Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okunoonya Amazima

Okunoonya Amazima

Wanula:

  1. 1. Twafuba nnyo okunoonya

    Okuzuula ’mazima.

    Ebibuuzo bingi bye twebuuzanga

    Nga tunoony’e kituufu.

    (PRE-CHORUS)

    Tetwaddirira ffe mu kunoonya

    Nga tukimanyi nti amazima gye gali.

    (CHORUS)

    Naye tekyali kyangu

    Okunoonyereza

    Tusobole okumanya

    Wa gye twava era n’ensonga lwaki twetaag’o Bwakabaka—

    Tebyali byangu.

  2. 2. Edda twalinga tetumanyi

    Nti Katonda ’lina erinnya.

    Twasanyuka okkimanya

    Nty’a yitibwa Yakuwa.

    (PRE-CHORUS)

    Tetwaddirira ffe mu kunoonya

    Ne tukitegeera nti Yakuwa ye Mutonzi.

    (CHORUS)

    Wadde tekyali kyangu

    Twakitegeera nti

    Olusuku lwa Katonda

    Olwasuubizibwa lujja kubaawo ku nsi wansi w’Obwakabaka;

    Tulwesunga nnyo.

    (BRIDGE)

    Tulin’o kubuulira, tuyambe abantu

    Abanoonya ’mazima.

    Tufube nnyo okubannyonnyola

    Bafune ’by’okuddamu;

    Bategeere ekituufu.

    (CHORUS)

    Wadde tekiba kyangu

    Tufub’o kuddamu

    Ebibuuzo bye beebuuza:

    Baagal’o kumanya eky’okkola basobol’o kusikira

    Obwakabaka.