Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Nneesiga Ggwe

Nneesiga Ggwe

Wanula:

  1. 1. Bye nsomye mu Kigambo kyo,

    Bindi ku mutima

    Era bye bimbudaabuda; nnina emirembe.

    Amazima ge njize

    Gannyambye ne nsobola

    Okwaŋŋanga ebizibu; ndi mugumu nnyo—

    (PRE-CHORUS)

    Sitya kintu kyonna,

    Nneesiga Yakuwa ky’agamba

    (CHORUS)

    Ggwe ompadde amaanyi

    Ne nsobol’o kuguma.

    Nja kukwesiga kuba ggwe Katonda wange.

  2. 2. Siyinza kuterebuka

    Ne bwe nfun’e bizibu

    Kubanga bulijjo wooli okunnyamba.

    Bye nsoma njagala nnyo

    Bintuuke ku mutima

    Nsobole okusalawo obulungi nga—

    (PRE-CHORUS)

    Sitya kintu kyonna,

    Nneesiga Yakuwa ky’agamba.

    Ne bwe mba nfunye ebizibu,

    Njagala kutunuula ’maaso.

    (CHORUS)

    Ggwe ompadde amaanyi

    Ne nsobol’o kuguma.

    Nja kukwesiga kuba ggwe Katonda wange.

    Wange.

    (PRE-CHORUS)

    Sitya kintu kyonna,

    Nneesiga Yakuwa ky’agamba.

    Ne bwe mba nfunye ebizibu,

    Njagala kutunula ’maaso.

    (CHORUS)

    Ggwe ompadde amaanyi

    Ne nsobol’o kuguma.

    Nja kukwesiga kuba ggwe Katonda wange.