandizze nabo] era ng’ayise ab’eŋŋanda ze ne mikwano gye egy’oku lusegere.” Bwe kityo, Koluneeriyo yawa ab’eŋŋanda ze akakisa okuwulira ebyo Peetero bye yali agenda okwogera basobole okusalawo nga basinziira ku ebyo bye bandiwulidde.Bik. 10:22-33.

Kiki kye tuyigira ku Andereya ne Koluneeriyo bwe kituuka ku kuyamba ab’eŋŋanda zaffe okuyiga amazima?

Andereya ne Koluneeriyo baaliko kye baakolawo okuyamba ab’eŋŋanda zaabwe okuyiga amazima. Andereya kennyini ye yatwala Peetero eri Yesu, ate Koluneeriyo yakola enteekateeka ab’eŋŋanda ze basobole okuwulira ebyo Peetero bye yali agenda okwogera. Kyokka Andereya ne Koluneeriyo tebaapikiriza ba ŋŋanda zaabwe kufuuka bagoberezi ba Kristo. Tuyinza tutya okubakoppa? Naffe tuyinza okubaako bye tubuulira ab’eŋŋanda zaffe oba tuyinza okubakolera enteekateeka basobole okuyiga Bayibuli. Wadde kiri kityo, tusaanidde okukijjukira nti balina eddembe lyabwe ery’okwesalirawo era tetusaanidde kubapikiriza. Lowooza ku Jürgen ne mukyala we Petra, ababeera mu Bugirimaani.

Petra yayiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era oluvannyuma n’abatizibwa. Omwami we, Jürgen, yali musirikale. Mu kusooka, Jürgen teyasanyuka kulaba nga mukyala we ayiga Bayibuli. Naye oluvannyuma yakiraba nti Abajulirwa ba Yakuwa baali bayigiriza amazima. Jürgen naye kati yabatizibwa, era aweereza ng’omukadde mu kibiina. Magezi ki Jürgen g’awa abo abaagala okutuuka ku mutima gw’ab’eŋŋanda zaabwe abatali bakkiriza?

Jürgen agamba nti: “Tetusaanidde kukaka ba ŋŋanda zaffe kuyiga mazima oba okuba nga buli kiseera twogera nabo ku Bayibuli. Ekyo kiyinza okubaleetera obutayagala kuyiga mazima. Mu kifo ky’ekyo, tusaanidde okubakwata mu ngeri ey’amagezi oboolyawo nga tugenda tubabuulirayo ebintu ebitonotono. Ate era bwe tuba twagala okufunira ab’eŋŋanda zaffe ab’oluganda abayinza okubayamba okuyiga amazima, kiba kirungi okubafunira abo ab’emyaka gyabwe era abalina ebintu bye bafaanaganya.”

“Tetusaanidde kukaka ba ŋŋanda zaffe kuyiga mazima.”—Jürgen

Omutume Peetero n’ab’eŋŋanda za Koluneeriyo bakkiririzaawo amazima. Naye abantu abamu abaaliwo mu kyasa ekyasooka kyabatwalira ekiseera nga tebannasalawo kuweereza Yakuwa.

BAGANDA BA YESU

Bangi ku b’eŋŋanda za Yesu bamukkiriza bwe yali ng’akyali ku nsi. Ng’ekyokulabirako, kirabika omutume Yakobo ne Yokaana baalina oluganda ku Yesu era kirabika maama waabwe, Saalome, yali muganda wa maama wa Yesu. Saalome ayinza okuba nga yali omu ku ‘bakazi abalala abangi abaaweerezanga Yesu n’abatume be, nga babawa ku bintu byabwe.’Luk. 8:1-3.

Kyokka ab’eŋŋanda za Yesu abalala kyabatwalira ekiseera okumukkiririzaamu. Ng’ekyokulabirako, bwe waali waakayita omwaka nga gumu oluvannyuma lwa Yesu okubatizibwa, abantu baakuŋŋaanira mu nnyumba emu okumuwuliriza. “Naye ab’eŋŋanda ze bwe baawulira ne bajja okumukwata kubanga baali bagamba nti: ‘Atabuse omutwe.’” Oluvannyuma lw’ekiseera, baganda ba Yesu bwe baayogerako naye ku bikwata ku kugenda mu Buyudaaya, Yesu teyabaddamu butereevu. Lwaki? Kubanga “baali tebamukkiririzaamu.”Mak. 3:21; Yok. 7:5.

Kiki kye tuyigira ku ngeri Yesu gye yakwatamu ab’eŋŋanda ze? Yesu teyabanyiigira olw’okumugamba nti yali atabuse omutwe. Oluvannyuma lw’okufa n’okuzuukira, Yesu yeeyongera okuyamba ab’eŋŋanda ze. Ng’ekyokulabirako, yalabikira muganda we Yakobo, era ekyo kiyinza okuba nga kyayamba Yakobo awamu ne baganda ba Yesu abalala okukakasa nti ye yali Masiya. Mu butuufu, baganda be abo baali wamu n’abatume mu kisenge ekya waggulu mu Yerusaalemi era baafukibwako omwoyo omutukuvu. Nga wayise ekiseera, baganda ba Yesu abalala, Yakobo ne Yuda, baafuna enkizo ez’amaanyi.Bik. 1:12-14; 2:1-4; 1 Kol. 15:7.

ABAMU KIBATWALIRA EKISEERA KIWANVUKO

“Kikulu nnyo okwoleka obugumiikiriza.”—Roswitha

Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne leero ab’eŋŋanda zaffe abamu kibatwalira ekiseera nga tebannakkiriza mazima. Lowooza ku Roswitha, eyali Omukatuliki omukuukuutivu mu kiseera omwami we we yafuukira Omujulirwa wa Yakuwa mu 1978. Olw’okuba Roswitha yali alowooza nti eddiini ye ye ntuufu, mu kusooka yayigganya nnyo omwami we. Naye nga wayise emyaka mingi, yalekera awo okumuyigganya era yakitegeera nti ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayigiriza ge mazima. Mu 2003, Roswitha yabatizibwa. Kiki ekyamuleetera okukyusa endowooza ye? Wadde nga yayigganya nnyo omwami we, omwami we teyamunyiigira, wabula yamugumiikiriza okutuusa lwe yakyusa endowooza ye. Magezi ki Roswitha g’awa abo abaagala okuyamba ab’eŋŋanda zaabwe? Agamba nti: “Kikulu nnyo okwoleka obugumiikiriza.”

Monika yabatizibwa mu 1974, era nga wayise emyaka nga kkumi batabani be ababiri nabo baabatizibwa. Wadde ng’omwami we Hans, teyabayigganya, kyamutwalira emyaka mingi okubatizibwa; yabatizibwa mu 2006. Magezi ki ab’omu maka ago ge bawa abo abaagala okuyamba ab’eŋŋanda zaabwe okuyiga amazima? Bagamba nti: “Kikulu okweyongera okunywerera ku Yakuwa n’obutekkiriranya.” Ab’omu maka ago beeyongera okulaga Hans nti bamwagala. Era tebaggwaamu ssuubi nti ekiseera kyandituuse n’akkiriza amazima.

AMAZZI AG’OBULAMU GASOBOLA OKUBAWONYA ENNYONTA EY’EBY’OMWOYO

Lumu Yesu yageraageranya amazima ku mazzi agawa obulamu obutaggwaawo. (Yok. 4:13, 14) Twagala ab’eŋŋanda zaffe banywe ku mazzi ag’obulamu basobole okuwona ennyonta ey’eby’omwoyo. Naye tetwagala kubatuza mazzi ago nga tubanywesa amazzi mangi omulundi gumu. N’olwekyo, tusaanidde okuba abeegendereza nga tubannyonnyola ebikwata ku nzikiriza yaffe. Bayibuli egamba nti “omutima gw’omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula” era nti “omutima gw’omuntu ow’amagezi guwa akamwa ke okutegeera, era gumusobozesa okwogera ebisikiriza.” Tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebyo?Nge. 15:28; 16:23, NW.

Omukyala Omukristaayo ayinza okwagala okubuulira omwami we ebikwata ku nzikiriza ye. ‘Okufumiitiriza nga tannaba kwanukula,’ kisobola okumuyamba okwogera mu ngeri ey’amagezi. Tasaanidde kwogera mu ngeri eraga nti yeetwala okuba owa waggulu oba omutuukirivu. Bw’afumiitiriza nga tannayogera, asobola okuleetera omwami we okwagala okumuwuliriza era kisobola okuleetawo emirembe mu maka. Asaanidde okwebuuza, ‘Ddi omwami wange lw’aba nga talina bimutaataaganya era nga kyangu okwogera naye? Bintu ki by’anyumirwa okwogerako oba okusomako: ssaayansi, bya bufuzi, oba bya mizannyo? Nnyinza ntya okumwagazisa okuyiga Bayibuli kyokka ng’ate nkiraga nti endowooza ye ngisaamu ekitiibwa?’ Okulowooza ku bintu ng’ebyo kisobola okumuyamba okwogera n’okweyisa mu ngeri ey’amagezi.

Kyokka okusobola okuyamba ab’eŋŋanda zaffe okwagala okuyiga amazima tetusaanidde kukoma ku kubannyonnyola bunnyonnyozi bikwata ku nzikiriza yaffe, naye era tulina okwoleka empisa ennungi.

OKWOLEKA EMPISA ENNUNGI

Jürgen agamba nti: “Kikulu okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwaffe. Ekyo kisobola okuleetera ab’eŋŋanda zaffe okukiraba nti tuli ba njawulo wadde ng’ekyo bayinza obutakyogera.” Hans, eyabatizibwa nga wayise emyaka egisukka mu 30 bukya mukyala we abatizibwa agamba nti: “Bwe tweyisa obulungi, kiyamba ab’eŋŋanda zaffe okukiraba nti amazima gakyusizza obulamu bwaffe.” Ab’eŋŋanda zaffe basaanidde okukiraba nti amazima gatuyambye okuba abantu abalungi, so si abantu ab’omutawaana.

“Bwe tweyisa obulungi, kiyamba ab’eŋŋanda zaffe okukiraba nti amazima gakyusizza obulamu bwaffe.”—Hans

Omutume Peetero yawa abakyala abalina abaami abatali bakkiriza amagezi gano amalungi: “Mugonderenga babbammwe, bwe wabaawo abatakkiriza kigambo balyoke bawangulwe awatali kigambo okuyitira mu mpisa z’abakazi baabwe, olw’okuba baba balabye empisa zammwe ennongoofu n’ekitiibwa eky’amaanyi kye mubassaamu. Era obulungi bwammwe bulemenga kuba bwa kungulu obw’okulanga enviiri n’okwambala amajjolobero aga zzaabu oba ebyambalo eby’okungulu ebirungi, naye bubeerenga bwa muntu ow’ekyama ow’omu mutima mu kyambalo ekitayonooneka eky’omwoyo omuteefu era omuwombeefu ogw’omuwendo omungi mu maaso ga Katonda.”1 Peet. 3:1-4.

Peetero yalaga nti omukyala bwe yeeyisa obulungi asobola okusikiriza omwami we okuyiga amazima. Okuva lwe yabatizibwa mu 1972, mwannyinaffe Christa abadde afuba okukolera ku magezi ago. Wadde ng’omwami we yayigako Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, n’okutuusa leero tannasalawo kuweereza Yakuwa. Olw’olumu agendako mu nkuŋŋaana era akolagana bulungi n’ab’oluganda mu kibiina. Ab’oluganda nabo tebamukaka kusalawo kuweereza Yakuwa. Naye kiki Christa ky’akola okulaba nti atuuka omwami we ku mutima?

Agamba nti: “Ndi mumalirivu okunywerera ku makubo ga Yakuwa. Era nfuba okweyisa obulungi nsobole okuwangula omwami wange ‘awatali kigambo.’ Nfuba okukola byonna omwami wange by’ayagala kasita kiba nti tebikontana na misingi gya Bayibuli. Ate era mmulekera eddembe lye ery’okwesalirawo, ebisigadde ne mbirekera Yakuwa.”

Ekyokulabirako kya mwannyinaffe Christa kiraga nti tetusaanidde kuba bakakanyavu. Mwannyinaffe oyo afuba okulaba nti yenyigira mu bujjuvu mu bintu eby’omwoyo gamba ng’okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa n’okubuulira. Ate era afuba okulaba nti awa omwami we ebiseera ebimala era akiraga nti amwagala era nti amufaako. Bwe tuba twagala okuyamba ab’eŋŋanda zaffe okuyiga amazima, tusaanidde obutaba bakakanyavu. Bayibuli egamba nti: “Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo.” Ekyo kiraga nti tusaanidde okufunangayo ekiseera okubeerako awamu n’ab’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza nga mw’otwalidde ne bannaffe mu bufumbo. Ekyo bwe tukikola, kituyamba okuba n’empuliziganya ennungi nabo. Bwe tuba n’empuliziganya ennungi nabo, kibayamba obutawulira nti tubaabulidde n’obutafuna buggya.Mub. 3:1, NW.

TOLEKULIRA

Holger, kitaawe eyabatizibwa nga wayise emyaka 20 oluvannyuma lw’abalala bonna mu maka okubatizibwa, yagamba nti: “Kikulu okulaga ab’omu maka abatali bakkiriza nti tubaagala era kikulu okubasabira.” Christa asuubira nti ‘lumu omwami we ajja kukkiriza amazima.’ Ffenna tusaanidde okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku b’eŋŋanda zaffe abatali bakkiriza nga tusuubira nti lumu bayinza okukkiriza amazima.

Ffenna twagala okusigala nga tulina enkolagana ennungi n’ab’eŋŋanda zaffe, okubayamba okuyiga amazima, n’okufuba okutuuka ku mitima gyabwe. Ate era twagala okuba ‘abakkakkamu n’okussaamu abalala ekitiibwa’ mu bintu byonna.1 Peet. 3:15.