Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 6

Kiki Bayibuli kye Yalagula ku Masiya?

OBUNNABBI

“Ggwe Besirekemu Efulaasa, . . . mu ggwe mwe muliva omufuzi wa Isirayiri.”

Mikka 5:2

OKUTUUKIRIZIBWA

“Yesu bwe yamala okuzaalibwa mu Besirekemu eky’e Buyudaaya mu nnaku za Kabaka Kerode, abalaguzisa emmunyeenye baava Ebuvanjuba ne bajja e Yerusaalemi.”

Matayo 2:1

OBUNNABBI

“Ebyambalo byange babigabana, era engoye zange bazikubira akalulu.”

Zabbuli 22:18

OKUTUUKIRIZIBWA

“Abasirikale bwe baamala okukomerera Yesu ku muti, ne batwala ebyambalo bye eby’okungulu ne babigabanyaamu emirundi ena . . . Naye kyo ekyambalo eky’omunda kyali tekyatungibwa wabula nga kyalukibwa bulukibwa okuva wansi okutuuka waggulu. Awo ne bagambagana nti: ‘Tetukiyuzaamu, naye tukube akalulu tulabe anaakitwala.’ ”

Yokaana 19:23, 24

OBUNNABBI

“Akuuma amagumba ge gonna; tewali na limu ku go limenyeddwa.”

Zabbuli 34:20

OKUTUUKIRIZIBWA

“Bwe baatuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, tebaamenya magulu ge.”

Yokaana 19:33

OBUNNABBI

“Yafumitibwa olw’ebyonoono byaffe.”

Isaaya 53:5

OKUTUUKIRIZIBWA

“Omu ku basirikale abo n’amufumita effumu mu mbiriizi, era amangu ago ne muvaamu omusaayi n’amazzi.”

Yokaana 19:34

OBUNNABBI

“Ne bampa empeera yange, ebitundu bya ffeeza 30.”

Zekkaliya 11:12, 13

OKUTUUKIRIZIBWA

“Awo Yuda Isukalyoti, omu ku Kkumi n’Ababiri n’agenda eri bakabona abakulu, n’abagamba nti: ‘Munampa ki mmuweeyo gye muli?’ Ne bamusuubiza okumuwa ebitundu bya ffeeza 30.”

Matayo 26:14, 15; 27:5