Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ABASOMI BAFFE BABUUZA . . .

Ddala Abakristaayo Basaanidde Okukuza Ppaasika?

Ddala Abakristaayo Basaanidde Okukuza Ppaasika?

Ekitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica bwe kiba kyogera ku Ppaasika kigamba nti, “gwe mukolo omukulu ogw’okukuza Okuzuukira kwa Yesu Kristo mu madiini g’Ekikristaayo.” Naye ddala Abakristaayo basaanidde okukuza Ppaasika?

Okusobola okukakasa obanga ekintu si kicupuli, kikulu okukyekebejja obulungi. Mu ngeri y’emu, okusobola okutegeera obanga Abakristaayo basaanidde okukuza Ppaasika, tusaanidde okwekenneenya ebigikwatako.

Okusookera ddala, Yesu yalagira abagoberezi be okujjukira okufa kwe so si kuzuukira kwe. Omutume Pawulo omukolo guno yaguyita ‘eky’ekiro kya Mukama waffe.’1 Abakkolinso 11:20; Lukka 22:19, 20.

Okugatta ku ekyo, ekitabo ekiyitibwa Britannica kiraga nti obulombolombo bungi obukolebwa ku Ppaasika “tebulina nnyo” we bukwataganira na kuzuukira kwa Yesu “wabula busibuka mu nfumo z’abantu.” Ng’ekyokulabirako, ekitabo ekiyitibwa The Encyclopedia of Religion bwe kiba kyogera ku ggi n’akamyu, obubonero obukozesebwa ku Ppaasika, kigamba nti: ‘Eggi likiikirira obulamu obuggya ng’ekintu ekiramu bwe kyasa ekikuta ky’eggi ne kivaamu.’ Era kigamba nti: “Kyali kimanyiddwa nti akamyu kazaala nnyo, era kakiikirira okumeruka kw’ebimera oluvannyuma lw’obutiti.”

Pulofeesa ayitibwa Philippe Walter, eyeekenneenya ebiwandiiko eby’omu byasa eby’edda, yannyonnyola engeri abantu gye baatandika okukozesa obulombolombo obwo mu kukuza Ppaasika. Yawandiika nti “bannaddiini bwe baali baagala okuyingiza abakaafiiri mu Bukristaayo,” kyabanguyira okukwataganya okuzuukira kwa Yesu n’omukolo abakaafiiri gwe baakuzanga nga “bamazeeko ekiseera eky’obutiti.” Walter ayongerako nti eyo ye nsonga eyaviirako “emikolo egy’Ekikristaayo” okuteekebwa ku kalenda y’abakaafiiri era ekyo kyaleetera abakaafiiri okuyingizibwa mu Bukristaayo nga tebaleseeyo bulombolombo bwabwe.

Ekyo kyabaawo ng’abatume bamaze okufa kubanga bwe baali bakyaliwo, baali “ng’ekiziyiza” eri obukaafiiri. (2 Abassessaloniika 2:7) Omutume Pawulo yali yalabula nti bwe ‘yandimaze okugenda,’ wandibaddewo “abantu aboogera ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.” (Ebikolwa 20:29, 30) Ate ku nkomerero y’ekyasa ekisooka, omutume Yokaana yagamba nti waaliwo abantu abaali batandise okubuzaabuza Abakristaayo. (1 Yokaana 2:18, 26) Ekyo kyaviirako obulombolombo bw’ekikaafiiri okuyingizibwa mu Bukristaayo.

“Temwegattanga [wamu] na batakkiriza.”2 Abakkolinso 6:14

Abamu bayinza okugamba nti okukkiriza obulombolombo obumu obukolebwa ku Ppaasika tekyali kikyamu kubanga kyayamba “abakaafiiri” okutegeera amakulu agali mu kuzuukira kwa Yesu. Naye omutume Pawulo ekyo teyandikikkirizza. Bwe yali abuulira amawulire amalungi mu ttwale ly’Abaruumi, yalaba obulombolombo bungi nga bukolebwa, naye tewali na kamu ku bwo ke yakozesa kunnyonnyola bantu ebikwata ku Yesu. Mu kifo ky’ekyo, yalabula Abakristaayo nti: “Temwegattanga [wamu] na batakkiriza. Obutuukirivu n’obujeemu bissa bitya ekimu? Oba ekitangaala n’ekizikiza bitabagana bitya? ‘Kale muve wakati mu bo, era mubeeyawuleko,’ bw’atyo Yakuwa bw’agamba, ‘era mulekere awo okukwata ku kitali kirongoofu.’”2 Abakkolinso 6:14, 17.

Ebyo bye tulabye ebikwata ku Ppaasika bitukakasa ki? Bitukakasa nti Abakristaayo tebasaanidde kukuza Ppaasika.