Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OBULIMBA OBULEETERA ABANTU OKUKYAWA KATONDA

Bangi Kibazibuwalira Okwagala Katonda

Bangi Kibazibuwalira Okwagala Katonda

“‘Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka.”​—Yesu Kristo yabyogera mu mwaka gwa 33 embala eno. *

Abantu abamu kibazibuwalira okwagala Katonda. Bagamba nti Katonda tategeerekeka, tatufaako, era nti mukambwe. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga:

  • “Nnasabanga Katonda annyambe, naye nga mu kiseera kye kimu ndowooza nti tatufaako, era nti tatuukirikika. Nnali nkitwala nti Katonda si wa ddala, era nti talina nneewulira.”​—Marco, abeera mu Yitale.

  • “Wadde nga nnali njagala nnyo okuweereza Katonda, nnalowoozanga nti tatufaako, mukambwe nnyo, era ayagala obwagazi okutubonereza. Nnali simanyi nti atwagala.”​—Rosa, abeera mu Guatemala.

  • “Bwe nnali nkyali muto, nnalowoozanga nti buli kiseera Katonda atunoonyaamu nsobi, asobole okutubonereza. Nnali ndowooza nti tatulumirirwa era nga mmutwala ng’omufuzi atafaayo ku bantu b’afuga.”​—Raymonde, abeera mu Canada.

Ggwe olowooza otya? Katonda mukambwe era tatufaako? Okumala ebyasa bingi, Abakristaayo abamu bazze beebuuza ekibuuzo ekyo. Mu butuufu mu biseera eby’edda, abantu mu madiini ageeyita Amakristaayo tebaasabanga Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Lwaki? Kubanga abantu baamutyanga nnyo. Munnabyafaayo Will Durant yagamba nti: “Omuntu obuntu atatuukiridde ayinza atya okwetantala okusaba Katonda omukambwe era ali ewala ennyo?”

Kyajja kitya Katonda okutwalibwa “ng’omukambwe era atatufaako”? Kiki ddala Bayibuli ky’eyigiriza ku Katonda? Bw’onooyiga amazima agakwata ku Katonda ojja kumwagala.