Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKIBUUZO 20

Oyinza Otya Okuganyulwa mu Kusoma Bayibuli?

BW’OBA OSOMA BAYIBULI, WEEBUUZE EBIBUUZO BINO:

Bino bye nsoma binjigiriza ki ku Yakuwa Katonda?

Bikwatagana bitya n’obubaka obukulu obuli mu Bayibuli?

Nnyinza ntya okubikolerako mu bulamu bwange?

Nnyinza ntya okubikozesa okuyamba abalala?

“Ekigambo kyo ye ttaala emulisiza ebigere byange, kye kitangaala ekimulisa ekkubo lyange.”

Zabbuli 119:105