Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Onooyamba Otya Mukwano Gwo Omulwadde?

Onooyamba Otya Mukwano Gwo Omulwadde?

Onooyamba Otya Mukwano Gwo Omulwadde?

WALI obuliddwa ebigambo eby’okwogera ng’ogenze okulaba mukwano gwo omulwadde? Bwe kiba nti ekyo kyali kikutuuseeko, osobola okukivvuunuka. Mu ngeri ki? Tewali bigambo biri awo nti omuntu by’ateekwa okwogera. Wayinza okubaawo empisa z’omu kitundu ezirina okulowoozebwako ate n’embeera z’abantu nazo zaawukana. Bwe kityo, ekiyinza okuleetera omulwadde omu okuwulira obulungi, kiyinza obutakola ku mulwadde mulala. Ate era embeera omuntu gy’abaamu oba enneewulira gy’aba nayo eyinza okuba ng’ekyukakyuka buli lunaku.

N’olwekyo, ekisingira ddala obukulu kwe kugezaako okwessa mu mbeera y’omulwadde oyo osobole okumanyira ddala engeri gye yandyagadde okumuyambamu. Ekyo okikola otya? Oyinza okweyambisa amagezi gano wammanga ageesigamiziddwa ku misingi gya Baibuli.

Muwulirize bulungi

EMISINGI OKUVA MU BAIBULI:

“Buli muntu abe mwangu wa kuwuliriza, alwewo okwogera.”​—YAKOBO 1:19.

‘Waliwo ekiseera eky’okusirikiramu n’ekiseera eky’okwogereramu.’​—OMUBUULIZI 3:1, 7.

◼ Bw’oba ogenze okulaba mukwano gwo omulwadde, muwulirize mu ngeri eraga nti ddala omufaako. Toyanguyiriza kumuwa magezi oba okukitwala nti buli kizibu kyonna ky’akubuulirako olina okukigonjoola. Singa oyanguyiriza okwogera, oyinza okwesanga ng’oyogedde n’ekintu ekisobola okumuyisa obubi. Mukwano gwo omulwadde ky’aba asingira ddala okwetaaga ye muntu anaamuwuliriza so si anaamubuulira eky’okukola.

Mukwano gwo muleke ayogere byonna by’ayagala okwogera. Tomusala kirimi, ng’omulaga nti embeera gy’alimu si mbi nnyo. Emílio * agamba: “Nnakwatibwa obulwadde bwa mulalama (fungal meningitis) era okukkakkana ng’amaaso gange gafudde. Oluusi mba nneewulira bubi nnyo, era mikwano gyange bagezaako okumbudaabuda nga baŋŋamba nti: ‘Si ggwe olina ebizibu wekka. Eriyo n’abali obubi ennyo okukusinga.’ Kyokka, tebakimanyi nti bwe boogera bwe batyo baba tebalina bwe bannyambye. Mu butuufu, baba bannyongera kuwulira bubi.”

Mukwano gwo muleke ayogere ekimuli ku mutima, awatali kweraliikirira nti ogenda kumunenya. Bw’akugamba nti awulira ng’atidde, wuliriza ky’ayogera mu kifo ky’okumugamba obugambi aleme kutya. Eliana atawaana n’obulwadde bwa kkansa agamba bw’ati: “Bwe nneeraliikirira ennyo era ne ntandika okukaaba olw’embeera gye ndimu, kiba tekitegeeza nti sikyalina bwesige mu Katonda.” Mukwano gwo mutwale nga bw’ali, so si nga ggwe bw’oyagala abeere. Kimanye nti mu kaseera ako aba tali mu mbeera ze eza bulijjo. Ba mugumiikiriza. Muwulirize—k’abe ng’addiŋŋana ebintu bye bimu bye yamaze edda okukugamba. (1 Bassekabaka 19:9, 10, 13, 14) Yandiba ng’ayagala otegeerere ddala bwe yeewulira.

Wesse mu mbeera gy’alimu era mufeeko

EMISINGI OKUVA MU BAIBULI:

“Musanyuke n’abo abasanyuka; mukaabe n’abo abakaaba.”​—ABARUUMI 12:15.

“Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubibakolenga.”​—MATAYO 7:12.

◼ Wesse mu mbeera gy’alimu. Ayinza okuba omuyongobevu bw’aba ng’agenda kulongoosebwa, oba ng’alina obujjanjabi bw’aweereddwa, oba ng’alindirira kumanya ebivudde mu kunoonyereza kw’abasawo. Ekyo kitegeere era ka by’oyogera bituukane bulungi n’embeera gy’aba alimu. Kiyinza obutaba kiseera kirungi okumubuuza ebibuuzo ebingi, naddala ebyo ebikwata ku ngeri gye yeewuliramu.

Ana Katalifós, omukugu mu nsonga ezikwata ku nneeyisa y’abantu abalwadde, agamba nti: “Leka abalwadde boogere ku bulwadde bwabwe nga bwe baagala era mu kiseera we baagalira. Bwe baba baagala okwogera, yogera nabo ku nsonga yonna gye baba balonzeewo okwogerako. Naye omulwadde bw’aba mu kiseera ekyo tayagala kwogera, okutuula obutuuzi awo naye era n’okukwata obukwasi mu mukono gwe kiyinza okumuzzaamu ennyo amaanyi. Oyinza n’okukizuula nti ky’aba yeetaaga mu kiseera ekyo ye muntu gw’ayinza okukaabirako awamu naye.”

Tonoonooza nnyo bintu bya munda ebikwata ku mukwano gwo omulwadde. Omuwandiisi w’ebitabo Rosanne Kalick, eyakwatibwako endwadde ya kkansa emirundi ebiri, yagamba: “Omulwadde bw’abaako by’akubuulira, kitwale nti by’akugambye abigambye ggwe wekka. Okuggyako ng’osabiddwa obeere omwogezi w’amaka ge, tobuulira balala buli kimu ekikubuuliddwa. Buuza omulwadde biki bye yandyagadde abalala bamanye.” Edson, eyakwatibwa obulwadde bwa kkansa naye n’ajjanjabibwa n’awona, agamba: “Mukwano gwange yategeeza abalala nti nnali nnina kkansa era nti nnali nsigazza akaseera katono nfe. Kituufu, nnali nnaakalongoosebwa era nga nkimanyi nti nnina kkansa. Kyokka nnali nkyalindirira abasawo okuntegeeza kye baali bazudde oluvannyuma lw’okwekenneenya we balongoosezza. Kyazuulwa nti kkansa yali tannasaasaana. Naye byo ebigambo bye yasaasaanya byakola akabi ka maanyi. Eby’ensumattu ebyayogerwa era n’ebibuuzo abalala bye baabuuzanga, byayisa bubi nnyo mukyala wange.”

Mukwano gwo bw’aba alondawo obujjanjabi bw’anaakozesa, toyanguyiriza kumugamba ggwe kye wandironzeewo. Omuwandiisi w’ebitabo, Lori Hope, eyajjanjabibwako kkansa, agamba: “Nga tonnaweereza kya kusoma kya ngeri yonna oba obubaka obw’engeri yonna eri omuntu yenna alina kkansa oba eyali ajjanjabiddwako kkansa, kyandibadde kirungi okusooka okumubuuza obanga yandyetaaze ebintu ng’ebyo. Oyinza okwesanga nti abadde agenderedde okuyamba mukwano gwo, ate omulumizza bulumya, ate nga kino oyinza n’obutakimanya.” Tekiri nti buli muntu ayagala okutegeezebwa kalonda owa buli ngeri akwata ku bika by’enzijanjaba ez’enjawulo eziriwo.

Ka kibe nti muli ba mukwano nnyo, tolwayo nnyo ng’ogenze okumulaba. Okugenda okumulaba kikulu nnyo, naye mukwano gwo ayinza okuba tayagala kubeera naawe kiseera kiwanvu. Ayinza okuba akooye era nga talina bulungi maanyi kwogera oba okunyumya naawe okumala ekiseera ekiwanvu. Ku luuyi olulala, weegendereze obutamuwa kifaananyi nti oyagala kugenda mu bwangu. Mukwano gwo alina okukiraba nti omufaako.

Okufaayo ku muntu kiba kikwetaagisa okupimaapima obulungi era n’okukozesa amagezi. Ng’ekyokulabirako, nga tonnategekera mukwano gwo omulwadde bya kulya, oyinza okumubuuza ye kye yandyagadde okulya. Bw’oba nga naawe oli mulwadde, ka tugambe ng’olwadde ssenyiga, kyandibadde kyoleka okwagala singa olinda n’omala okuwona olwo n’olyoka ogenda okumulaba.

By’oyogera bibe nga bizimba

EMISINGI OKUVA MU BAIBULI:

“Olulimi lw’ab’amagezi kwe kul[a]ma.”​—ENGERO 12:18.

“Ebigambo byammwe bulijjo bibeerenga bya kisa, era nga binoze omunnyo.”​—ABAKKOLOSAAYI 4:6.

◼ Bw’oba n’ekigendererwa eky’okuzzaamu mukwano gwo omulwadde amaanyi, by’oyogera ne by’okola bijja kukyoleka. Mutwale nti ye muntu y’omu gw’omanyi era nti akyalina engeri ezaakuleetera okumufuula mukwano gwo. Ye gw’oba olowoozaako so si obulwadde bw’alina. Singa oyogera naye ng’ayogera n’omuntu ali mu mbeera embi ennyo, naye ajja kukitwala nga ddala bw’atyo bw’ali. Roberta, eyalwala endwadde y’amagumba etali ya bulijjo, agamba bw’ati: “Ntwala ng’omuntu ataliiko kikyamu kyonna. Ndi mulema naye nange nnina endowooza zange ne bye njagala. Tontunuulira ng’atunuulira omuntu eyeetaaga okusaasirwa. Toyogera nange ng’ayogera n’omuntu atategeera.”

Kijjukire nti ekikulu si bye bintu by’oyogera byokka naye n’engeri gy’obyogeramu. Eddoboozi ly’okozesa nalyo kkulu. Nga waakayitawo ekiseera kitono oluvannyuma lw’okumanyisibwa nti yali alina kkansa, Ernesto yafuna essimu okuva eri mukwano gwe eyamugamba nti: “Sisobola kukikkiriza nti olina kkansa!” Ernesto agamba: “Olw’engeri mukwano gwange gye yaggumizzaamu ebigambo nti ‘olina kkansa,’ nnafuna entiisa ya maanyi.”

Omuwandiisi w’ebitabo, Lori Hope, awaayo ekyokulabirako ekirala: “Okubuuza omulwadde nti ‘Oli otya?’ kiyinza okuba n’amakulu agawerako gy’ali. Okusinziira ku ddoboozi abuuza ekibuuzo ekyo ly’akozesa, endabika ye ku maaso, akakwate awamu n’omukwano gw’alina n’omulwadde, era n’ekiseera w’abuuliza, ekibuuzo ekyo kiyinza okubudaabuda omulwadde, okumuleetera obulumi, oba okumuleetera okuddamu okweraliikirira.”

Mukwano gwo omulwadde aba ayagala okufiibwako, okutegeerwa obulungi era n’okuweebwa ekitiibwa. Kale mukakase nti omutwala nga wa muwendo nnyo era nti oli mwetegefu okumuyamba. Rosemary, eyalina ekizimba ku bwongo, agamba: “Ekyanzizaamu ennyo amaanyi kwe kuwulira nga mikwano gyange baŋŋamba nti banjagala nnyo era nti bajja kunnyamba ka kibeere ki oba ki.”—Engero 15:23; 25:11.

Baako ky’okola okumuyamba

OMUSINGI OKUVA MU BAIBULI:

“Tulemenga okwagala mu bigambo ne mu lulimi, wabula mu bikolwa ne mu mazima.”​—1 YOKAANA 3:18.

◼ Ebyetaago bya mukwano gwo bigenda bikyuka okuva lwe bavumbula ekyo ekimuluma okutuuka lwe batandika okukijjanjaba. Mu bbanga eryo lyonna, ayinza okubaako obuyambi bwe yeetaaga. Mu kifo ky’okumugamba nti—“bw’obaako kye weetaaga, ombuulira”—baako ekintu ekikakafu ky’osuubiza okumukolera. Okumusuubiza okubaako ky’omukolera, gamba ng’okumutegekera eby’okulya, okumuyonja, okumwoleza, okumugololera engoye, okumugulira ebintu, oba okumuvuga okumutwala mu ddwaliro oba okumukimayo, ze zimu ku ngeri ez’enjawulo z’oyinza okumulagamu nti omufaako. Beera omuntu eyeesigika era akuuma ebiseera. Tuukiriza byonna by’oba osuubizza okumukolera.—Matayo 5:37.

Omuwandiisi w’ebitabo, Rosanne Kalick, agamba bw’ati. “Kibe kinene oba kitono, buli kyonna kye tukola okusobola okuyamba omulwadde kiba kya muganyulo.” Sílvia, eyajjanjabwako enfunda bbiri endwadde ya kkansa, akkiriziganya naye ng’agamba nti, “Ab’emikwano ab’enjawulo okunvuganga mu mmotoka okuntwala mu ddwaliro okunzijanjaba kyanzizzaamu nnyo amaanyi! Nga tuli mu kkubo tugenda, twayogeranga ku bintu ebitali bimu, era bwe twabanga tukomawo, twayimirirangako awali akawooteeri. Muli nnawuliranga ng’atalina kizibu kyonna.”

Naye tokitwala nti oba omanyi byonna mukwano gwo bye yeetaaga. Kalick ye awa amagezi nti: “Buuza, buuza, era buuza.” Agattako nti: “Ng’olina gw’oyamba, teweewa buyinza ku buli kimu. Kiyinza okuba eky’omutawaana. Bw’otoobaako ky’ondekera kukola, oba ondeetera okulowooza nti sirina kye nsobola. Nnina okuwulira nti nkyalina bye nsobola okukola. Nnina okuwulira nti nkyaliwo. Nnyamba nange nkole kye nsobola.”

Mukwano gwo alina okuwulira nti akyalina by’asobola okukola. Adilson, eyalwala mukenenya, agamba: “Bw’obeera omulwadde . .  . obeera naawe oyagala obe ng’oliko ky’okola, ne bwe kibeera kitono kitya. Owulira bulungi bw’omanya nti okyalina ky’osobola okukola! Kikwongeramu amaanyi okwagala okusigala ng’okyali mulamu. Nkyagala nnyo abantu bwe bambuuza kye nsazeewo—ate ne bakolera ku ebyo bye mba nsazeewo. Okubeera omulwadde tekitegeeza nti oba tokyasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa bwo nga taata, maama oba obuvunaanyizibwa obw’engeri endala yonna.”

Omukwano gwammwe gukuume

OMUSINGI OKUVA MU BAIBULI:

‘Ow’omukwano ayagala mu biro byonna, era ye w’oluganda eyazaalirwa obuyinike.’​—ENGERO 17:17.

◼ Bw’oba nga tosobodde kukyalira mukwano gwo olw’okuba akuli wala nnyo oba olw’ensonga endala yonna, osobola okumukubira essimu n’oyogerako naye, okumuwandiikirayo akabaluwa oba okumuweereza e-mail. Kiki ky’oyinza okumugamba mu bbaluwa? Alan D. Wolfelt, omukugu mu kubuulirira abali mu nnaku, agamba bw’ati: “Yogera ku bintu ebisanyusa bye mwakolera awamu naye. Musuubize nti ojja kuddamu okumuwandiikira, ate okituukirize.”

Totya kubaako ky’ogamba mukwano gwo omulwadde ng’otya nti oyinza okwogera ekikyamu oba ekitatuukirawo. Emirundi egisinga, okukulabako obulabi kye kiba kisinga obukulu gy’ali. Mu kitabo kye, Lori Hope, agamba bw’ati: “Ffenna twogera oba tukola ebintu abalala bye bayinza okutwala obubi, era mu butali bugenderevu tuyinza okulumya omuntu. Naye ekyo si kye kiba ekizibu. Ekizibu kibaawo bw’otya okukola ensobi era ne weewala omuntu akwetaaga ennyo.”

Mukwano gwo bw’aba omulwadde ennyo aba akwetaaga nnyo mu kiseera ekyo. Kirage nti oli ‘wa mukwano owa nnamaddala.’ Okufuba kwo okumuyamba kuyinza obutaggyawo bulumi bw’alina, naye oyinza okubaako eky’amaanyi ky’okola okumuyamba okwaŋŋanga embeera eyo enzibu gy’alimu.

[Obugambo obuli wansi]

^ Amannya agamu gakyusiddwa.