Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baali Bayitibwa “Baana ba Kubwatuka”

Baali Bayitibwa “Baana ba Kubwatuka”

Yigiriza Abaana Bo

Baali Bayitibwa “Baana ba Kubwatuka”

ENKUBA bw’eba ettonnya, oyinza okuwulira okubwatuka okw’amaanyi. Kwali kukutiisizzaako? * Yesu alina abagoberezi be babiri be yayita ‘Abaana b’Okubwatuka.’ Ka tulabe ensonga lwaki yabayita bw’atyo.

Abagoberezi ba Yesu bano ababiri ye Yakobo ne Yokaana. Ba luganda, era nga batabani ba Zebedaayo ne mukyala we Saalome. Kirabika Saalome yali muganda wa Maliyamu, maama wa Yesu. N’olwekyo Yakobo ne Yokaana baalina oluganda ku Yesu era balabika baali ba mukwano nnyo okuva mu buto.

Zebedaayo muvubi, era Yakobo ne Yokaana nabo bavubi. Ababiri bano be bamu ku abo Yesu be yasooka okulonda ng’abagoberezi be. Bw’abayita, amangu ago baleka omulimu gwabwe ogw’obuvubi ne bamugoberera. Oluvannyuma, Yesu alonda abantu 12 ku bagoberezi be n’abafuula abatume. Yakobo ne Yokaana be bamu ku bo.

Ng’ebula emyezi mitono Yesu attibwe, ye n’abatume be bayita mu kitundu eky’omu Samaliya ekirimu ensozi. Obudde buzibye, era bonna bakooye nnyo. Naye Abasamaliya bagamba nti tebaagala Yesu na batume be kusula mu kibuga kyabwe. Omanyi lwaki?— Ka tulabe.

Yesu n’abatume be Bayudaaya, era Abayudaaya bangi tebaagala Basamaliya. Naye Yesu ye abaagala. Abayisa mu ngeri ey’ekisa, nga Yakobo ne Yokaana bwe basaanidde okukola. Naye abayigirizwa abo ababiri basunguwalira Abasamaliya olw’obutabaaniriza, era babuuza Yesu nti: ‘Oyagala tugambe omuliro guve mu ggulu gubatte?’ Olowooza Yesu yabaddamu atya?— Abagamba nti tebasaanidde kwogera kintu ng’ekyo ekibi. Yakobo ne Yokaana beetaaga okwongera okuyiga engeri y’okwolekamu ekisa.

Ekizibu ekirala eky’amaanyi Yakobo ne Yokaana kye balina kye ky’okuba nti baagala okuba nga be basooka mu buli kimu oba nga be basinga abalala. Ng’ebula ekiseera kitono Yesu attibwe, batuma maama waabwe eri Yesu era amugamba nti: “Nkusaba abaana bange bombi batuule omu ku mukono gwo ogwa ddyo ate omulala ku gwa kkono mu bwakabaka bwo.” Abatume abalala ekkumi bamanya ekyo Yakobo ne Yokaana kye bakoze, era banyiiga nnyo. Naawe wandinyiize?

Oboolyawo wandinyiize. Tekitusanyusa abalala bwe baba nga be baagala okusooka mu buli kimu era nga baagala okuba nga be basinga bannaabwe. Oluvannyuma, Yakobo ne Yokaana bakiraba nti tebeeyisizza mu ngeri ya kisa, era bakyusa enneeyisa yaabwe. Bafuuka abatume abalungi, abooleka okwagala n’ekisa. Kino kituyigiriza ki?

Kye tuyigira ku Yesu kiri nti, naffe tusaanidde okuba ab’ekisa eri bannaffe. Yesu yayisanga bulungi abantu bonna, abasajja, abakazi, n’abaana. Onoofuba okujjukiranga ekyokulabirako kye n’okukigoberera?

Soma mu Bayibuli yo

Makko 3:17

Matayo 27:55, 56; Makko 15:40, 41

Matayo 4:18-22

Yokaana 4:4-15, 21-26; Lukka 9:51-55

Matayo 20:20-24; Makko 10:35-37, 41

[Obugambo obuli wansi]

^ Bw’oba ng’osoma n’omwana, akasittale kakujjukiza nti olina okusiriikiriramu n’oleka omwana n’awa endowooza ye.