Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Zekkaliya

Essuula

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14

Ebirimu

  • 1

    • Abantu bayitibwa okudda eri Yakuwa (1-6)

      • ‘Mudde gye ndi nange nja kudda gye muli’ (3)

    • Okwolesebwa 1: Abeebagazi b’embalaasi mu miti gy’emikadasi (7-17)

      • “Yakuwa ajja kuddamu okubudaabuda Sayuuni” (17)

    • Okwolesebwa 2: Amayembe ana ne baffundi bana (18-21)

  • 2

    • Okwolesebwa 3: Omusajja akutte omuguwa ogupima (1-13)

      • Yerusaalemi kya kupimibwa (2)

      • Yakuwa, “bbugwe ow’omuliro ku njuyi zonna” (5)

      • Okukwata ku mmunye y’eriiso lya Katonda (8)

      • Amawanga mangi ga kwegatta ku Yakuwa (11)

  • 3

    • Okwolesebwa 4: Kabona Asinga Obukulu ayambazibwa ebyambalo ebirala (1-10)

      • Sitaani aziyiza Kabona Asinga Obukulu (1)

      • ‘Nja kuleeta omuweereza wange ayitibwa Mutunsi!’ (8)

  • 4

    • Okwolesebwa 5: Ekikondo ky’ettaala n’emiti gy’emizeyituuni ebiri (1-14)

      • Tebibaawo lwa maanyi wabula lwa mwoyo gwange (6)

      • Tonyooma lunaku lwa ntandikwa ntono (10)

  • 5

    • Okwolesebwa 6: Omuzingo ogubuuka (1-4)

    • Okwolesebwa 7: Eddebe lya efa (5-11)

      • Omukazi ali munda akiikirira ebikolwa ebibi (8)

      • Eddebe litwalibwa e Sinaali (9-11)

  • 6

    • Okwolesebwa 8: Ebigaali bina (1-8)

    • Mutunsi aliba kabaka era kabona (9-15)

  • 7

    • Yakuwa avumirira okusiiba okw’obunnanfuusi (1-14)

      • “Mwasiibiranga nze?” (5)

      • ‘Mube benkanya; buli omu alage munne okwagala okutajjulukuka era amusaasire’ (9)

  • 8

    • Yakuwa awa Sayuuni emirembe n’amazima (1-23)

      • Yerusaalemi, “ekibuga eky’amazima” (3)

      • “Mwogerenga amazima buli omu eri munne” (16)

      • Okusiiba kunaabanga kusanyuka na kujaguza (18, 19)

      • “Tunoonye Yakuwa” (21)

      • Abantu kkumi bakwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya (23)

  • 9

    • Katonda asalira amawanga ageetooloddewo omusango (1-8)

    • Kabaka wa Sayuuni ajja (9, 10)

      • Kabaka omuwombeefu yeebagala endogoyi (9)

    • Abantu ba Yakuwa bajja kuteebwa (11-17)

  • 10

    • Musabe Yakuwa enkuba, so si bakatonda ab’obulimba (1, 2)

    • Yakuwa agatta wamu abantu be (3-12)

      • Omukulembeze ava mu nnyumba ya Yuda (3, 4)

  • 11

    • Ebiva mu kujeemera omusumba wa Katonda (1-17)

      • “Lunda endiga ez’okuttibwa” (4)

      • Emiggo ebiri: Obulungi n’Obumu (7)

      • Empeera y’omusumba: ebitundu bya ffeeza 30 (12)

      • Ssente zisuulibwa mu ggwanika (13)

  • 12

    • Yakuwa ajja kulwanirira Yuda ne Yerusaalemi (1-9)

      • Yerusaalemi, ‘ejjinja erizitowa’ (3)

    • Okukaabira oyo eyafumitibwa (10-14)

  • 13

    • Okumalawo ebifaananyi ne bannabbi ab’obulimba (1-6)

      • Bannabbi ab’obulimba ba kuswala (4-6)

    • Omusumba wa kukubwa (7-9)

      • Ekitundu eky’okusatu kya kulongoosebwa (9)

  • 14

    • Okusinza okw’amazima kwe kulibaawo kwokka (1-21)

      • Olusozi lw’Emizeyituuni lulibejjukamu wakati (4)

      • Yakuwa aliba omu, era n’erinnya lye liriba limu (9)

      • Ekibonyoobonyo ekirituuka ku balabe ba Yerusaalemi (12-15)

      • Okukwata Embaga ey’Ensiisira (16-19)

      • Buli ntamu eriba ntukuvu mu maaso ga Yakuwa (20, 21)