Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ZUUKUKA Na. 5 2017 | By’Oyinza Okukola nga Waguddewo Akatyabaga

Lwaki tusaanidde okwetegekera obutyabaga?

Bayibuli egamba nti: “Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka, naye atalina bumanyirivu agenda bugenzi mu maaso n’agwa mu mitawaana.”​—Engero 27:12.

Magazini eno eraga bye tusaanidde okukola ng’akatyabaga tekannagwawo, nga kagwawo, n’oluvannyuma lw’okugwawo.

 

OMUTWE OGULI KUNGULU

By’Oyinza Okukola nga Waguddewo Akatyabaga

Amagezi gano gasobola okukuyamba okuwonawo awamu n’abalala.

Engeri gy’Oyinza Okukekkereza Amasannyalaze n’Amafuta

Lowooza ku mbeera ssatu mw’oyinza okukekkerereza amasannyalaze, amafuta, n’ebirala—mu maka, mu by’entambula, mu bye tukola buli lunaku.

BAYIBULI KY'EGAMBA

Entalo

Mu biseera eby’edda, Abayisirayiri baalwananga entalo mu linnya lya Yakuwa Katonda waabwe. Ekyo kitegeeza nti Katonda awagira entalo ezirwanibwa ennaku zino?

EBIYAMBA AMAKA

Tossa Bulamu mu Kabi olw’Okwagala Okukolawo eky’Enjawulo

Abavubuka bangi banoonya amasanyu ne batuuka n’okukola ebintu ebissa obulamu bwabwe mu kabi. Naawe oluusi owulira nga wandyagadde okukola ebintu ebyo?

ENSI N'ABANTU

Ka Tugendeko e Kazakhstan

Abantu b’omu Kazakhstan baali balunzi ba bisolo. Abantu baayo bakuumye batya obuwangwa bwabwe?

KYAJJAWO KYOKKA?

Enkula y’Amasonko g’Amakovu ag’Omu Nnyanja

Enkula y’amasonko eyamba okukuuma amakovu agagabeeramu.